John 6 (BOLCB)

1 Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’asomoka ennyanja ey’e Ggaliraaya, era eyitibwa ey’e Tiberiya. 2 Ekibiina ky’abantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ng’awonya abalwadde. 3 Awo Yesu n’alinnya ku lusozi n’atuula wansi n’abayigirizwa be. 4 Embaga y’Abayudaaya eyitibwa Okuyitako yali eri kumpi okutuuka. 5 Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?” 6 Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola. 7 Firipo n’amuddamu nti, “Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono.” 8 Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti, 9 “Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?” 10 Yesu n’abagamba nti, “Mutuuze abantu.” Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano. 11 Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta. 12 Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa.” 13 Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya. 14 Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, “Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!” 15 Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi. 16 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ba Yesu ne baserengeta ku nnyanja 17 ne basaabala mu lyato ne boolekera Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali. 18 Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n’esiikuuka. 19 Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya. 20 Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!” 21 Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda. 22 Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaasigala emitala w’eri, ne balabawo eryato limu lyokka, ne bamanya ng’abayigirizwa be baawunguka bokka mu lyato. 23 Kyokka amaato ne gava e Tiberiya ne gagoba awo kumpi n’ekifo abantu we baaliira emigaati Yesu gye yabawa ng’amaze okwebaza. 24 Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo wadde abayigirizwa be, ne bakwata amaato ne bawunguka ne batuuka e Kaperunawumu nga banoonya Yesu. 25 Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?” 26 Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 27 Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.” 28 Awo ne bamubuuza nti, “Tukole ki okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala?” 29 Yesu n’abaddamu nti, “Katonda ky’ayagala mukole kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.” 30 Ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k’okola, tulabe tukukkirize? Onookola kabonero ki? 31 Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’ ” 32 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu. 33 Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.” 34 Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku.” 35 Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta. 36 Naye nabagamba nti mundabye naye era ne mutanzikiriza. 37 Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru. 38 Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma ky’ayagala, so si Nze bye njagala ku bwange. 39 Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero. 40 Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.” 41 Awo Abayudaaya ne batandika okwemulugunyiza Yesu, kubanga yabagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.” 42 Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti, ‘Nava mu ggulu?’ ” 43 Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya. 44 Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 45 Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi. 46 Si kuba nti waliwo eyali alabye ku Kitange, wabula oyo eyava eri Katonda, ye yalaba Kitaawe. 47 Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo! 48 Nze mmere ey’obulamu. 49 Bajjajjammwe baalya emaanu mu ddungu ne bafa. 50 Eno y’emmere eyava mu ggulu, buli agiryako aleme okufa. 51 Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.” 52 Awo Abayudaaya ne batandika okuwakana bokka na bokka nga bagamba nti, “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?” 53 Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa n’omusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe. 54 Buli alya omubiri gwange n’anywa n’omusaayi gwange, ng’afunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 55 Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala n’omusaayi gwange kye kyokunywa ddala. 56 Oyo alya ku mubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye. 57 Nga Kitange eyantuma bw’ali omulamu, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, noolwekyo oyo alya ku nze naye aliba mulamu ku bwange. 58 Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe.” 59 Ebyo Yesu yabyogera ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Kaperunawumu. 60 Abayigirizwa ba Yesu bangi bwe baabiwulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu okutegeera. Ani asobola okutunnyonnyola ky’agamba?” 61 Awo Yesu bwe yategeera nga n’abayigirizwa be bakyemulugunyako, n’abagamba nti, “Ekyo kibeesittaza? 62 Kale mulirowooza ki bwe muliraba Omwana w’Omuntu ng’addayo gye yava? 63 Mwoyo Mutukuvu y’awa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu. 64 Naye era abamu ku mmwe temukkiriza.” Kubanga okuva ku lubereberye Yesu yategeera abatamukkiriza era n’oyo agenda okumulyamu olukwe. 65 Awo n’agamba nti, “Kyennava ŋŋamba nti tewali ayinza kujja gye ndi bw’atakiweebwa Kitange.” 66 Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako ne bataddayo kuyita naye. 67 Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’ababuuza nti, “Nammwe mwagala kugenda?” 68 Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo. 69 Ffe tubikkiriza era tumanyi nti oli Mutukuvu wa Katonda.” 70 Awo Yesu kwe kubagamba nti, “Mmwe ekkumi n’ababiri si nze nabalonda? Naye omu ku mmwe Setaani!” 71 Yesu yayogera ku Yuda, mutabani wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe.

In Other Versions

John 6 in the ANGEFD

John 6 in the ANTPNG2D

John 6 in the AS21

John 6 in the BAGH

John 6 in the BBPNG

John 6 in the BBT1E

John 6 in the BDS

John 6 in the BEV

John 6 in the BHAD

John 6 in the BIB

John 6 in the BLPT

John 6 in the BNT

John 6 in the BNTABOOT

John 6 in the BNTLV

John 6 in the BOATCB

John 6 in the BOATCB2

John 6 in the BOBCV

John 6 in the BOCNT

John 6 in the BOECS

John 6 in the BOGWICC

John 6 in the BOHCB

John 6 in the BOHCV

John 6 in the BOHLNT

John 6 in the BOHNTLTAL

John 6 in the BOICB

John 6 in the BOILNTAP

John 6 in the BOITCV

John 6 in the BOKCV

John 6 in the BOKCV2

John 6 in the BOKHWOG

John 6 in the BOKSSV

John 6 in the BOLCB2

John 6 in the BOMCV

John 6 in the BONAV

John 6 in the BONCB

John 6 in the BONLT

John 6 in the BONUT2

John 6 in the BOPLNT

John 6 in the BOSCB

John 6 in the BOSNC

John 6 in the BOTLNT

John 6 in the BOVCB

John 6 in the BOYCB

John 6 in the BPBB

John 6 in the BPH

John 6 in the BSB

John 6 in the CCB

John 6 in the CUV

John 6 in the CUVS

John 6 in the DBT

John 6 in the DGDNT

John 6 in the DHNT

John 6 in the DNT

John 6 in the ELBE

John 6 in the EMTV

John 6 in the ESV

John 6 in the FBV

John 6 in the FEB

John 6 in the GGMNT

John 6 in the GNT

John 6 in the HARY

John 6 in the HNT

John 6 in the IRVA

John 6 in the IRVB

John 6 in the IRVG

John 6 in the IRVH

John 6 in the IRVK

John 6 in the IRVM

John 6 in the IRVM2

John 6 in the IRVO

John 6 in the IRVP

John 6 in the IRVT

John 6 in the IRVT2

John 6 in the IRVU

John 6 in the ISVN

John 6 in the JSNT

John 6 in the KAPI

John 6 in the KBT1ETNIK

John 6 in the KBV

John 6 in the KJV

John 6 in the KNFD

John 6 in the LBA

John 6 in the LBLA

John 6 in the LNT

John 6 in the LSV

John 6 in the MAAL

John 6 in the MBV

John 6 in the MBV2

John 6 in the MHNT

John 6 in the MKNFD

John 6 in the MNG

John 6 in the MNT

John 6 in the MNT2

John 6 in the MRS1T

John 6 in the NAA

John 6 in the NASB

John 6 in the NBLA

John 6 in the NBS

John 6 in the NBVTP

John 6 in the NET2

John 6 in the NIV11

John 6 in the NNT

John 6 in the NNT2

John 6 in the NNT3

John 6 in the PDDPT

John 6 in the PFNT

John 6 in the RMNT

John 6 in the SBIAS

John 6 in the SBIBS

John 6 in the SBIBS2

John 6 in the SBICS

John 6 in the SBIDS

John 6 in the SBIGS

John 6 in the SBIHS

John 6 in the SBIIS

John 6 in the SBIIS2

John 6 in the SBIIS3

John 6 in the SBIKS

John 6 in the SBIKS2

John 6 in the SBIMS

John 6 in the SBIOS

John 6 in the SBIPS

John 6 in the SBISS

John 6 in the SBITS

John 6 in the SBITS2

John 6 in the SBITS3

John 6 in the SBITS4

John 6 in the SBIUS

John 6 in the SBIVS

John 6 in the SBT

John 6 in the SBT1E

John 6 in the SCHL

John 6 in the SNT

John 6 in the SUSU

John 6 in the SUSU2

John 6 in the SYNO

John 6 in the TBIAOTANT

John 6 in the TBT1E

John 6 in the TBT1E2

John 6 in the TFTIP

John 6 in the TFTU

John 6 in the TGNTATF3T

John 6 in the THAI

John 6 in the TNFD

John 6 in the TNT

John 6 in the TNTIK

John 6 in the TNTIL

John 6 in the TNTIN

John 6 in the TNTIP

John 6 in the TNTIZ

John 6 in the TOMA

John 6 in the TTENT

John 6 in the UBG

John 6 in the UGV

John 6 in the UGV2

John 6 in the UGV3

John 6 in the VBL

John 6 in the VDCC

John 6 in the YALU

John 6 in the YAPE

John 6 in the YBVTP

John 6 in the ZBP