Lamentations 3 (BOLCB)
1 Nze muntu eyakangavvulwan’omuggo ogw’obusungu bwe. 2 Angobye mu maaso ge n’antambulizamu kizikiza, awatali kitangaala; 3 ddala, omukono gwe gunnwanyisizzaemirundi egiddiriŋŋanwa olunaku lwonna. 4 Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyangeera amenye n’amagumba gange. 5 Antaayizza n’anzijuzaobulumi n’okubonaabona. 6 Antadde mu kizikizang’abafu abaafa edda. 7 Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,ansibye enjegere ezizitowa. 8 Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,okusaba kwange akuggalira bweru. 9 Anteeredde amayinja mu kkubo lyangeera akyamizza amakubo gange. 10 Ng’eddubu bwe liteega,n’empologoma bwe yeekweka 11 yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagulan’andeka awo nga sirina anyamba. 12 Yanaanuula omutego gwe,n’anteekawo okuba ssabbaawa ey’obusaale bwe. 13 Yafumita omutima gwangen’obusaale okuva mu mufuko gwe. 14 Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,era bannyooma nga bannyimbirira okuzibya obudde. 15 Anzijuzza ebikaawaera ampadde ekikompe eky’obubalagaze nkinywe. 16 Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka;anninnyiridde mu nfuufu. 17 Emmeeme yange terina mirembe,n’okujjukira sijjukira bugagga bwe bufaanana. 18 Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,n’essuubi lyonna lye nalina mu MUKAMA limpeddeko.” 19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,n’obulumi n’obubalagaze. 20 Mbijjukira bulungiera bwe mbirowoozaako omutima gwange gulumwa. 21 Ebyo byonna mbijjukira,kyenvudde mbeera n’essuubi. 22 Olw’okwagala kwa MUKAMA okutaggwaawo,tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo. 23 Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;n’obwesigwa bwo bwa lubeerera. 24 Njogera mu mutima gwange nti, “MUKAMA gwe mugabo gwange,kyenaava mbeera n’essuubi mu ye.” 25 MUKAMA mulungi eri abo abamulinamu essuubi,eri oyo amunoonya. 26 Kirungi omuntu okulindiriraobulokozi bwa MUKAMA n’obukkakkamu. 27 Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kyemu buvubuka bwe. 28 Atuulenga yekka mu kasirisekubanga MUKAMA y’akimwambiseemu. 29 Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi. 30 Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa,era amalibwe n’okuvumibwa. 31 Kubanga Mukama taligobera bantu bweruebbanga lyonna. 32 Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisakubanga okwagala kwe kungi nnyo tekuggwaawo. 33 Tagenderera kuleeta buluminewaakubadde okubonaabona ku baana ba bantu. 34 MUKAMA akkiriziganyan’okulinnyirira abasibe, 35 n’okuggyako omuntu obwetwaze bwemu maaso g’Oyo Ali Waggulu Ennyo, 36 oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu? 37 Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,Mukama nga takiragidde? 38 Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,si mmwe muva ebigambo eby’okubeerwa n’eby’okubonereza? 39 Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya,bw’abonerezebwa olw’ebibi bye? 40 Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,tudde eri MUKAMA. 41 Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffeeri Katonda mu ggulu, twogere nti, 42 “Twayonoona ne tujeema,tokyerabiranga era tonatusonyiwa. 43 “Ojjudde obusungu n’otugobaganya,n’otutta awatali kutusaasira. 44 Weebisseeko ekire,waleme okubaawo okusaba n’okumu okutuuka gy’oli. 45 Otufudde obusa n’ebisasiromu mawanga. 46 “Abalabe baffe bonna batwogerakoebigambo ebibi. 47 Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitegon’okunyagibwa n’okuzikirizibwa.” 48 Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amazigaolw’okuzikirira kw’abantu bange. 49 Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amazigaawatali kusirika, 50 okutuusa MUKAMA lw’alisinziramu ggulu n’alaba. 51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange. 52 Abalabe bange banjigganya olutatane baba ng’abayigga ennyonyi. 53 Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,ne bankasuukirira amayinja; 54 amazzi gaabikka omutwe gwange,ne ndowooza nti, nsanyeewo. 55 “Nakoowoola erinnya lyo, Ayi MUKAMA,nga ndi mu bunnya wansi ennyo; 56 wawulira okwegayirira kwange: toziba matu goeri okukaaba kwange.” 57 Bwe nakukoowoola wansembereran’oyogera nti, “Totya!” 58 Mukama watunula mu nsonga yange,era n’onunula obulamu bwange. 59 Ayi MUKAMA, walaba ebibi bye bankola,obasalire omusango nga bwe kibagwanira. 60 Walaba bwe bampalana,n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira. 61 Wawulira bye banvuma, Ayi MUKAMA Katonda,n’enkwe zaabwe zonna ze bansalira, 62 obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bangebye bantesaako obudde okuziba. 63 Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;bannyooma nga bwe bannyimbirira. 64 Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi MUKAMA Katonda,olw’ebikolwa eby’emikono gyabwe. 65 Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe,n’ekikolimo kyo kibabeereko. 66 Obayigganye mu busungu bwo obazikirizeng’osinziira mu ggulu lya MUKAMA Katonda.
In Other Versions
Lamentations 3 in the ANTPNG2D
Lamentations 3 in the BNTABOOT
Lamentations 3 in the BOHNTLTAL
Lamentations 3 in the BOILNTAP
Lamentations 3 in the KBT1ETNIK
Lamentations 3 in the TBIAOTANT