Matthew 18 (BOLCB)

1 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?” 2 Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. 3 N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. 4 Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu. 5 “Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. 6 Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.” 7 “Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta. 8 Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. 9 Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.” 10 “Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu. 11 Kubanga Omwana w’Omuntu yajja okulokola ekyabula. 12 “Mulowooza kiki ekituufu? Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku lusozi n’agenda anoonya eri emu ebuze? 13 Ddala ddala mbagamba nti, bw’agiraba agisanyukira nnyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14 Kale bwe kityo ne Kitammwe ali mu ggulu tasiima kulaba ng’omu ku bato bano ng’azikirira.” 15 “Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo. 16 Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. 17 Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo. 18 “Ddala ddala mbagamba nti byonna bye mulisiba ku nsi, ne mu ggulu birisibwa ne bye mulisumulula ku nsi, ne mu ggulu bigenda kusumululwa. 19 “Era ddala ddala mbagamba nti bwe munaabanga babiri mu nsi ne mukkiriziganya ku ekyo kye mwagala okusaba, Kitange ali mu ggulu alikibakolera. 20 Kubanga abantu ababiri oba abasatu bwe banaakuŋŋaananga mu linnya lyange, nange nnaabeeranga awo wakati waabwe.” 21 Awo Peetero n’ajja n’abuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bw’ansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?” 22 Yesu n’amuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.” 23 Awo Yesu n’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye eby’ensimbi, n’abaddu be. 24 Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gw’abanja ettalanta omutwalo gumu. 25 Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe. 26 “Naye omuddu oyo n’agwa wansi mu maaso ga mukama we, n’amwegayirira nti, ‘Ngumiikiriza, nzija kukusasula ebbanja lyonna.’ 27 “Mukama we n’asaasira omuddu oyo n’amusonyiwa ebbanja lyonna! 28 “Omuddu oyo bwe yafuluma n’asanga munne gwe yali abanja eddinaali kikumi, n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’ 29 “Naye munne n’agwa wansi, n’amwegayirira ng’agamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula.’ 30 “Naye amubanja n’agaana okumuwuliriza, n’amuteeka mu kkomera akuumirwe omwo okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna. 31 Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye. 32 “Awo mukama we n’atumya omuddu gwe yali asonyiye n’amugamba nti, ‘Oli muddu mubi nnyo. Nakusonyiye ebbanja eryo lyonna, kubanga wanneegayiridde, 33 naye ggwe kyali tekikugwanira kusaasira muddu munno nga nange bwe nakusaasidde?’ 34 Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, n’amukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna. 35 “Kale ne Kitange ali mu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”

In Other Versions

Matthew 18 in the ANGEFD

Matthew 18 in the ANTPNG2D

Matthew 18 in the AS21

Matthew 18 in the BAGH

Matthew 18 in the BBPNG

Matthew 18 in the BBT1E

Matthew 18 in the BDS

Matthew 18 in the BEV

Matthew 18 in the BHAD

Matthew 18 in the BIB

Matthew 18 in the BLPT

Matthew 18 in the BNT

Matthew 18 in the BNTABOOT

Matthew 18 in the BNTLV

Matthew 18 in the BOATCB

Matthew 18 in the BOATCB2

Matthew 18 in the BOBCV

Matthew 18 in the BOCNT

Matthew 18 in the BOECS

Matthew 18 in the BOGWICC

Matthew 18 in the BOHCB

Matthew 18 in the BOHCV

Matthew 18 in the BOHLNT

Matthew 18 in the BOHNTLTAL

Matthew 18 in the BOICB

Matthew 18 in the BOILNTAP

Matthew 18 in the BOITCV

Matthew 18 in the BOKCV

Matthew 18 in the BOKCV2

Matthew 18 in the BOKHWOG

Matthew 18 in the BOKSSV

Matthew 18 in the BOLCB2

Matthew 18 in the BOMCV

Matthew 18 in the BONAV

Matthew 18 in the BONCB

Matthew 18 in the BONLT

Matthew 18 in the BONUT2

Matthew 18 in the BOPLNT

Matthew 18 in the BOSCB

Matthew 18 in the BOSNC

Matthew 18 in the BOTLNT

Matthew 18 in the BOVCB

Matthew 18 in the BOYCB

Matthew 18 in the BPBB

Matthew 18 in the BPH

Matthew 18 in the BSB

Matthew 18 in the CCB

Matthew 18 in the CUV

Matthew 18 in the CUVS

Matthew 18 in the DBT

Matthew 18 in the DGDNT

Matthew 18 in the DHNT

Matthew 18 in the DNT

Matthew 18 in the ELBE

Matthew 18 in the EMTV

Matthew 18 in the ESV

Matthew 18 in the FBV

Matthew 18 in the FEB

Matthew 18 in the GGMNT

Matthew 18 in the GNT

Matthew 18 in the HARY

Matthew 18 in the HNT

Matthew 18 in the IRVA

Matthew 18 in the IRVB

Matthew 18 in the IRVG

Matthew 18 in the IRVH

Matthew 18 in the IRVK

Matthew 18 in the IRVM

Matthew 18 in the IRVM2

Matthew 18 in the IRVO

Matthew 18 in the IRVP

Matthew 18 in the IRVT

Matthew 18 in the IRVT2

Matthew 18 in the IRVU

Matthew 18 in the ISVN

Matthew 18 in the JSNT

Matthew 18 in the KAPI

Matthew 18 in the KBT1ETNIK

Matthew 18 in the KBV

Matthew 18 in the KJV

Matthew 18 in the KNFD

Matthew 18 in the LBA

Matthew 18 in the LBLA

Matthew 18 in the LNT

Matthew 18 in the LSV

Matthew 18 in the MAAL

Matthew 18 in the MBV

Matthew 18 in the MBV2

Matthew 18 in the MHNT

Matthew 18 in the MKNFD

Matthew 18 in the MNG

Matthew 18 in the MNT

Matthew 18 in the MNT2

Matthew 18 in the MRS1T

Matthew 18 in the NAA

Matthew 18 in the NASB

Matthew 18 in the NBLA

Matthew 18 in the NBS

Matthew 18 in the NBVTP

Matthew 18 in the NET2

Matthew 18 in the NIV11

Matthew 18 in the NNT

Matthew 18 in the NNT2

Matthew 18 in the NNT3

Matthew 18 in the PDDPT

Matthew 18 in the PFNT

Matthew 18 in the RMNT

Matthew 18 in the SBIAS

Matthew 18 in the SBIBS

Matthew 18 in the SBIBS2

Matthew 18 in the SBICS

Matthew 18 in the SBIDS

Matthew 18 in the SBIGS

Matthew 18 in the SBIHS

Matthew 18 in the SBIIS

Matthew 18 in the SBIIS2

Matthew 18 in the SBIIS3

Matthew 18 in the SBIKS

Matthew 18 in the SBIKS2

Matthew 18 in the SBIMS

Matthew 18 in the SBIOS

Matthew 18 in the SBIPS

Matthew 18 in the SBISS

Matthew 18 in the SBITS

Matthew 18 in the SBITS2

Matthew 18 in the SBITS3

Matthew 18 in the SBITS4

Matthew 18 in the SBIUS

Matthew 18 in the SBIVS

Matthew 18 in the SBT

Matthew 18 in the SBT1E

Matthew 18 in the SCHL

Matthew 18 in the SNT

Matthew 18 in the SUSU

Matthew 18 in the SUSU2

Matthew 18 in the SYNO

Matthew 18 in the TBIAOTANT

Matthew 18 in the TBT1E

Matthew 18 in the TBT1E2

Matthew 18 in the TFTIP

Matthew 18 in the TFTU

Matthew 18 in the TGNTATF3T

Matthew 18 in the THAI

Matthew 18 in the TNFD

Matthew 18 in the TNT

Matthew 18 in the TNTIK

Matthew 18 in the TNTIL

Matthew 18 in the TNTIN

Matthew 18 in the TNTIP

Matthew 18 in the TNTIZ

Matthew 18 in the TOMA

Matthew 18 in the TTENT

Matthew 18 in the UBG

Matthew 18 in the UGV

Matthew 18 in the UGV2

Matthew 18 in the UGV3

Matthew 18 in the VBL

Matthew 18 in the VDCC

Matthew 18 in the YALU

Matthew 18 in the YAPE

Matthew 18 in the YBVTP

Matthew 18 in the ZBP