John 17 (BOLCB)
1 Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’ayimusa amaaso ge n’atunula eri eggulu, n’ayogera nti, “Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, n’omwana alyoke akugulumize, 2 nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. 3 Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo. 4 Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza. 5 Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ng’ensi tennabeerawo.” 6 “Njolesezza erinnya lyo eri abantu be wampa okuva mu nsi. Baali ba nsi naye n’obampa. Baali babo n’obampa era bakkirizza ekigambo kyo. 7 Bategedde nga buli kye nnina kiva gy’oli, 8 kubanga buli kye wandagira nkibayigirizza ne bakitegeera era bategeeredde ddala nga nava gy’oli, era ne bakkiriza nga ggwe wantuma. 9 Mbasabira. Sisabira nsi, naye nsabira abo be wampa kubanga babo. 10 Ng’ebintu byonna bwe biri ebyange ate era nga bibyo, era ne bibyo nga byange, bampeesa ekitiibwa. 11 Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi, ate nga nzija gy’oli. Kitange Omutukuvu, be wampa bakuume mu linnya lyo, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. 12 Bwe mbadde nabo, abo be wampa mbakuumye mu linnya lyo, ne watabaawo azikirira, okuggyako omwana ow’okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.” 13 “Nange kaakano nzija gy’oli, era mbabuulidde ebintu bino nabo babe n’essanyu lyange nga lituukiridde mu bo. 14 Mbawadde ekigambo kyo, ensi n’ebakyawa kubanga si ba nsi nga Nze bwe siri wa nsi. 15 Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume eri omubi. 16 Si ba nsi nga nange bwe siri wa nsi. 17 Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima. 18 Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe ntyo mbatuma mu nsi. 19 Era neetukuza ku lwabwe nabo balyoke batukuzibwe mu mazima.” 20 “Sisabira bano bokka naye nsabira n’abo abanzikiriza olw’ekigambo kyabwe, 21 bonna babeere bumu, nga ggwe Kitange bw’oli mu Nze, nange nga ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma. 22 Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. 23 Nze nga ndi mu bo, era naawe ng’oli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala.” 24 “Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ng’ensi tennatondebwa. 25 “Ayi Kitange Omutukuvu, ensi teyakumanya, kyokka Nze nkumanyi era n’abayigirizwa bano bamanyi nga ggwe wantuma. 26 Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kw’onjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”
In Other Versions
John 17 in the ANGEFD
John 17 in the ANTPNG2D
John 17 in the AS21
John 17 in the BAGH
John 17 in the BBPNG
John 17 in the BBT1E
John 17 in the BDS
John 17 in the BEV
John 17 in the BHAD
John 17 in the BIB
John 17 in the BLPT
John 17 in the BNT
John 17 in the BNTABOOT
John 17 in the BNTLV
John 17 in the BOATCB
John 17 in the BOATCB2
John 17 in the BOBCV
John 17 in the BOCNT
John 17 in the BOECS
John 17 in the BOGWICC
John 17 in the BOHCB
John 17 in the BOHCV
John 17 in the BOHLNT
John 17 in the BOHNTLTAL
John 17 in the BOICB
John 17 in the BOILNTAP
John 17 in the BOITCV
John 17 in the BOKCV
John 17 in the BOKCV2
John 17 in the BOKHWOG
John 17 in the BOKSSV
John 17 in the BOLCB2
John 17 in the BOMCV
John 17 in the BONAV
John 17 in the BONCB
John 17 in the BONLT
John 17 in the BONUT2
John 17 in the BOPLNT
John 17 in the BOSCB
John 17 in the BOSNC
John 17 in the BOTLNT
John 17 in the BOVCB
John 17 in the BOYCB
John 17 in the BPBB
John 17 in the BPH
John 17 in the BSB
John 17 in the CCB
John 17 in the CUV
John 17 in the CUVS
John 17 in the DBT
John 17 in the DGDNT
John 17 in the DHNT
John 17 in the DNT
John 17 in the ELBE
John 17 in the EMTV
John 17 in the ESV
John 17 in the FBV
John 17 in the FEB
John 17 in the GGMNT
John 17 in the GNT
John 17 in the HARY
John 17 in the HNT
John 17 in the IRVA
John 17 in the IRVB
John 17 in the IRVG
John 17 in the IRVH
John 17 in the IRVK
John 17 in the IRVM
John 17 in the IRVM2
John 17 in the IRVO
John 17 in the IRVP
John 17 in the IRVT
John 17 in the IRVT2
John 17 in the IRVU
John 17 in the ISVN
John 17 in the JSNT
John 17 in the KAPI
John 17 in the KBT1ETNIK
John 17 in the KBV
John 17 in the KJV
John 17 in the KNFD
John 17 in the LBA
John 17 in the LBLA
John 17 in the LNT
John 17 in the LSV
John 17 in the MAAL
John 17 in the MBV
John 17 in the MBV2
John 17 in the MHNT
John 17 in the MKNFD
John 17 in the MNG
John 17 in the MNT
John 17 in the MNT2
John 17 in the MRS1T
John 17 in the NAA
John 17 in the NASB
John 17 in the NBLA
John 17 in the NBS
John 17 in the NBVTP
John 17 in the NET2
John 17 in the NIV11
John 17 in the NNT
John 17 in the NNT2
John 17 in the NNT3
John 17 in the PDDPT
John 17 in the PFNT
John 17 in the RMNT
John 17 in the SBIAS
John 17 in the SBIBS
John 17 in the SBIBS2
John 17 in the SBICS
John 17 in the SBIDS
John 17 in the SBIGS
John 17 in the SBIHS
John 17 in the SBIIS
John 17 in the SBIIS2
John 17 in the SBIIS3
John 17 in the SBIKS
John 17 in the SBIKS2
John 17 in the SBIMS
John 17 in the SBIOS
John 17 in the SBIPS
John 17 in the SBISS
John 17 in the SBITS
John 17 in the SBITS2
John 17 in the SBITS3
John 17 in the SBITS4
John 17 in the SBIUS
John 17 in the SBIVS
John 17 in the SBT
John 17 in the SBT1E
John 17 in the SCHL
John 17 in the SNT
John 17 in the SUSU
John 17 in the SUSU2
John 17 in the SYNO
John 17 in the TBIAOTANT
John 17 in the TBT1E
John 17 in the TBT1E2
John 17 in the TFTIP
John 17 in the TFTU
John 17 in the TGNTATF3T
John 17 in the THAI
John 17 in the TNFD
John 17 in the TNT
John 17 in the TNTIK
John 17 in the TNTIL
John 17 in the TNTIN
John 17 in the TNTIP
John 17 in the TNTIZ
John 17 in the TOMA
John 17 in the TTENT
John 17 in the UBG
John 17 in the UGV
John 17 in the UGV2
John 17 in the UGV3
John 17 in the VBL
John 17 in the VDCC
John 17 in the YALU
John 17 in the YAPE
John 17 in the YBVTP
John 17 in the ZBP