Jeremiah 51 (BOLCB)

1 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti,“Laba, ndiyimusa omwoyo gw’omuzikirizaalumbe Babulooni n’abantu ba Lebukamaayi. 2 Ndituma abagwira e Babuloonibamuwewe era bazikirize ensi ye;balimulumba ku buli luuyiku lunaku olw’okuzikirira kwe. 3 Omulasi talikuba busaale bwe,taliyambala wadde ebyambalo bye ebyokulwanyisa.Temusonyiwa batabani be;muzikiririze ddala amaggye ge. 4 Baligwa nga battiddwa e Babulooni,nga batuusiddwako ebiwundu eby’amaanyi mu nguudo ze. 5 Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwaKatonda waabwe, oyo MUKAMA Katonda ow’Eggye,wadde ng’ensi yaabwe esingiddwa omusangomu maaso g’Omutukuvu wa Isirayiri. 6 “Mudduke Babulooni.Mudduke okuwonya obulamu bwammwe.Temusaanawo olw’ebibi bye.Kiseera kya MUKAMA okwesasuza;alimusasula ekyo ekimusaanira. 7 Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa MUKAMA;yatamiiza ensi yonna.Amawanga gaanywa wayini we,kyegavudde galaluka. 8 Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.Mukikungubagire.Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyooboolyawo anaawonyezebwa. 9 “ ‘Twandiwonyezza Babulooni,naye tayinza kuwonyezeka.Leka tumuleke buli muntu adde mu nsi ye,kubanga omusango gwe gutuuse mu bwengula,gusituse gulinnye okutuuka ku bire.’ 10 “ ‘MUKAMA atulwaniridde,mujje tukitegeeze mu Sayuuniekyo MUKAMA Katonda waffe ky’akoze.’  11 “Muwagale obusaale,mukwate engabo! MUKAMA ayungudde bakabaka ab’e Bumeedi,kubanga ekigendererwa kye kuzikiriza Babulooni. MUKAMA aliwalana eggwanga,aliwalana eggwanga olwa yeekaalu ye. 12 Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni!Mwongereko abakuumi,muteekeko abaserikale,mutegeke okulumba mbagirawo! MUKAMA alituukiriza ekigendererwa bye,ensala ye okwolekera abantu ba Babulooni. 13 Gwe abeera okumpi n’amazzi amangi,omugagga mu bintu eby’omuwendo,enkomerero yo etuuse,ekiseera kyo eky’okuzikirizibwa kituuse. 14 MUKAMA Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe;ddala ndikujjuza abasajja, ng’ebibinja by’enzige,era balireekaana nga bakuwangudde. 15 “Ensi yagikola n’amaanyi ge;yagiteekawo n’amagezi ge,n’ayanjuluza eggulu n’okutegeera kwe. 16 Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma;ayimusa ebire okuva ku nkomerero y’ensi.Amyansisa eggulu mu nkubaera n’aggya empewo mu mawanika ge. 17 “Buli muntu talina magezi wadde okutegeera;Buli muweesi aswadde olw’ebifaananyi bya bakatonda by’akoze n’emikono gye.Ebifaananyi bye bya bulimba;tebirina mukka. 18 Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwaebirizikirizibwa nga MUKAMA azze okusala omusango. 19 Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano,kubanga yakola ebintu byonna,nga mwotwalidde n’eggwanga ly’omugabo gwe,n’erinnya lye ye MUKAMA Katonda ow’Eggye. 20 “Muli mbazzi yange,ekyokulwanyisa kyange eky’olutalo,mmwe be nkozesa okubetenta amawanga,mmwe be nkozesa okuzikiriza obwakabaka, 21 era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi,ggwe gwe ndikozesa okubetenta ekigaali n’omuvuzi waakyo, 22 era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi,era ggwe ndikozesa okubetenta omukadde n’omuvubuka,era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala omuto. 23 Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye,ggwe gwe ndikozesa okubetenta omulimi n’ente ennume,ggwe gwe ndikozesa okubetenta bagavana n’abakungu. 24 “Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera MUKAMA. 25 “Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza,mmwe abazikiriza ensi yonna,”bw’ayogera MUKAMA.“Ndikugolererako omukono gwange,nkusuule ku mayinja g’ensozi,nkufuule olusozi olutakyayaka. 26 Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda,wadde ejjinja lyonna okukola omusingi,kubanga olibeera matongo emirembe gyonna,”bw’ayogera MUKAMA. 27 “Yimusa bendera mu ggwanga!Fuuwa omulere mu mawanga!Tegeka amawanga okumulwanyisa;koowoola obwakabaka buno bumulumbe:obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi.Londa omuduumizi amulumba,weereza embalaasi eziri ng’ekibinja ky’enzige. 28 Teekateeka amawanga okumulwanyisa;bakabaka Abameedi,bagavana baabwe era n’abakungu baabwe bonna,n’amawanga ge bafuga. 29 Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi,kubanga ebigendererwa bya MUKAMA eri Babulooni tebikyuka,okuzikiriza ensi ya Babulooniwaleme kubaawo agibeeramu. 30 Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana;basigadde mu bigo byabwe.Baweddemu amaanyi;bafuuse nga bakazi.Ebifo bye mw’abeera byokeddwa omuliro;emitayimbwa gy’oku nzigi ze gimenyeddwa. 31 Matalisi omu agoberera omulala,omubaka omu n’agoberera munne,okulangirira eri kabaka w’e Babulooni ntiekibuga kye kyonna kiwambiddwa, 32 entindo z’emigga baziwambye,ensenyi ziyidde omuliro,n’abaserikale batidde.” 33 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,“Muwala wa Babulooni ali ng’egguuliro,mu kiseera w’analinnyiririrwa;ebiseera eby’okumukungula binaatera okutuuka.” 34 “Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atukubyekubye,atutabudde,tufuuse ekikompe ekyereere.Atumize ng’omusotan’olubuto lwe n’alujjuza ebyassava byaffe ebiwooma,ffe n’atusesema. 35 Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,”bwe boogera abatuula mu Sayuuni.“Leka omusaayi gubeere ku abo ababeera mu Babulooni,”bwayogera Yerusaalemi. 36 MUKAMA kyava ayogera nti,“Laba ndikulwanirira era ndikuwolerera eggwanga;Ndikaliza ennyanja yen’ensulo ze. 37 Babulooni kirifuuka bifunvu,mpuku ya bibe,ekintu ekyenyinyalwa n’okusekererwa,ekifo omutali abeeramu. 38 Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento,bavuumira wamu ng’abaana b’empologoma. 39 Naye nga bakyabuguumirira,ndibategekera ekijjulo,mbatamiizebalyoke balekaane nga baseka,olwo beebake emirembe gyonna nga tebazuukuse,”bw’ayogera MUKAMA. 40 “Ndibaserengesang’abaana b’endiga, battibwe,ng’endiga n’embuzi. 41 “Sesaki nga kiriwambibwa,okujaguza kw’ensi yonna kugwewo.Babulooni kifuuse matongo eri amawanga! 42 Ennyanja eribuutikira Babulooni;amayengo gaayo agawuluguma galigisaanikira. 43 Ebibuga bye birisigala matongo,ensi enkalu ey’eddungu,ensi eteriimu muntu,eteyitamu muntu yenna. 44 Ndibonereza Beri mu Babulooni,mmusesemye bye yali amize.Amawanga nga tegakyesomba kugenda gyali.Ne bbugwe wa Babulooni aligwa. 45 “Mukiveemu, abantu bange!Mudduke muwonye obulamu bwammwe!Mudduke muwone obusungu bwa MUKAMA obubuubuuka. 46 Temutya wadde okuggwaamu amaanying’eŋŋambo ziyitiŋŋana mu nsi;olugambo olumu lujja omwaka guno, olulala omwaka ogujja,eŋŋambo z’entalo mu ggwanga,era ez’omufuzi ng’alwana ne mufuzi munne. 47 Kubanga ekiseera kijjalwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda ba Babulooni abaakolebwa n’emikono;ensi eyo yonna eritabanguka,n’emirambo gy’abantu baayo abattiddwa gyonna gibeere omwo. 48 Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimubirireekana olw’essanyu olwa Babulooni,abalimuzikiriza balimulumbaokuva mu bukiikakkono,”bw’ayogera MUKAMA. 49 “Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa,nga bonna abaafa mu nsi yonnabwe baweddewo olwa Babulooni. 50 Mmwe abawonye ekitala,mwanguwe okugenda!Mujjukire MUKAMA nga muli mu nsi ey’ewala,mulowooze ku Yerusaalemi.” 51 “Tuweddemu amaanyikubanga tuvumiddwaera tukwatiddwa ensonyi,kubanga abagwira bayingiddemu bifo ebitukuvu eby’ennyumba ya MUKAMA.” 52 “Naye ennaku zijja,” bw’ayogera MUKAMA,“lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola n’emikono,era mu nsi ye yonna,abaliko ebisago balisinda. 53 Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bireera ne yeenyweza n’ebigo bye eby’amaanyi,ndimusindikira abazikiriza,”bw’ayogera MUKAMA. 54 “Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni,eddoboozi ery’okuzikirira okuneneokuva mu nsi y’Abakaludaaya. 55 MUKAMA alizikiriza Babulooni,alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene.Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi;okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa. 56 Omuzikiriza alirumba Babulooni;abalwanyi be baliwambibwa,n’emitego gyabwe girimenyebwa.Kubanga MUKAMA Katonda asasula,alisasula mu bujjuvu. 57 Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi;balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,”bw’ayogera Kabaka ayitibwa MUKAMA Katonda ow’Eggye. 58 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye nti,“Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwaera n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe;abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.” 59 Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu. 60 Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni. 61 Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna. 62 Olwo ogambe nti, ‘Ayi MUKAMA, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’ 63 Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati. 64 Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’ ”Ebigambo bya Yeremiya bikoma awo.

In Other Versions

Jeremiah 51 in the ANGEFD

Jeremiah 51 in the ANTPNG2D

Jeremiah 51 in the AS21

Jeremiah 51 in the BAGH

Jeremiah 51 in the BBPNG

Jeremiah 51 in the BBT1E

Jeremiah 51 in the BDS

Jeremiah 51 in the BEV

Jeremiah 51 in the BHAD

Jeremiah 51 in the BIB

Jeremiah 51 in the BLPT

Jeremiah 51 in the BNT

Jeremiah 51 in the BNTABOOT

Jeremiah 51 in the BNTLV

Jeremiah 51 in the BOATCB

Jeremiah 51 in the BOATCB2

Jeremiah 51 in the BOBCV

Jeremiah 51 in the BOCNT

Jeremiah 51 in the BOECS

Jeremiah 51 in the BOGWICC

Jeremiah 51 in the BOHCB

Jeremiah 51 in the BOHCV

Jeremiah 51 in the BOHLNT

Jeremiah 51 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 51 in the BOICB

Jeremiah 51 in the BOILNTAP

Jeremiah 51 in the BOITCV

Jeremiah 51 in the BOKCV

Jeremiah 51 in the BOKCV2

Jeremiah 51 in the BOKHWOG

Jeremiah 51 in the BOKSSV

Jeremiah 51 in the BOLCB2

Jeremiah 51 in the BOMCV

Jeremiah 51 in the BONAV

Jeremiah 51 in the BONCB

Jeremiah 51 in the BONLT

Jeremiah 51 in the BONUT2

Jeremiah 51 in the BOPLNT

Jeremiah 51 in the BOSCB

Jeremiah 51 in the BOSNC

Jeremiah 51 in the BOTLNT

Jeremiah 51 in the BOVCB

Jeremiah 51 in the BOYCB

Jeremiah 51 in the BPBB

Jeremiah 51 in the BPH

Jeremiah 51 in the BSB

Jeremiah 51 in the CCB

Jeremiah 51 in the CUV

Jeremiah 51 in the CUVS

Jeremiah 51 in the DBT

Jeremiah 51 in the DGDNT

Jeremiah 51 in the DHNT

Jeremiah 51 in the DNT

Jeremiah 51 in the ELBE

Jeremiah 51 in the EMTV

Jeremiah 51 in the ESV

Jeremiah 51 in the FBV

Jeremiah 51 in the FEB

Jeremiah 51 in the GGMNT

Jeremiah 51 in the GNT

Jeremiah 51 in the HARY

Jeremiah 51 in the HNT

Jeremiah 51 in the IRVA

Jeremiah 51 in the IRVB

Jeremiah 51 in the IRVG

Jeremiah 51 in the IRVH

Jeremiah 51 in the IRVK

Jeremiah 51 in the IRVM

Jeremiah 51 in the IRVM2

Jeremiah 51 in the IRVO

Jeremiah 51 in the IRVP

Jeremiah 51 in the IRVT

Jeremiah 51 in the IRVT2

Jeremiah 51 in the IRVU

Jeremiah 51 in the ISVN

Jeremiah 51 in the JSNT

Jeremiah 51 in the KAPI

Jeremiah 51 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 51 in the KBV

Jeremiah 51 in the KJV

Jeremiah 51 in the KNFD

Jeremiah 51 in the LBA

Jeremiah 51 in the LBLA

Jeremiah 51 in the LNT

Jeremiah 51 in the LSV

Jeremiah 51 in the MAAL

Jeremiah 51 in the MBV

Jeremiah 51 in the MBV2

Jeremiah 51 in the MHNT

Jeremiah 51 in the MKNFD

Jeremiah 51 in the MNG

Jeremiah 51 in the MNT

Jeremiah 51 in the MNT2

Jeremiah 51 in the MRS1T

Jeremiah 51 in the NAA

Jeremiah 51 in the NASB

Jeremiah 51 in the NBLA

Jeremiah 51 in the NBS

Jeremiah 51 in the NBVTP

Jeremiah 51 in the NET2

Jeremiah 51 in the NIV11

Jeremiah 51 in the NNT

Jeremiah 51 in the NNT2

Jeremiah 51 in the NNT3

Jeremiah 51 in the PDDPT

Jeremiah 51 in the PFNT

Jeremiah 51 in the RMNT

Jeremiah 51 in the SBIAS

Jeremiah 51 in the SBIBS

Jeremiah 51 in the SBIBS2

Jeremiah 51 in the SBICS

Jeremiah 51 in the SBIDS

Jeremiah 51 in the SBIGS

Jeremiah 51 in the SBIHS

Jeremiah 51 in the SBIIS

Jeremiah 51 in the SBIIS2

Jeremiah 51 in the SBIIS3

Jeremiah 51 in the SBIKS

Jeremiah 51 in the SBIKS2

Jeremiah 51 in the SBIMS

Jeremiah 51 in the SBIOS

Jeremiah 51 in the SBIPS

Jeremiah 51 in the SBISS

Jeremiah 51 in the SBITS

Jeremiah 51 in the SBITS2

Jeremiah 51 in the SBITS3

Jeremiah 51 in the SBITS4

Jeremiah 51 in the SBIUS

Jeremiah 51 in the SBIVS

Jeremiah 51 in the SBT

Jeremiah 51 in the SBT1E

Jeremiah 51 in the SCHL

Jeremiah 51 in the SNT

Jeremiah 51 in the SUSU

Jeremiah 51 in the SUSU2

Jeremiah 51 in the SYNO

Jeremiah 51 in the TBIAOTANT

Jeremiah 51 in the TBT1E

Jeremiah 51 in the TBT1E2

Jeremiah 51 in the TFTIP

Jeremiah 51 in the TFTU

Jeremiah 51 in the TGNTATF3T

Jeremiah 51 in the THAI

Jeremiah 51 in the TNFD

Jeremiah 51 in the TNT

Jeremiah 51 in the TNTIK

Jeremiah 51 in the TNTIL

Jeremiah 51 in the TNTIN

Jeremiah 51 in the TNTIP

Jeremiah 51 in the TNTIZ

Jeremiah 51 in the TOMA

Jeremiah 51 in the TTENT

Jeremiah 51 in the UBG

Jeremiah 51 in the UGV

Jeremiah 51 in the UGV2

Jeremiah 51 in the UGV3

Jeremiah 51 in the VBL

Jeremiah 51 in the VDCC

Jeremiah 51 in the YALU

Jeremiah 51 in the YAPE

Jeremiah 51 in the YBVTP

Jeremiah 51 in the ZBP