Matthew 12 (BOLCB)

1 Awo mu kiseera ekyo Yesu n’ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abayigirizwa be ne balumwa enjala ne batandika okunoga ebirimba by’eŋŋaano ne babirya. 2 Naye Abafalisaayo bwe baalaba kino ne bagamba Yesu nti, “Laba abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukolebwa ku Ssabbiiti.” 3 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalumwa enjala ne be yali nabo? 4 Yayingira mu nnyumba ya Katonda n’alya emigaati egy’okulaga, egikkirizibwa bakabona bokka okulya. 5 Oba temusomanga mu mateeka nti bakabona ababeera mu luwalo lw’okuweereza mu Yeekaalu ne basobya ku Ssabbiiti tebaliiko musango? 6 Naye mbagamba nti ekisinga Yeekaalu kiri wano. 7 Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti, ‘Njagala mubeerenga ba kisa okusinga okuwangayo ssaddaaka,’ temwandinenyezza bataliiko musango. 8 Kubanga Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.” 9 N’avaayo n’ajja mu kuŋŋaaniro lyabwe. 10 Laba mwalimu omusajja eyalina omukono ogwakala. Ne babuuza Yesu obanga kikkirizibwa okuwonya ku Ssabbiiti. Baali basuubira nti anaddamu nti kituufu, balyoke bamuwawaabire. 11 Naye n’abaddamu nti, “Singa wabaddewo omuntu mu mmwe ng’alina endiga emu, n’egwa mu bunnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, tagiggyamu? 12 Kale, omuntu tasinga nnyo endiga omuwendo? Noolwekyo kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti.” 13 Bw’atyo n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agugolola ne guwona, ne guba mulamu nga gunnaagwo! 14 Awo Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa nga bwe banaazikiriza Yesu. 15 Naye Yesu bwe yakimanya n’afuluma mu kuŋŋaaniro, abantu bangi nnyo ne bamugoberera, n’awonya abaali abalwadde bonna, 16 kyokka n’abakomako baleme okumwatuukiriza. 17 Ebyayogerwa Nnabbi Isaaya biryoke bituukirire nti: 18 “Laba Omuweereza wange, ggwe neerondera,gwe njagala ennyo asanyusa emmeeme yange.Ndimuteekako Omwoyo wangeera Alisalira amawanga gonna emisango. 19 Taliyomba so talireekaana,era tewaliba n’omu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo. 20 Talimenya lumuli lunafu,wadde okuzikirizaolutambi lw’ettaala olunyooka. 21 Era abamawanga baliba n’essuubi mu linnya lye.” 22 Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe w’amaaso era nga tayogera. N’amuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera n’asobola okwogera n’okulaba. 23 Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?” 24 Naye Abafalisaayo bwe baakiwulira ne boogera nti, “Ono agoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni.” 25 Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira. 26 Ne Setaani bw’agoba Setaani munne ku muntu aba yeyawuddemu. Obwakabaka bwe bunaayimirira butya? 27 Obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, kale batabani bammwe babagoba ku bw’ani? Noolwekyo be bali basalira omusango. 28 Naye bwe mba ngoba baddayimooni n’amaanyi g’Omwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli. 29 “Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y’omuntu ow’amaanyi, n’amunyagako ebintu bye okuggyako ng’asooka okusiba ow’amaanyi oyo? Olwo n’alyoka anyaga ebintu bye. 30 “Oyo atali nange, mulabe wange. N’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. 31 Noolwekyo mbategeereza ddala nti omuntu alisonyiyibwa buli kibi kyonna, na buli kuvvoola. Naye alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa. 32 Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja. 33 “Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Omuti bw’ogulabirira gubala ebibala ebirungi, naye bw’ogulagajjalira tegubala bibala. 34 Mmwe abaana b’embalasaasa, mmwe abalina ebibi muyinza mutya okwogera ebirungi? Akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima. 35 Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu tterekero lye eddungi, era n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu tterekero lye ebbi. 36 Era mbategeeza nti buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olw’okusalirako emisango. 37 Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.” 38 Awo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza twagala otulage akabonero.” 39 Naye n’abaddamu nti, “Omulembe omwonoonefu era omwenzi ogunoonya akabonero; temugenda kuweebwa kabonero okuggyako aka nnabbi Yona. 40 Kubanga Yona nga bwe yamala mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene ennaku ssatu emisana n’ekiro, n’Omwana w’Omuntu bw’atyo bw’alimala mu ttaka ennaku ssatu emisana n’ekiro. 41 Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona. Naye laba asinga Yona ali wano. 42 Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani. Naye laba asinga Sulemaani ali wano. 43 “Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwumulirako, ne gutafuna wa kuwummulira. 44 Kyeguva gugamba nti, ‘Leka nzireyo mu nnyumba mwe nava.’ Bwe guddayo gusanga nkalu, nga eyereddwa era nga ntegeke. 45 Kyeguva gugenda ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingira mu nnyumba omwo ne gibeera omwo. Olwo omuntu oyo n’abeera bubi nnyo okusinga bwe yali okusooka. Bwe kityo bwe kiriba n’omulembe guno omwonoonefu.” 46 Yesu bwe yali akyayogera n’ekibiina, nnyina ne baganda be ne batuuka ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye. 47 Omuntu omu n’amutegeeza nti, “Nnyoko ne baganda bo, bali wabweru baagala kwogera nawe.” 48 Yesu n’amuddamu nti, “Mmange ye ani era ne baganda bange be baani?” 49 N’agolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’agamba nti, “Mulabe mmange ne baganda bange! 50 Kubanga buli akola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”

In Other Versions

Matthew 12 in the ANGEFD

Matthew 12 in the ANTPNG2D

Matthew 12 in the AS21

Matthew 12 in the BAGH

Matthew 12 in the BBPNG

Matthew 12 in the BBT1E

Matthew 12 in the BDS

Matthew 12 in the BEV

Matthew 12 in the BHAD

Matthew 12 in the BIB

Matthew 12 in the BLPT

Matthew 12 in the BNT

Matthew 12 in the BNTABOOT

Matthew 12 in the BNTLV

Matthew 12 in the BOATCB

Matthew 12 in the BOATCB2

Matthew 12 in the BOBCV

Matthew 12 in the BOCNT

Matthew 12 in the BOECS

Matthew 12 in the BOGWICC

Matthew 12 in the BOHCB

Matthew 12 in the BOHCV

Matthew 12 in the BOHLNT

Matthew 12 in the BOHNTLTAL

Matthew 12 in the BOICB

Matthew 12 in the BOILNTAP

Matthew 12 in the BOITCV

Matthew 12 in the BOKCV

Matthew 12 in the BOKCV2

Matthew 12 in the BOKHWOG

Matthew 12 in the BOKSSV

Matthew 12 in the BOLCB2

Matthew 12 in the BOMCV

Matthew 12 in the BONAV

Matthew 12 in the BONCB

Matthew 12 in the BONLT

Matthew 12 in the BONUT2

Matthew 12 in the BOPLNT

Matthew 12 in the BOSCB

Matthew 12 in the BOSNC

Matthew 12 in the BOTLNT

Matthew 12 in the BOVCB

Matthew 12 in the BOYCB

Matthew 12 in the BPBB

Matthew 12 in the BPH

Matthew 12 in the BSB

Matthew 12 in the CCB

Matthew 12 in the CUV

Matthew 12 in the CUVS

Matthew 12 in the DBT

Matthew 12 in the DGDNT

Matthew 12 in the DHNT

Matthew 12 in the DNT

Matthew 12 in the ELBE

Matthew 12 in the EMTV

Matthew 12 in the ESV

Matthew 12 in the FBV

Matthew 12 in the FEB

Matthew 12 in the GGMNT

Matthew 12 in the GNT

Matthew 12 in the HARY

Matthew 12 in the HNT

Matthew 12 in the IRVA

Matthew 12 in the IRVB

Matthew 12 in the IRVG

Matthew 12 in the IRVH

Matthew 12 in the IRVK

Matthew 12 in the IRVM

Matthew 12 in the IRVM2

Matthew 12 in the IRVO

Matthew 12 in the IRVP

Matthew 12 in the IRVT

Matthew 12 in the IRVT2

Matthew 12 in the IRVU

Matthew 12 in the ISVN

Matthew 12 in the JSNT

Matthew 12 in the KAPI

Matthew 12 in the KBT1ETNIK

Matthew 12 in the KBV

Matthew 12 in the KJV

Matthew 12 in the KNFD

Matthew 12 in the LBA

Matthew 12 in the LBLA

Matthew 12 in the LNT

Matthew 12 in the LSV

Matthew 12 in the MAAL

Matthew 12 in the MBV

Matthew 12 in the MBV2

Matthew 12 in the MHNT

Matthew 12 in the MKNFD

Matthew 12 in the MNG

Matthew 12 in the MNT

Matthew 12 in the MNT2

Matthew 12 in the MRS1T

Matthew 12 in the NAA

Matthew 12 in the NASB

Matthew 12 in the NBLA

Matthew 12 in the NBS

Matthew 12 in the NBVTP

Matthew 12 in the NET2

Matthew 12 in the NIV11

Matthew 12 in the NNT

Matthew 12 in the NNT2

Matthew 12 in the NNT3

Matthew 12 in the PDDPT

Matthew 12 in the PFNT

Matthew 12 in the RMNT

Matthew 12 in the SBIAS

Matthew 12 in the SBIBS

Matthew 12 in the SBIBS2

Matthew 12 in the SBICS

Matthew 12 in the SBIDS

Matthew 12 in the SBIGS

Matthew 12 in the SBIHS

Matthew 12 in the SBIIS

Matthew 12 in the SBIIS2

Matthew 12 in the SBIIS3

Matthew 12 in the SBIKS

Matthew 12 in the SBIKS2

Matthew 12 in the SBIMS

Matthew 12 in the SBIOS

Matthew 12 in the SBIPS

Matthew 12 in the SBISS

Matthew 12 in the SBITS

Matthew 12 in the SBITS2

Matthew 12 in the SBITS3

Matthew 12 in the SBITS4

Matthew 12 in the SBIUS

Matthew 12 in the SBIVS

Matthew 12 in the SBT

Matthew 12 in the SBT1E

Matthew 12 in the SCHL

Matthew 12 in the SNT

Matthew 12 in the SUSU

Matthew 12 in the SUSU2

Matthew 12 in the SYNO

Matthew 12 in the TBIAOTANT

Matthew 12 in the TBT1E

Matthew 12 in the TBT1E2

Matthew 12 in the TFTIP

Matthew 12 in the TFTU

Matthew 12 in the TGNTATF3T

Matthew 12 in the THAI

Matthew 12 in the TNFD

Matthew 12 in the TNT

Matthew 12 in the TNTIK

Matthew 12 in the TNTIL

Matthew 12 in the TNTIN

Matthew 12 in the TNTIP

Matthew 12 in the TNTIZ

Matthew 12 in the TOMA

Matthew 12 in the TTENT

Matthew 12 in the UBG

Matthew 12 in the UGV

Matthew 12 in the UGV2

Matthew 12 in the UGV3

Matthew 12 in the VBL

Matthew 12 in the VDCC

Matthew 12 in the YALU

Matthew 12 in the YAPE

Matthew 12 in the YBVTP

Matthew 12 in the ZBP