Romans 6 (BOLCB)
1 Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? 2 Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? 3 Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? 4 Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya. 5 Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. 6 Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. 7 Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi. 8 Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye 9 Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. 10 Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda. 11 Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu. 12 Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. 13 Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda. 14 Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda. 15 Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe. 16 Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu. 17 Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera. 18 Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda. 19 Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’ebirowoozo eby’obugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’obutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu. 20 Bwe mwali abaddu b’ekibi, temwafugibwanga butuukirivu. 21 Kale mwagasibwa ki mu kukola ebintu ebyo, ebibaleetera ensonyi? Enkomerero yaabyo kufa. 22 Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. 23 Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
In Other Versions
Romans 6 in the ANGEFD
Romans 6 in the ANTPNG2D
Romans 6 in the AS21
Romans 6 in the BAGH
Romans 6 in the BBPNG
Romans 6 in the BBT1E
Romans 6 in the BDS
Romans 6 in the BEV
Romans 6 in the BHAD
Romans 6 in the BIB
Romans 6 in the BLPT
Romans 6 in the BNT
Romans 6 in the BNTABOOT
Romans 6 in the BNTLV
Romans 6 in the BOATCB
Romans 6 in the BOATCB2
Romans 6 in the BOBCV
Romans 6 in the BOCNT
Romans 6 in the BOECS
Romans 6 in the BOGWICC
Romans 6 in the BOHCB
Romans 6 in the BOHCV
Romans 6 in the BOHLNT
Romans 6 in the BOHNTLTAL
Romans 6 in the BOICB
Romans 6 in the BOILNTAP
Romans 6 in the BOITCV
Romans 6 in the BOKCV
Romans 6 in the BOKCV2
Romans 6 in the BOKHWOG
Romans 6 in the BOKSSV
Romans 6 in the BOLCB2
Romans 6 in the BOMCV
Romans 6 in the BONAV
Romans 6 in the BONCB
Romans 6 in the BONLT
Romans 6 in the BONUT2
Romans 6 in the BOPLNT
Romans 6 in the BOSCB
Romans 6 in the BOSNC
Romans 6 in the BOTLNT
Romans 6 in the BOVCB
Romans 6 in the BOYCB
Romans 6 in the BPBB
Romans 6 in the BPH
Romans 6 in the BSB
Romans 6 in the CCB
Romans 6 in the CUV
Romans 6 in the CUVS
Romans 6 in the DBT
Romans 6 in the DGDNT
Romans 6 in the DHNT
Romans 6 in the DNT
Romans 6 in the ELBE
Romans 6 in the EMTV
Romans 6 in the ESV
Romans 6 in the FBV
Romans 6 in the FEB
Romans 6 in the GGMNT
Romans 6 in the GNT
Romans 6 in the HARY
Romans 6 in the HNT
Romans 6 in the IRVA
Romans 6 in the IRVB
Romans 6 in the IRVG
Romans 6 in the IRVH
Romans 6 in the IRVK
Romans 6 in the IRVM
Romans 6 in the IRVM2
Romans 6 in the IRVO
Romans 6 in the IRVP
Romans 6 in the IRVT
Romans 6 in the IRVT2
Romans 6 in the IRVU
Romans 6 in the ISVN
Romans 6 in the JSNT
Romans 6 in the KAPI
Romans 6 in the KBT1ETNIK
Romans 6 in the KBV
Romans 6 in the KJV
Romans 6 in the KNFD
Romans 6 in the LBA
Romans 6 in the LBLA
Romans 6 in the LNT
Romans 6 in the LSV
Romans 6 in the MAAL
Romans 6 in the MBV
Romans 6 in the MBV2
Romans 6 in the MHNT
Romans 6 in the MKNFD
Romans 6 in the MNG
Romans 6 in the MNT
Romans 6 in the MNT2
Romans 6 in the MRS1T
Romans 6 in the NAA
Romans 6 in the NASB
Romans 6 in the NBLA
Romans 6 in the NBS
Romans 6 in the NBVTP
Romans 6 in the NET2
Romans 6 in the NIV11
Romans 6 in the NNT
Romans 6 in the NNT2
Romans 6 in the NNT3
Romans 6 in the PDDPT
Romans 6 in the PFNT
Romans 6 in the RMNT
Romans 6 in the SBIAS
Romans 6 in the SBIBS
Romans 6 in the SBIBS2
Romans 6 in the SBICS
Romans 6 in the SBIDS
Romans 6 in the SBIGS
Romans 6 in the SBIHS
Romans 6 in the SBIIS
Romans 6 in the SBIIS2
Romans 6 in the SBIIS3
Romans 6 in the SBIKS
Romans 6 in the SBIKS2
Romans 6 in the SBIMS
Romans 6 in the SBIOS
Romans 6 in the SBIPS
Romans 6 in the SBISS
Romans 6 in the SBITS
Romans 6 in the SBITS2
Romans 6 in the SBITS3
Romans 6 in the SBITS4
Romans 6 in the SBIUS
Romans 6 in the SBIVS
Romans 6 in the SBT
Romans 6 in the SBT1E
Romans 6 in the SCHL
Romans 6 in the SNT
Romans 6 in the SUSU
Romans 6 in the SUSU2
Romans 6 in the SYNO
Romans 6 in the TBIAOTANT
Romans 6 in the TBT1E
Romans 6 in the TBT1E2
Romans 6 in the TFTIP
Romans 6 in the TFTU
Romans 6 in the TGNTATF3T
Romans 6 in the THAI
Romans 6 in the TNFD
Romans 6 in the TNT
Romans 6 in the TNTIK
Romans 6 in the TNTIL
Romans 6 in the TNTIN
Romans 6 in the TNTIP
Romans 6 in the TNTIZ
Romans 6 in the TOMA
Romans 6 in the TTENT
Romans 6 in the UBG
Romans 6 in the UGV
Romans 6 in the UGV2
Romans 6 in the UGV3
Romans 6 in the VBL
Romans 6 in the VDCC
Romans 6 in the YALU
Romans 6 in the YAPE
Romans 6 in the YBVTP
Romans 6 in the ZBP