Jeremiah 50 (BOLCB)

1 Kino kye kigambo MUKAMA Katonda kye yayogerera mu nnabbi Yeremiya ekikwata ku Babulooni n’ensi ey’Abakaludaaya. 2 “Buulira mu mawanga era olangirire,yimusa bendera olangirire,tolekaayo kintu kyonna ogambe nti,‘Babulooni eriwambibwa;Beri kiswale,ne Meroddaaki kijjule entiisa.Ebifaananyi bya bakatonda abakole n’emikono bijja kuswalaera bitye.’ 3 Eggwanga okuva mu bukiikakkono lijja kukirumbalyonoone ensi y’Abakaludaaya.Tewali muntu alisigalamu;abantu bonna balikiddukamu era n’ensolo zonna. 4 “Mu nnaku ezo, era mu kiseera ekyo,”bw’ayogera MUKAMA,“abantu ba Isirayiri awamu n’abantu ba Yudabalikaaba amaziga nga banoonya MUKAMA Katonda waabwe. 5 Balibuuza ekkubo eridda e Sayuuniera bakyuse obwenyi bwabwe okukitunuulira, nga boogera nti,Mujje twesibe ku MUKAMA Katondamu ndagaano ey’emirembe gyonnaetegenda kwerabirwa. 6 “Abantu bange babadde ndiga ezibuze;abasumba baabwe babawabizzane babatuusa ku kutaataaganira ku nsozi.Baava ku lusozi ne badda ku kasozine beerabira ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu. 7 Buli eyabasanganga nga abatulugunya;abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza,kubanga baajeemera MUKAMA Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala,ye MUKAMA, essuubi lya bakitaabwe.’  8 “Mudduke okuva e Babulooni;muleke ensi y’Abakaludaaya,mubeere ng’embuzi ezikulembera ekisibo. 9 Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amaneneokuva mu nsi ey’obukiikakkono okulumba Babulooni.Baliyimirira mu nnyiriri zaabwe bakirumbe,bakiwambe nga basinzira mu bukiikakkono.Obusaale bwabwe buliba ng’obw’abalwanyi abakugu,abataddira awo ngalo nsa. 10 Noolwekyo ensi y’Abakaludaaya erinyagibwa;abo bonna abaliginyaga balitwala byonna bye baagala,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 11 “Kubanga musanyuka ne mujaguza,mmwe abaanyaga omugabo gwabwe,kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula emmere ey’empeke,ne muleekaana ng’embalaasi ennume enkulu, 12 nnyammwe alikwatibwa ensonyi;oyo eyakuzaala aliswazibwa.Aliba ensi esemberayo ddala,ensiko, ensi enkalu, eddungu. 13 Olw’obusungu bwa MUKAMA Katonda tajja kubeeramu bantu,naye alisigala matongo.Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisoozeolw’ebiwundu bye byonna. 14 “Musimbe ennyiriri okwetooloola Babulooni,mwenna abanaanuula omutego.Mumulase! Temulekaawo kasaale n’akamu,kubanga yajeemera MUKAMA Katonda. 15 Mumukube olube ku buli ludda.Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa,n’ebisenge bye bimenyeddwa.Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa MUKAMA Katonda,mumwesasuzeeko;mumukole nga bw’akoze abalala. 16 Asiga mumuggye mu Babulooni,n’omukunguzi oyo akwata ekiwabyo mumuggye mu makungula.Olw’ekitala ky’omujoozi,leka buli omu addukire mu nsi y’ewaabwe,buli muntu adde eri abantu be. 17 “Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye,empologoma kye zigobye.Eyasooka okumulyayali kabaka wa Bwasuli;eyasembayo okumenya amagumba geyali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.” 18 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,“Ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi yenga bwe nabonereza kabaka w’e Bwasuli. 19 Naye ndikomyawo Isirayiri mu kisibo kyeera aliriira ku Kalumeeri ne Basani;alikuttiraku busozi bwa Efulayimu, ne mu Gireyaadi. 20 Mu nnaku ezo, era mu biseera ebyo,” bw’ayogera MUKAMA Katonda, “omusango ku Isirayiri gulinoonyezebwa, naye tegulibaawo, era n’ebibi bya Yuda birinoonyezebwa, naye tewaliba na kimu, kubanga ndisonyiwa abo bendeseewo. 21 “Mulumbe ensi ye Merasayimun’abo abali mu Pekodi.Mubagoberere mubatte, mubazikiririze ddala,”bw’ayogera MUKAMA Katonda.“Mukole byonna bye mbalagidde. 22 Oluyoogaano lw’olutalo luwulirwa mu ggwanga,eddoboozi ery’okuzikiriza okunene! 23 Ennyondo y’ensi yonnang’ekubiddwa n’emenyeka!Babulooni kifuuse matongomu mawanga! 24 Nakutegera omutego, ggwe Babulooni,babagwiikiriza ne babakwata nga tebategedde,baakukwata ne bakuwambakubanga wawakanya MUKAMA. 25 MUKAMA agguddewo etterekero ly’ebyokulwanyisa byenaggyamu ebyokulwanyisa eby’ekiruyi kye,kubanga MUKAMA Katonda ow’Eggye alina omulimu ogw’okukolamu nsi y’Abakaludaaya. 26 Mujje mumulumbe mmwe abava mu buli nsonda,mumenye ebyagi eby’emmere y’empeke,mumukuŋŋaanye abe ng’entuumo y’emmere y’empeke.Mumuzikiririze ddala;waleme kusigalawo n’omu ku bo. 27 Mutte ennume zaabwe zonna,muzitwale zittibwe.Zibasanze kubanga olunaku lwabwe lutuuse,kye kiseera kyabwe eky’okubonerezebwa. 28 Muwulire eby’abadduka n’abanoonyi b’obubudamu okuva mu Babulooninga balangirira mu Sayuuniengeri MUKAMA Katonda waffe gye yeesasuzza,gye yeesasuzza olwa yeekaalu ye. 29 “Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,ne bonna abanaanuula omutego.Mumwetooloole yenna;tewaba n’omu awona.Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna;mumukole nga bwe yakola banne.Kubanga yanyooma MUKAMA,Omutukuvu wa Isirayiri. 30 Noolwekyo, abavubuka be baligwa mu nguudo;abaserikale be balisirisibwa ku lunaku olwo,”bw’ayogera MUKAMA Katonda. 31 “Laba, ndi mulabe wo, ggwe ow’amalala,”bw’ayogera Mukama, MUKAMA Katonda ow’Eggye,“Kubanga olunaku lwo lutuuse,ekiseera ky’on’obonerezebwamu. 32 Oyo ow’amalala alyesittala agweera teri n’omu alimuyamba kuyimuka;Ndikoleeza omuliro mu bibuga byeoguliyokya bonna abamwetoolodde.” 33 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti,“Abantu ba Isirayiri banyigirizibwaawamu n’abantu ba Yuda;Bonna ababawambye babanywezezza,bagaanye okubata. 34 Omununuzi waabwe w’amaanyi, MUKAMA Katonda ow’Eggye lye linnya lye.Alirwanirira ensonga zaabwe awatali kubuusabuusa,alyoke aleete emirembe mu nsi yaabwe;wabula alireeta okutabukatabuka mu bantu ba Babulooni. 35 “Ekitala kyolekedde Abakaludaaya,”bw’ayogera MUKAMA,“n’eri abo ababeera mu Babulooni,n’abakungu baabwe n’abasajja baabwe abajjudde amagezi! 36 Ekitala kyolekedde bannabbi baabwe ab’obulimba!Balifuuka balisiriwala,ekitala kyolekedde abalwanyi baabwe.Balijjula entiisa. 37 Ekitala kyolekedde embalaasi ze n’amagaalin’abagwira bonna abamubeeramu!Balifuuka banafu ng’abakazi.Ekitala kyolekedde eby’obugagga bwe!Birinyagibwa! 38 Ekyeya kyolekedde amazzi gaamu!Galikalira.Kubanga ggwanga erisinza ebifaananyi,ebifaananyi ebirigwa eddalu olw’entiisa. 39 “Noolwekyo ensolo z’omu nsiko ziribeera eyo n’empisi,era eyo ekiwuugulu nakyo gye kiribeera.Ekibuga ekyo tekiriddamu kubeeramu bantuwadde kutuulwamu bantu emirembe gyonna. 40 Katonda nga bwe yazikiriza Sodomu ne Ggomolan’ebibuga ebiriraanyeewo,”bw’ayogera MUKAMA,“bw’atyo bw’alikikola ne mutaba muntu n’omu alikibeeramu;tewaliba n’omu alikisigalamu. 41 “Laba, eggye liva mu bukiikakkono;ensi ey’amaanyi ne bakabaka bangi,bakuŋŋaana okuva ku nkomerero y’ensi. 42 Balina obusaale n’amafumu,bakambwe si ba kisa.Beebagadde embalaasi zaabwene baba ng’amayengo agawuluguma mu nnyanja;bali ng’abasajja abalwanyi abajjira mu nnyiriri z’entalookukulumba, ggwe Muwala wa Babulooni. 43 Kabaka w’e Babulooni afunye amawulire agabafaako,n’emikono gye girebedde.Entiisa emugwiridde,ng’omukazi alumwa okuzaala. 44 Ng’empologoma eva mu kibira kya Yoludaaniokugenda mu ddundiro eggimu,Babulooni ndimugoba mu nsi ye awatali kutemya kikowe.Ani oyo omulonde gwe nnaawa okukola kino?Ani ali nga nze, era ani ayinza okunsomooza?Era musumba ki ayinza okuyimirirawo okumpakanya?” 45 Noolwekyo, wulira MUKAMA ky’ategekedde Babulooni,ky’ategese okuleeta ku nsi y’Abakaludaaya.Obwana bw’ebisibo byabwe bulitwalibwa,alizikiririza ddala ebisibo byabwe ng’abalanga obujeemu bwabwe. 46 Olw’oluyoogaano lw’okuwambibwa kwa Babulooni, ensi erikankana;okukaaba kwe kuliwulirwa mu mawanga.

In Other Versions

Jeremiah 50 in the ANGEFD

Jeremiah 50 in the ANTPNG2D

Jeremiah 50 in the AS21

Jeremiah 50 in the BAGH

Jeremiah 50 in the BBPNG

Jeremiah 50 in the BBT1E

Jeremiah 50 in the BDS

Jeremiah 50 in the BEV

Jeremiah 50 in the BHAD

Jeremiah 50 in the BIB

Jeremiah 50 in the BLPT

Jeremiah 50 in the BNT

Jeremiah 50 in the BNTABOOT

Jeremiah 50 in the BNTLV

Jeremiah 50 in the BOATCB

Jeremiah 50 in the BOATCB2

Jeremiah 50 in the BOBCV

Jeremiah 50 in the BOCNT

Jeremiah 50 in the BOECS

Jeremiah 50 in the BOGWICC

Jeremiah 50 in the BOHCB

Jeremiah 50 in the BOHCV

Jeremiah 50 in the BOHLNT

Jeremiah 50 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 50 in the BOICB

Jeremiah 50 in the BOILNTAP

Jeremiah 50 in the BOITCV

Jeremiah 50 in the BOKCV

Jeremiah 50 in the BOKCV2

Jeremiah 50 in the BOKHWOG

Jeremiah 50 in the BOKSSV

Jeremiah 50 in the BOLCB2

Jeremiah 50 in the BOMCV

Jeremiah 50 in the BONAV

Jeremiah 50 in the BONCB

Jeremiah 50 in the BONLT

Jeremiah 50 in the BONUT2

Jeremiah 50 in the BOPLNT

Jeremiah 50 in the BOSCB

Jeremiah 50 in the BOSNC

Jeremiah 50 in the BOTLNT

Jeremiah 50 in the BOVCB

Jeremiah 50 in the BOYCB

Jeremiah 50 in the BPBB

Jeremiah 50 in the BPH

Jeremiah 50 in the BSB

Jeremiah 50 in the CCB

Jeremiah 50 in the CUV

Jeremiah 50 in the CUVS

Jeremiah 50 in the DBT

Jeremiah 50 in the DGDNT

Jeremiah 50 in the DHNT

Jeremiah 50 in the DNT

Jeremiah 50 in the ELBE

Jeremiah 50 in the EMTV

Jeremiah 50 in the ESV

Jeremiah 50 in the FBV

Jeremiah 50 in the FEB

Jeremiah 50 in the GGMNT

Jeremiah 50 in the GNT

Jeremiah 50 in the HARY

Jeremiah 50 in the HNT

Jeremiah 50 in the IRVA

Jeremiah 50 in the IRVB

Jeremiah 50 in the IRVG

Jeremiah 50 in the IRVH

Jeremiah 50 in the IRVK

Jeremiah 50 in the IRVM

Jeremiah 50 in the IRVM2

Jeremiah 50 in the IRVO

Jeremiah 50 in the IRVP

Jeremiah 50 in the IRVT

Jeremiah 50 in the IRVT2

Jeremiah 50 in the IRVU

Jeremiah 50 in the ISVN

Jeremiah 50 in the JSNT

Jeremiah 50 in the KAPI

Jeremiah 50 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 50 in the KBV

Jeremiah 50 in the KJV

Jeremiah 50 in the KNFD

Jeremiah 50 in the LBA

Jeremiah 50 in the LBLA

Jeremiah 50 in the LNT

Jeremiah 50 in the LSV

Jeremiah 50 in the MAAL

Jeremiah 50 in the MBV

Jeremiah 50 in the MBV2

Jeremiah 50 in the MHNT

Jeremiah 50 in the MKNFD

Jeremiah 50 in the MNG

Jeremiah 50 in the MNT

Jeremiah 50 in the MNT2

Jeremiah 50 in the MRS1T

Jeremiah 50 in the NAA

Jeremiah 50 in the NASB

Jeremiah 50 in the NBLA

Jeremiah 50 in the NBS

Jeremiah 50 in the NBVTP

Jeremiah 50 in the NET2

Jeremiah 50 in the NIV11

Jeremiah 50 in the NNT

Jeremiah 50 in the NNT2

Jeremiah 50 in the NNT3

Jeremiah 50 in the PDDPT

Jeremiah 50 in the PFNT

Jeremiah 50 in the RMNT

Jeremiah 50 in the SBIAS

Jeremiah 50 in the SBIBS

Jeremiah 50 in the SBIBS2

Jeremiah 50 in the SBICS

Jeremiah 50 in the SBIDS

Jeremiah 50 in the SBIGS

Jeremiah 50 in the SBIHS

Jeremiah 50 in the SBIIS

Jeremiah 50 in the SBIIS2

Jeremiah 50 in the SBIIS3

Jeremiah 50 in the SBIKS

Jeremiah 50 in the SBIKS2

Jeremiah 50 in the SBIMS

Jeremiah 50 in the SBIOS

Jeremiah 50 in the SBIPS

Jeremiah 50 in the SBISS

Jeremiah 50 in the SBITS

Jeremiah 50 in the SBITS2

Jeremiah 50 in the SBITS3

Jeremiah 50 in the SBITS4

Jeremiah 50 in the SBIUS

Jeremiah 50 in the SBIVS

Jeremiah 50 in the SBT

Jeremiah 50 in the SBT1E

Jeremiah 50 in the SCHL

Jeremiah 50 in the SNT

Jeremiah 50 in the SUSU

Jeremiah 50 in the SUSU2

Jeremiah 50 in the SYNO

Jeremiah 50 in the TBIAOTANT

Jeremiah 50 in the TBT1E

Jeremiah 50 in the TBT1E2

Jeremiah 50 in the TFTIP

Jeremiah 50 in the TFTU

Jeremiah 50 in the TGNTATF3T

Jeremiah 50 in the THAI

Jeremiah 50 in the TNFD

Jeremiah 50 in the TNT

Jeremiah 50 in the TNTIK

Jeremiah 50 in the TNTIL

Jeremiah 50 in the TNTIN

Jeremiah 50 in the TNTIP

Jeremiah 50 in the TNTIZ

Jeremiah 50 in the TOMA

Jeremiah 50 in the TTENT

Jeremiah 50 in the UBG

Jeremiah 50 in the UGV

Jeremiah 50 in the UGV2

Jeremiah 50 in the UGV3

Jeremiah 50 in the VBL

Jeremiah 50 in the VDCC

Jeremiah 50 in the YALU

Jeremiah 50 in the YAPE

Jeremiah 50 in the YBVTP

Jeremiah 50 in the ZBP