Psalms 68 (BOLCB)

undefined Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi. 1 Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,n’abo abamukyawa bamudduke. 2 Ng’empewo bw’efuumuula omukka,naawe bafuumuule bw’otyo;envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda! 3 Naye abatuukirivu basanyukebajagulize mu maaso ga Katonda,nga bajjudde essanyu. 4 Muyimbire Katonda,muyimbe nga mutendereza erinnya lye;mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.Erinnya lye ye MUKAMA, mujagulize mu maaso ge. 5 Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu. 6 Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala. 7 Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,n’obayisa mu ddungu, 8 ensi yakankana,eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;n’olusozi Sinaayi ne lukankanaawali Katonda, Katonda wa Isirayiri! 9 Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera; 10 abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo. 11 Mukama yalangirira;ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti: 12 “Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe;abantu ne bagabana omunyago. 13 Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu!Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwaebiwaawaatiro byalyo.” 14 Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka,ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni. 15 Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani;ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani! 16 Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?Ddala okwo MUKAMA kw’anaabeeranga ennaku zonna. 17 Mukama ava ku lusozi Sinaayinga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumin’ajja mu kifo kye ekitukuvu. 18 Bwe walinnyalinnya olusozi,ng’abanyage bakugoberera;abantu ne bakuwa ebirabonga ne bakyewaggula mwebali;bw’atyo MUKAMA Katonda n’abeeranga wamu nabo. 19 Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku. 20 Katonda waffe ye Katonda alokola;era tuddukira eri MUKAMA Katonda okuwona okufa. 21 Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe. 22 Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja, 23 mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.” 24 Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu; 25 abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabegane wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa. 26 Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene;mumutendereze MUKAMA, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri. 27 Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali. 28 Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde. 29 Bakabaka balikuleetera ebiraboolwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi. 30 Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo. 31 Ababaka baliva e Misiri,ne Kuusi aligondera Katonda. 32 Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.Mutendereze Mukama. 33 Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu. 34 Mulangirire obuyinza bwa Katonda,ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;obuyinza bwe buli mu bire. 35 Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi. Katonda atenderezebwe.

In Other Versions

Psalms 68 in the ANGEFD

Psalms 68 in the ANTPNG2D

Psalms 68 in the AS21

Psalms 68 in the BAGH

Psalms 68 in the BBPNG

Psalms 68 in the BBT1E

Psalms 68 in the BDS

Psalms 68 in the BEV

Psalms 68 in the BHAD

Psalms 68 in the BIB

Psalms 68 in the BLPT

Psalms 68 in the BNT

Psalms 68 in the BNTABOOT

Psalms 68 in the BNTLV

Psalms 68 in the BOATCB

Psalms 68 in the BOATCB2

Psalms 68 in the BOBCV

Psalms 68 in the BOCNT

Psalms 68 in the BOECS

Psalms 68 in the BOGWICC

Psalms 68 in the BOHCB

Psalms 68 in the BOHCV

Psalms 68 in the BOHLNT

Psalms 68 in the BOHNTLTAL

Psalms 68 in the BOICB

Psalms 68 in the BOILNTAP

Psalms 68 in the BOITCV

Psalms 68 in the BOKCV

Psalms 68 in the BOKCV2

Psalms 68 in the BOKHWOG

Psalms 68 in the BOKSSV

Psalms 68 in the BOLCB2

Psalms 68 in the BOMCV

Psalms 68 in the BONAV

Psalms 68 in the BONCB

Psalms 68 in the BONLT

Psalms 68 in the BONUT2

Psalms 68 in the BOPLNT

Psalms 68 in the BOSCB

Psalms 68 in the BOSNC

Psalms 68 in the BOTLNT

Psalms 68 in the BOVCB

Psalms 68 in the BOYCB

Psalms 68 in the BPBB

Psalms 68 in the BPH

Psalms 68 in the BSB

Psalms 68 in the CCB

Psalms 68 in the CUV

Psalms 68 in the CUVS

Psalms 68 in the DBT

Psalms 68 in the DGDNT

Psalms 68 in the DHNT

Psalms 68 in the DNT

Psalms 68 in the ELBE

Psalms 68 in the EMTV

Psalms 68 in the ESV

Psalms 68 in the FBV

Psalms 68 in the FEB

Psalms 68 in the GGMNT

Psalms 68 in the GNT

Psalms 68 in the HARY

Psalms 68 in the HNT

Psalms 68 in the IRVA

Psalms 68 in the IRVB

Psalms 68 in the IRVG

Psalms 68 in the IRVH

Psalms 68 in the IRVK

Psalms 68 in the IRVM

Psalms 68 in the IRVM2

Psalms 68 in the IRVO

Psalms 68 in the IRVP

Psalms 68 in the IRVT

Psalms 68 in the IRVT2

Psalms 68 in the IRVU

Psalms 68 in the ISVN

Psalms 68 in the JSNT

Psalms 68 in the KAPI

Psalms 68 in the KBT1ETNIK

Psalms 68 in the KBV

Psalms 68 in the KJV

Psalms 68 in the KNFD

Psalms 68 in the LBA

Psalms 68 in the LBLA

Psalms 68 in the LNT

Psalms 68 in the LSV

Psalms 68 in the MAAL

Psalms 68 in the MBV

Psalms 68 in the MBV2

Psalms 68 in the MHNT

Psalms 68 in the MKNFD

Psalms 68 in the MNG

Psalms 68 in the MNT

Psalms 68 in the MNT2

Psalms 68 in the MRS1T

Psalms 68 in the NAA

Psalms 68 in the NASB

Psalms 68 in the NBLA

Psalms 68 in the NBS

Psalms 68 in the NBVTP

Psalms 68 in the NET2

Psalms 68 in the NIV11

Psalms 68 in the NNT

Psalms 68 in the NNT2

Psalms 68 in the NNT3

Psalms 68 in the PDDPT

Psalms 68 in the PFNT

Psalms 68 in the RMNT

Psalms 68 in the SBIAS

Psalms 68 in the SBIBS

Psalms 68 in the SBIBS2

Psalms 68 in the SBICS

Psalms 68 in the SBIDS

Psalms 68 in the SBIGS

Psalms 68 in the SBIHS

Psalms 68 in the SBIIS

Psalms 68 in the SBIIS2

Psalms 68 in the SBIIS3

Psalms 68 in the SBIKS

Psalms 68 in the SBIKS2

Psalms 68 in the SBIMS

Psalms 68 in the SBIOS

Psalms 68 in the SBIPS

Psalms 68 in the SBISS

Psalms 68 in the SBITS

Psalms 68 in the SBITS2

Psalms 68 in the SBITS3

Psalms 68 in the SBITS4

Psalms 68 in the SBIUS

Psalms 68 in the SBIVS

Psalms 68 in the SBT

Psalms 68 in the SBT1E

Psalms 68 in the SCHL

Psalms 68 in the SNT

Psalms 68 in the SUSU

Psalms 68 in the SUSU2

Psalms 68 in the SYNO

Psalms 68 in the TBIAOTANT

Psalms 68 in the TBT1E

Psalms 68 in the TBT1E2

Psalms 68 in the TFTIP

Psalms 68 in the TFTU

Psalms 68 in the TGNTATF3T

Psalms 68 in the THAI

Psalms 68 in the TNFD

Psalms 68 in the TNT

Psalms 68 in the TNTIK

Psalms 68 in the TNTIL

Psalms 68 in the TNTIN

Psalms 68 in the TNTIP

Psalms 68 in the TNTIZ

Psalms 68 in the TOMA

Psalms 68 in the TTENT

Psalms 68 in the UBG

Psalms 68 in the UGV

Psalms 68 in the UGV2

Psalms 68 in the UGV3

Psalms 68 in the VBL

Psalms 68 in the VDCC

Psalms 68 in the YALU

Psalms 68 in the YAPE

Psalms 68 in the YBVTP

Psalms 68 in the ZBP