Jude 1 (BOLCB)

1 Nze, Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, mpandiikira abaagalwa bonna abaayitibwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumibwa Yesu Kristo. 2 Ekisa kya Katonda, n’emirembe, n’okwagala byeyongerenga mu mmwe. 3 Abaagalwa, nnali neesunga nnyo okubawandiikira ku bulokozi bwaffe bwe ntyo nawalirizibwa okubawandiikira nga mbazzaamu amaanyi nga mbegayirira mulwanirire okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. 4 Waliwo abantu abajja mu bubba, abaawandiikwako edda nga baasalirwa omusango, abatatya Katonda abajerega ekisa kya Katonda waffe, ne bakiyisaamu amaaso, ne beegaana Yesu Kristo Mukama waffe, omu yekka. 5 Naye njagala okubajjukiza nti newaakubadde nga byonna mubimanyi, nga olunaku lumu Mukama yalokola eggwanga n’aliggya mu nsi y’e Misiri, oluvannyuma n’azikiriza abatakkiriza, 6 ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira n’ebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere n’abassa mu kkomera ery’ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango. 7 Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi n’obwenzi, nga n’abasajja bakolaganako eby’ensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa n’omuliro, era byabonerezebwa n’omuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli. 8 Mu ngeri y’emu abo abaloota bagwagwawaza omubiri, ate oludda ne banyooma obuyinza, ne bavvoola ne bamalayika. 9 Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!” 10 Naye kale abantu bano bavvoola kye batategeera, era okufaanana ng’ensolo obusolo bakola buli kye baagala, era ebyo bibaleetedde okuzikirira. 11 Zibasanze abo! Kubanga bagoberera ekkubo lya Kayini, era bakola buli kye basobola okufunamu ensimbi okufaanana nga Balamu, era ne bajeemera Katonda nga Koola bwe yakola, noolwekyo balizikirizibwa. 12 Abantu bano bwe bajja ne babeegattamu nga muli ku mbaga zammwe ez’okumanyagana, baba ng’amabala amabi, nga tebatya, nga beefaako bokka, nga bali ng’ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; oba ng’emiti egiwaatudde, egitaliiko bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuulibwa n’emirandira; 13 oba ng’amayengo ag’oku nnyanja agasiikuuse, ebikolwa byabwe ne bibaswaza; oba ng’emmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo eky’olubeerera. 14 Enoka eyaliwo nga wayiseewo emirembe musanvu okuva ku Adamu, abantu bano yaboogerako eby’obunnabbi nti, “Mulabe Mukama ajja n’abatukuvu be abangi ennyo. 15 Alireeta abantu bonna mu maaso ge basalirwe omusango mu bwenkanya olw’ebikolwa byabwe bonna abatatya Katonda, bye baakola mu bugenderevu, n’olw’ebigambo byonna ebizibu abakozi b’ebibi bye bamwogeddeko eby’obutatya Katonda.” 16 Beemulugunya, era bakola buli kye beegomba, era nga boogerera waggulu ebigambo eby’okweraga; era olaba bassizzaamu omuntu ekitiibwa ng’omanya nti balina kye bamwagalako. 17 Naye mmwe, abaagalwa, mujjukire abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo ebigambo bye baayogera edda 18 bwe baabagamba nti, “Mu nnaku ez’oluvannyuma walijjawo abantu abalibasekerera, nga beegomba nga bwe baagala, nga batambulira mu bitasiimibwa Katonda.” 19 Abo be bo abaleeta enjawukana, ab’omubiri obubiri era abatalina Mwoyo Mutukuvu. 20 Naye mmwe, abaagalwa, musaana okuzimba obulamu bwammwe nga bweyongera okuba obw’amaanyi, nga mubuzimbira ku musingi ogw’okukkiriza kwammwe okutukuvu, era nga musaba mu Mwoyo Mutukuvu, 21 nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo. 22 Mubeerenga ba kisa eri abo ababuusabuusa mu kukkiriza, 23 n’abalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi z’omuliro, n’abalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ng’aboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe. 24 Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era n’okubatuusa mu maaso ge ag’ekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu; 25 Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olw’amaanyi ge n’obuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.

In Other Versions

Jude 1 in the ANGEFD

Jude 1 in the ANTPNG2D

Jude 1 in the AS21

Jude 1 in the BAGH

Jude 1 in the BBPNG

Jude 1 in the BBT1E

Jude 1 in the BDS

Jude 1 in the BEV

Jude 1 in the BHAD

Jude 1 in the BIB

Jude 1 in the BLPT

Jude 1 in the BNT

Jude 1 in the BNTABOOT

Jude 1 in the BNTLV

Jude 1 in the BOATCB

Jude 1 in the BOATCB2

Jude 1 in the BOBCV

Jude 1 in the BOCNT

Jude 1 in the BOECS

Jude 1 in the BOGWICC

Jude 1 in the BOHCB

Jude 1 in the BOHCV

Jude 1 in the BOHLNT

Jude 1 in the BOHNTLTAL

Jude 1 in the BOICB

Jude 1 in the BOILNTAP

Jude 1 in the BOITCV

Jude 1 in the BOKCV

Jude 1 in the BOKCV2

Jude 1 in the BOKHWOG

Jude 1 in the BOKSSV

Jude 1 in the BOLCB2

Jude 1 in the BOMCV

Jude 1 in the BONAV

Jude 1 in the BONCB

Jude 1 in the BONLT

Jude 1 in the BONUT2

Jude 1 in the BOPLNT

Jude 1 in the BOSCB

Jude 1 in the BOSNC

Jude 1 in the BOTLNT

Jude 1 in the BOVCB

Jude 1 in the BOYCB

Jude 1 in the BPBB

Jude 1 in the BPH

Jude 1 in the BSB

Jude 1 in the CCB

Jude 1 in the CUV

Jude 1 in the CUVS

Jude 1 in the DBT

Jude 1 in the DGDNT

Jude 1 in the DHNT

Jude 1 in the DNT

Jude 1 in the ELBE

Jude 1 in the EMTV

Jude 1 in the ESV

Jude 1 in the FBV

Jude 1 in the FEB

Jude 1 in the GGMNT

Jude 1 in the GNT

Jude 1 in the HARY

Jude 1 in the HNT

Jude 1 in the IRVA

Jude 1 in the IRVB

Jude 1 in the IRVG

Jude 1 in the IRVH

Jude 1 in the IRVK

Jude 1 in the IRVM

Jude 1 in the IRVM2

Jude 1 in the IRVO

Jude 1 in the IRVP

Jude 1 in the IRVT

Jude 1 in the IRVT2

Jude 1 in the IRVU

Jude 1 in the ISVN

Jude 1 in the JSNT

Jude 1 in the KAPI

Jude 1 in the KBT1ETNIK

Jude 1 in the KBV

Jude 1 in the KJV

Jude 1 in the KNFD

Jude 1 in the LBA

Jude 1 in the LBLA

Jude 1 in the LNT

Jude 1 in the LSV

Jude 1 in the MAAL

Jude 1 in the MBV

Jude 1 in the MBV2

Jude 1 in the MHNT

Jude 1 in the MKNFD

Jude 1 in the MNG

Jude 1 in the MNT

Jude 1 in the MNT2

Jude 1 in the MRS1T

Jude 1 in the NAA

Jude 1 in the NASB

Jude 1 in the NBLA

Jude 1 in the NBS

Jude 1 in the NBVTP

Jude 1 in the NET2

Jude 1 in the NIV11

Jude 1 in the NNT

Jude 1 in the NNT2

Jude 1 in the NNT3

Jude 1 in the PDDPT

Jude 1 in the PFNT

Jude 1 in the RMNT

Jude 1 in the SBIAS

Jude 1 in the SBIBS

Jude 1 in the SBIBS2

Jude 1 in the SBICS

Jude 1 in the SBIDS

Jude 1 in the SBIGS

Jude 1 in the SBIHS

Jude 1 in the SBIIS

Jude 1 in the SBIIS2

Jude 1 in the SBIIS3

Jude 1 in the SBIKS

Jude 1 in the SBIKS2

Jude 1 in the SBIMS

Jude 1 in the SBIOS

Jude 1 in the SBIPS

Jude 1 in the SBISS

Jude 1 in the SBITS

Jude 1 in the SBITS2

Jude 1 in the SBITS3

Jude 1 in the SBITS4

Jude 1 in the SBIUS

Jude 1 in the SBIVS

Jude 1 in the SBT

Jude 1 in the SBT1E

Jude 1 in the SCHL

Jude 1 in the SNT

Jude 1 in the SUSU

Jude 1 in the SUSU2

Jude 1 in the SYNO

Jude 1 in the TBIAOTANT

Jude 1 in the TBT1E

Jude 1 in the TBT1E2

Jude 1 in the TFTIP

Jude 1 in the TFTU

Jude 1 in the TGNTATF3T

Jude 1 in the THAI

Jude 1 in the TNFD

Jude 1 in the TNT

Jude 1 in the TNTIK

Jude 1 in the TNTIL

Jude 1 in the TNTIN

Jude 1 in the TNTIP

Jude 1 in the TNTIZ

Jude 1 in the TOMA

Jude 1 in the TTENT

Jude 1 in the UBG

Jude 1 in the UGV

Jude 1 in the UGV2

Jude 1 in the UGV3

Jude 1 in the VBL

Jude 1 in the VDCC

Jude 1 in the YALU

Jude 1 in the YAPE

Jude 1 in the YBVTP

Jude 1 in the ZBP