Psalms 105 (BOLCB)
1 Mwebaze MUKAMA, mukoowoole erinnya lye;amawanga gonna mugategeeze by’akoze. 2 Mumuyimbire, mumutendereze;muyimbe ku byamagero bye. 3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;emitima gy’abo abanoonya MUKAMA gijjule essanyu. 4 Munoonye MUKAMA n’amaanyi ge;mumunoonyenga ennaku zonna. 5 Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,ebyamagero bye, n’emisango gye yasala; 6 mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza bemmwe abaana ba Yakobo, abalonde be. 7 Ye MUKAMA Katonda waffe;ye alamula mu nsi yonna. 8 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi, 9 ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka. 10 Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti, 11 “Ndikuwa ggwe ensi ya Kananiokuba omugabo gwo.” 12 Bwe baali bakyali batono,nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo, 13 baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala. 14 Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti, 15 “Abalonde bange,ne bannabbi bange temubakolangako kabi.” 16 Yaleeta enjala mu nsi,emmere yaabwe yonna n’agizikiriza. 17 N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu, 18 ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,obulago bwe ne buteekebwa mu byuma, 19 okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,okutuusa ekigambo kya MUKAMA lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima. 20 Kabaka n’atuma ne bamusumulula;omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera. 21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina; 22 okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi. 23 Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga. 24 MUKAMA n’ayaza nnyo abantu be;ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira, 25 n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,ne basalira abaweereza be enkwe. 26 Yatuma abaweereza be Musane Alooni, be yalonda. 27 Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu. 28 Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,kubanga baali bajeemedde ekigambo kye. 29 Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa. 30 Ensi yaabwe yajjula ebikere,ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe. 31 Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe. 32 Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna. 33 Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe. 34 Yalagira, enzige ne zijjane bulusejjera obutabalika muwendo. 35 Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa. 36 N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe. 37 Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;era bonna baali ba maanyi. 38 Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,kubanga baali batandise okubatiira ddala. 39 Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,n’omuliro ne gubamulisiza ekiro. 40 Baamusaba, n’abaweereza enkwaleera n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta. 41 Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga. 42 Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvukye yawa omuweereza we Ibulayimu. 43 Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,abalonde be nga bayimba olw’essanyu. 44 Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,ne basikira ebyo abalala bye baakolerera; 45 balyoke bakwatenga amateeka ge,era bagonderenga ebiragiro bye. Mumutendereze MUKAMA.
In Other Versions
Psalms 105 in the ANGEFD
Psalms 105 in the ANTPNG2D
Psalms 105 in the AS21
Psalms 105 in the BAGH
Psalms 105 in the BBPNG
Psalms 105 in the BBT1E
Psalms 105 in the BDS
Psalms 105 in the BEV
Psalms 105 in the BHAD
Psalms 105 in the BIB
Psalms 105 in the BLPT
Psalms 105 in the BNT
Psalms 105 in the BNTABOOT
Psalms 105 in the BNTLV
Psalms 105 in the BOATCB
Psalms 105 in the BOATCB2
Psalms 105 in the BOBCV
Psalms 105 in the BOCNT
Psalms 105 in the BOECS
Psalms 105 in the BOGWICC
Psalms 105 in the BOHCB
Psalms 105 in the BOHCV
Psalms 105 in the BOHLNT
Psalms 105 in the BOHNTLTAL
Psalms 105 in the BOICB
Psalms 105 in the BOILNTAP
Psalms 105 in the BOITCV
Psalms 105 in the BOKCV
Psalms 105 in the BOKCV2
Psalms 105 in the BOKHWOG
Psalms 105 in the BOKSSV
Psalms 105 in the BOLCB2
Psalms 105 in the BOMCV
Psalms 105 in the BONAV
Psalms 105 in the BONCB
Psalms 105 in the BONLT
Psalms 105 in the BONUT2
Psalms 105 in the BOPLNT
Psalms 105 in the BOSCB
Psalms 105 in the BOSNC
Psalms 105 in the BOTLNT
Psalms 105 in the BOVCB
Psalms 105 in the BOYCB
Psalms 105 in the BPBB
Psalms 105 in the BPH
Psalms 105 in the BSB
Psalms 105 in the CCB
Psalms 105 in the CUV
Psalms 105 in the CUVS
Psalms 105 in the DBT
Psalms 105 in the DGDNT
Psalms 105 in the DHNT
Psalms 105 in the DNT
Psalms 105 in the ELBE
Psalms 105 in the EMTV
Psalms 105 in the ESV
Psalms 105 in the FBV
Psalms 105 in the FEB
Psalms 105 in the GGMNT
Psalms 105 in the GNT
Psalms 105 in the HARY
Psalms 105 in the HNT
Psalms 105 in the IRVA
Psalms 105 in the IRVB
Psalms 105 in the IRVG
Psalms 105 in the IRVH
Psalms 105 in the IRVK
Psalms 105 in the IRVM
Psalms 105 in the IRVM2
Psalms 105 in the IRVO
Psalms 105 in the IRVP
Psalms 105 in the IRVT
Psalms 105 in the IRVT2
Psalms 105 in the IRVU
Psalms 105 in the ISVN
Psalms 105 in the JSNT
Psalms 105 in the KAPI
Psalms 105 in the KBT1ETNIK
Psalms 105 in the KBV
Psalms 105 in the KJV
Psalms 105 in the KNFD
Psalms 105 in the LBA
Psalms 105 in the LBLA
Psalms 105 in the LNT
Psalms 105 in the LSV
Psalms 105 in the MAAL
Psalms 105 in the MBV
Psalms 105 in the MBV2
Psalms 105 in the MHNT
Psalms 105 in the MKNFD
Psalms 105 in the MNG
Psalms 105 in the MNT
Psalms 105 in the MNT2
Psalms 105 in the MRS1T
Psalms 105 in the NAA
Psalms 105 in the NASB
Psalms 105 in the NBLA
Psalms 105 in the NBS
Psalms 105 in the NBVTP
Psalms 105 in the NET2
Psalms 105 in the NIV11
Psalms 105 in the NNT
Psalms 105 in the NNT2
Psalms 105 in the NNT3
Psalms 105 in the PDDPT
Psalms 105 in the PFNT
Psalms 105 in the RMNT
Psalms 105 in the SBIAS
Psalms 105 in the SBIBS
Psalms 105 in the SBIBS2
Psalms 105 in the SBICS
Psalms 105 in the SBIDS
Psalms 105 in the SBIGS
Psalms 105 in the SBIHS
Psalms 105 in the SBIIS
Psalms 105 in the SBIIS2
Psalms 105 in the SBIIS3
Psalms 105 in the SBIKS
Psalms 105 in the SBIKS2
Psalms 105 in the SBIMS
Psalms 105 in the SBIOS
Psalms 105 in the SBIPS
Psalms 105 in the SBISS
Psalms 105 in the SBITS
Psalms 105 in the SBITS2
Psalms 105 in the SBITS3
Psalms 105 in the SBITS4
Psalms 105 in the SBIUS
Psalms 105 in the SBIVS
Psalms 105 in the SBT
Psalms 105 in the SBT1E
Psalms 105 in the SCHL
Psalms 105 in the SNT
Psalms 105 in the SUSU
Psalms 105 in the SUSU2
Psalms 105 in the SYNO
Psalms 105 in the TBIAOTANT
Psalms 105 in the TBT1E
Psalms 105 in the TBT1E2
Psalms 105 in the TFTIP
Psalms 105 in the TFTU
Psalms 105 in the TGNTATF3T
Psalms 105 in the THAI
Psalms 105 in the TNFD
Psalms 105 in the TNT
Psalms 105 in the TNTIK
Psalms 105 in the TNTIL
Psalms 105 in the TNTIN
Psalms 105 in the TNTIP
Psalms 105 in the TNTIZ
Psalms 105 in the TOMA
Psalms 105 in the TTENT
Psalms 105 in the UBG
Psalms 105 in the UGV
Psalms 105 in the UGV2
Psalms 105 in the UGV3
Psalms 105 in the VBL
Psalms 105 in the VDCC
Psalms 105 in the YALU
Psalms 105 in the YAPE
Psalms 105 in the YBVTP
Psalms 105 in the ZBP