Matthew 22 (BOLCB)

1 Yesu n’addamu n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, 2 “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana nga, kabaka eyategekera omwana we embaga ey’obugole. 3 N’atuma abaddu be okuyita abaayitibwa ku mbaga, ne batayagala kujja. 4 “Kabaka n’abatumira abaddu abalala babategeeze nti, ‘Mutegeeze abayite nti nteeseteese, ekijjulo, zisseddume zange n’ente ensavuwazze zittiddwa, era buli kimu kitegekeddwa. Mujje ku mbaga.’ 5 “Naye ne batassaayo mwoyo, omu n’alaga mu nnimiro ye, omulala n’alaga mu bya busuubuzi bye. 6 Abalala ne babakwata ne bababonyaabonya ne babatta. 7 Awo Kabaka n’asunguwala, n’ayungula ekibinja ky’abaserikale n’azikiriza abatemu abo, n’ayokya ekibuga kyabwe. 8 “Awo kabaka n’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga kiteekeddwateekeddwa, naye abaayitibwa ne batasaanira. 9 Noolwekyo mugende mu nguudo z’omu kibuga muyite abantu bonna be munaasangayo bajje ku mbaga.’ 10 Abaddu bwe baagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya buli gwe baasanga, ababi n’abalungi, ekisenge ky’embaga ne kijjula abagenyi. 11 “Kabaka bwe yayingira okulaba abaali batudde ku mmeeza, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga. 12 Kabaka n’amubuuza nti, ‘Munnange, oyingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ Omusajja nga talina ky’addamu. 13 “Awo kabaka n’alagira basajja be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu mumukasuke ebweru mu kizikiza ekikutte be zigizigi, eri okukaaba n’okuluma obujiji.’ 14 “Abayitibwa bangi, naye abalondemu batono.” 15 Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo. 16 Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu. 17 Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?” 18 Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? 19 Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. 20 N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?” 21 Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.” 22 Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda. 23 Ku lunaku olwo lwe lumu, Abasaddukaayo, abagamba nti, “Tewali kuzuukira,” ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, 24 “Omuyigiriza Musa yagamba nti, ‘Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.’ 25 Twalina abooluganda musanvu. Owooluganda ow’olubereberye n’awasa, kyokka n’afa nga tazadde mwana, bw’atyo mukazi we n’afumbirwa muganda we. 26 Ekintu kye kimu ne kituuka ku wookubiri ne ku wookusatu, okutuusa ku w’omusanvu. 27 Oluvannyuma n’omukazi oyo naye n’afa. 28 Kale okuzuukira nga kutuuse omukazi oyo aliba muka ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna abooluganda omusanvu yabafumbirwako.” 29 Naye Yesu n’abagamba nti, “Olw’obutamanya byawandiikibwa n’obutategeera maanyi ga Katonda kyemuvudde mukyama. 30 Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu. 31 Naye ebikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga ku kigambo ekyayogerwa Katonda ng’agamba nti, 32 ‘Nze, ndi Katonda wa Ibulayimu era ndi Katonda wa Isaaka era ndi Katonda wa Yakobo?’ Noolwekyo Katonda si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu.” 33 Ebibiina ne biwuniikirira bwe baawulira okuyigiriza kwe. 34 Abafalisaayo bwe baawulira nga Yesu Abasaddukaayo abamazeeko eby’okwogera, ne bakuŋŋaana. 35 Omu ku bo eyali munnamateeka n’amubuuza ekibuuzo ng’amugezesa nti, 36 “Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu mateeka.” 37 Yesu n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ 38 Eryo ly’etteeka ery’olubereberye era lye Iisingira ddala obukulu. 39 N’eryokubiri eririfaananako lye lino nti, ‘Yagalanga muliraanwa wo nga gwe bwe weeyagala wekka.’ 40 Amateeka amalala gonna gasinziira mu mateeka ago gombi ne bya bannabbi.” 41 Awo mu kiseera ekyo Abafalisaayo nga bakuŋŋaanye, Yesu n’ababuuza nti, 42 “Kristo mumulowoozako mutya? Mwana waani?” Ne baddamu nti, “Mwana wa Dawudi.” 43 Yesu kyeyava ababuuza nti, “Dawudi ng’ajjudde Omwoyo bw’ayogera ku Kristo, lwaki ate amuyita ‘Mukama we’, ng’agamba nti, 44 “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi w’ebigere byo?” ’ 45 Noolwekyo obanga Dawudi amuyita ‘Mukama we,’ kale, ate abeera atya omwana we?” 46 Ne wataba n’omu amuddamu, era okuva olwo ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.

In Other Versions

Matthew 22 in the ANGEFD

Matthew 22 in the ANTPNG2D

Matthew 22 in the AS21

Matthew 22 in the BAGH

Matthew 22 in the BBPNG

Matthew 22 in the BBT1E

Matthew 22 in the BDS

Matthew 22 in the BEV

Matthew 22 in the BHAD

Matthew 22 in the BIB

Matthew 22 in the BLPT

Matthew 22 in the BNT

Matthew 22 in the BNTABOOT

Matthew 22 in the BNTLV

Matthew 22 in the BOATCB

Matthew 22 in the BOATCB2

Matthew 22 in the BOBCV

Matthew 22 in the BOCNT

Matthew 22 in the BOECS

Matthew 22 in the BOGWICC

Matthew 22 in the BOHCB

Matthew 22 in the BOHCV

Matthew 22 in the BOHLNT

Matthew 22 in the BOHNTLTAL

Matthew 22 in the BOICB

Matthew 22 in the BOILNTAP

Matthew 22 in the BOITCV

Matthew 22 in the BOKCV

Matthew 22 in the BOKCV2

Matthew 22 in the BOKHWOG

Matthew 22 in the BOKSSV

Matthew 22 in the BOLCB2

Matthew 22 in the BOMCV

Matthew 22 in the BONAV

Matthew 22 in the BONCB

Matthew 22 in the BONLT

Matthew 22 in the BONUT2

Matthew 22 in the BOPLNT

Matthew 22 in the BOSCB

Matthew 22 in the BOSNC

Matthew 22 in the BOTLNT

Matthew 22 in the BOVCB

Matthew 22 in the BOYCB

Matthew 22 in the BPBB

Matthew 22 in the BPH

Matthew 22 in the BSB

Matthew 22 in the CCB

Matthew 22 in the CUV

Matthew 22 in the CUVS

Matthew 22 in the DBT

Matthew 22 in the DGDNT

Matthew 22 in the DHNT

Matthew 22 in the DNT

Matthew 22 in the ELBE

Matthew 22 in the EMTV

Matthew 22 in the ESV

Matthew 22 in the FBV

Matthew 22 in the FEB

Matthew 22 in the GGMNT

Matthew 22 in the GNT

Matthew 22 in the HARY

Matthew 22 in the HNT

Matthew 22 in the IRVA

Matthew 22 in the IRVB

Matthew 22 in the IRVG

Matthew 22 in the IRVH

Matthew 22 in the IRVK

Matthew 22 in the IRVM

Matthew 22 in the IRVM2

Matthew 22 in the IRVO

Matthew 22 in the IRVP

Matthew 22 in the IRVT

Matthew 22 in the IRVT2

Matthew 22 in the IRVU

Matthew 22 in the ISVN

Matthew 22 in the JSNT

Matthew 22 in the KAPI

Matthew 22 in the KBT1ETNIK

Matthew 22 in the KBV

Matthew 22 in the KJV

Matthew 22 in the KNFD

Matthew 22 in the LBA

Matthew 22 in the LBLA

Matthew 22 in the LNT

Matthew 22 in the LSV

Matthew 22 in the MAAL

Matthew 22 in the MBV

Matthew 22 in the MBV2

Matthew 22 in the MHNT

Matthew 22 in the MKNFD

Matthew 22 in the MNG

Matthew 22 in the MNT

Matthew 22 in the MNT2

Matthew 22 in the MRS1T

Matthew 22 in the NAA

Matthew 22 in the NASB

Matthew 22 in the NBLA

Matthew 22 in the NBS

Matthew 22 in the NBVTP

Matthew 22 in the NET2

Matthew 22 in the NIV11

Matthew 22 in the NNT

Matthew 22 in the NNT2

Matthew 22 in the NNT3

Matthew 22 in the PDDPT

Matthew 22 in the PFNT

Matthew 22 in the RMNT

Matthew 22 in the SBIAS

Matthew 22 in the SBIBS

Matthew 22 in the SBIBS2

Matthew 22 in the SBICS

Matthew 22 in the SBIDS

Matthew 22 in the SBIGS

Matthew 22 in the SBIHS

Matthew 22 in the SBIIS

Matthew 22 in the SBIIS2

Matthew 22 in the SBIIS3

Matthew 22 in the SBIKS

Matthew 22 in the SBIKS2

Matthew 22 in the SBIMS

Matthew 22 in the SBIOS

Matthew 22 in the SBIPS

Matthew 22 in the SBISS

Matthew 22 in the SBITS

Matthew 22 in the SBITS2

Matthew 22 in the SBITS3

Matthew 22 in the SBITS4

Matthew 22 in the SBIUS

Matthew 22 in the SBIVS

Matthew 22 in the SBT

Matthew 22 in the SBT1E

Matthew 22 in the SCHL

Matthew 22 in the SNT

Matthew 22 in the SUSU

Matthew 22 in the SUSU2

Matthew 22 in the SYNO

Matthew 22 in the TBIAOTANT

Matthew 22 in the TBT1E

Matthew 22 in the TBT1E2

Matthew 22 in the TFTIP

Matthew 22 in the TFTU

Matthew 22 in the TGNTATF3T

Matthew 22 in the THAI

Matthew 22 in the TNFD

Matthew 22 in the TNT

Matthew 22 in the TNTIK

Matthew 22 in the TNTIL

Matthew 22 in the TNTIN

Matthew 22 in the TNTIP

Matthew 22 in the TNTIZ

Matthew 22 in the TOMA

Matthew 22 in the TTENT

Matthew 22 in the UBG

Matthew 22 in the UGV

Matthew 22 in the UGV2

Matthew 22 in the UGV3

Matthew 22 in the VBL

Matthew 22 in the VDCC

Matthew 22 in the YALU

Matthew 22 in the YAPE

Matthew 22 in the YBVTP

Matthew 22 in the ZBP