Luke 23 (BOLCB)

1 Awo Olukiiko lwonna ne lusituka, ne batwala Yesu ewa Piraato. 2 Ne batandika okumuwawaabira nti, “Omuntu ono ajagalaza eggwanga lyaffe, ng’atuziyiza okuwa Kayisaali omusolo, nga yeeyita Kristo, kabaka.” 3 Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe okyogedde.” 4 Awo Piraato n’akyukira bakabona abakulu n’ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Siraba musango muntu ono gw’azizza.” 5 Naye ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamazza abantu n’okuyigiriza kwe mu Buyudaaya mwonna. Yatandikira Ggaliraaya okutuukira ddala ne wano!” 6 Piraato bwe yawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Omuntu ono Mugaliraaya?” 7 Bwe yategeera nga Yesu Mugaliraaya, n’amuweereza eri Kerode, kubanga Ggaliraaya kyali kifugibwa Kerode, ate nga Kerode mu kiseera ekyo yali ali mu Yerusaalemi. 8 Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n’asanyuka nnyo, kubanga yali atutte ekiseera kiwanvu ng’ayagala okulaba Yesu. Era okuva ku ebyo bye yali amuwuliddeko yasuubira ng’ajja kumulaba ng’akolayo ekyamagero. 9 N’amubuuza ebibuuzo bingi, naye Yesu n’atamuddamu. 10 Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka baali awo mu busungu obungi ne baleekaanira waggulu nga bamulumiriza. 11 Kerode n’abaserikale be ne batandika okuduulira Yesu, n’okumuvuma. Ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka, ne bamuzzaayo ewa Piraato. 12 Ku lunaku olwo lwennyini, Kerode ne Piraato, abaali bakyawaganye, ne bafuuka ba mukwano. 13 Awo Piraato n’akuŋŋaanya bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abantu, 14 n’abagamba nti, “Mwandeetedde omuntu ono nga mumuwawaabira nti asasamaza abantu bajeeme. Mubuuzizza nnyo era ne neetegereza bulungi ensonga eyo nga nammwe we muli, naye ne nsanga nga talina musango ku ebyo bye mumuwawaabidde. 15 Ne Kerode naye tamulabyeko musango era kyavudde amukomyawo gye tuli. Omuntu ono talina ky’akoze kimusaanyiza kibonerezo kya kufa. 16 Noolwekyo ŋŋenda mukangavvulamu, ndyoke mmusumulule.” 17 Ku buli mbaga ya Kuyitako, Piraato ng’ateekwa okubateera omusibe omu. 18 Ekibiina kyonna ne kireekaana nnyo nti, “Oyo mutte! Otuteere Balaba.” 19 Balaba ono yali asibiddwa lwa kukulembera kasasamalo mu kibuga, era n’olw’obutemu. 20 Piraato olw’okwagala okusumulula Yesu, n’ayongera okwogera nabo. 21 Naye ne beeyongera okuleekaana nti, “Mukomerere ku musaalaba! Mukomerere ku musaalaba!” 22 Piraato n’ayogera nabo omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki? Azzizza musango ki? Sirabye nsonga yonna emusaanyiza kibonerezo kya kufa. Noolwekyo ka mmukangavvule, ndyoke mmusumulule.” 23 Naye ne beeyongera nnyo okuleekaana, n’okuwowoggana nga baagala Yesu akomererwe ku musaalaba. Era okuleekaana kwabwe ne kuwangula. 24 Awo Piraato n’akola nga bwe baayagala. 25 N’asumulula Balaba, gwe baasaba eyali asibiddwa olw’okusasamaza abantu n’olw’obutemu. Naye n’abakwasa Yesu bagende bamukole nga bwe baagala. 26 Awo ne bafulumya Yesu okumutwala okumukomerera. Bwe baali bamutwala ne basanga omusajja Omukuleene erinnya lye Simooni, yali ava mu kyalo nga yaakayingira mu kibuga, ne bamuwaliriza okusitula omusaalaba gwa Yesu ku kibegabega kye; n’agusitula n’agutwala ng’atambulira emabega wa Yesu. 27 Ekibiina kinene ne bagoberera Yesu nga mwe muli n’abakazi abaali bamukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe. 28 Naye Yesu n’abakyukira n’abagamba nti, “Abawala ba Yerusaalemi, temukaabira Nze, wabula mwekaabire era mukaabire n’abaana bammwe. 29 Kubanga ekiseera kijja abakazi abatalina baana lwe baliyitibwa ab’omukisa ddala. 30 “ ‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,” n’obusozi nti, “Mutuziike.” ’ 31 Kale, obanga bino babikola ku muti omubisi, naye ku mukalu kiriba kitya?” 32 Waaliwo n’abasajja abalala babiri, bombi nga bamenyi ba mateeka, abaatwalibwa ne Yesu okuttibwa. 33 Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono. 34 Yesu n’agamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu. 35 Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.” 36 N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu, 37 nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!” 38 Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti,Ono ye Kabaka w’Abayudaaya. 39 Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, “Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole.” 40 Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, “N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? 41 Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze.” 42 N’alyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo.” 43 Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.” 44 Awo obudde bwe bwatuuka essaawa omukaaga ez’omu ttuntu, enzikiza n’ekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa ey’omwenda, 45 kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri. 46 Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa. 47 Omuserikale Omuruumi omukulu w’ekitongole eyakulembera abaserikale abaakomerera Yesu, bwe yalaba ebibaddewo, n’atendereza Katonda ng’agamba nti, “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.” 48 Abantu bonna abaali bazze okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu kifuba nga bajjudde ennaku nnyingi. 49 Mikwano gya Yesu, awamu n’abakazi abajja naye nga bamugoberera okuviira ddala e Ggaliraaya, baali bayimiridde nga beesuddeko akabanga, nga batunuulira byonna ebibaddewo. 50 Laba waaliwo omusajja erinnya lye Yusufu, ng’atuula mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, yali musajja mulungi era nga mutuukirivu, 51 teyakkirizaganya na banne mu ebyo bye baasalawo ku Yesu ne bye baakola. Yali wa mu kibuga Alimasaya eky’omu Buyudaaya. Yali ng’alindirira n’essuubi ddene okulaba obwakabaka bwa Katonda. 52 Omusajja ono n’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. 53 Bwe yaguggya ku musaalaba, n’aguzinga mu lugoye lwa linena olweru ennyo, n’agugalamiza mu ntaana ey’empuku eyali etemeddwa mu lwazi, era nga teziikibwangamu muntu. 54 Bino byonna byaliwo ku Lwakutaano, olunaku olw’okweteekerateekerako ng’enkeera ye Ssabbiiti. 55 Omulambo gwa Yesu bwe gwali gutwalibwa mu ntaana, abakazi abaava e Ggaliraaya ne bagoberera nga bavaako emabega, ne balaba entaana n’omulambo gwe nga bwe gwagalamizibwamu. 56 Ne balyoka baddayo eka ne bategeka ebyakaloosa n’amafuta ag’okusiiga omulambo gwa Yesu. Naye ne bawummula ku Ssabbiiti ng’etteeka bwe liragira.

In Other Versions

Luke 23 in the ANGEFD

Luke 23 in the ANTPNG2D

Luke 23 in the AS21

Luke 23 in the BAGH

Luke 23 in the BBPNG

Luke 23 in the BBT1E

Luke 23 in the BDS

Luke 23 in the BEV

Luke 23 in the BHAD

Luke 23 in the BIB

Luke 23 in the BLPT

Luke 23 in the BNT

Luke 23 in the BNTABOOT

Luke 23 in the BNTLV

Luke 23 in the BOATCB

Luke 23 in the BOATCB2

Luke 23 in the BOBCV

Luke 23 in the BOCNT

Luke 23 in the BOECS

Luke 23 in the BOGWICC

Luke 23 in the BOHCB

Luke 23 in the BOHCV

Luke 23 in the BOHLNT

Luke 23 in the BOHNTLTAL

Luke 23 in the BOICB

Luke 23 in the BOILNTAP

Luke 23 in the BOITCV

Luke 23 in the BOKCV

Luke 23 in the BOKCV2

Luke 23 in the BOKHWOG

Luke 23 in the BOKSSV

Luke 23 in the BOLCB2

Luke 23 in the BOMCV

Luke 23 in the BONAV

Luke 23 in the BONCB

Luke 23 in the BONLT

Luke 23 in the BONUT2

Luke 23 in the BOPLNT

Luke 23 in the BOSCB

Luke 23 in the BOSNC

Luke 23 in the BOTLNT

Luke 23 in the BOVCB

Luke 23 in the BOYCB

Luke 23 in the BPBB

Luke 23 in the BPH

Luke 23 in the BSB

Luke 23 in the CCB

Luke 23 in the CUV

Luke 23 in the CUVS

Luke 23 in the DBT

Luke 23 in the DGDNT

Luke 23 in the DHNT

Luke 23 in the DNT

Luke 23 in the ELBE

Luke 23 in the EMTV

Luke 23 in the ESV

Luke 23 in the FBV

Luke 23 in the FEB

Luke 23 in the GGMNT

Luke 23 in the GNT

Luke 23 in the HARY

Luke 23 in the HNT

Luke 23 in the IRVA

Luke 23 in the IRVB

Luke 23 in the IRVG

Luke 23 in the IRVH

Luke 23 in the IRVK

Luke 23 in the IRVM

Luke 23 in the IRVM2

Luke 23 in the IRVO

Luke 23 in the IRVP

Luke 23 in the IRVT

Luke 23 in the IRVT2

Luke 23 in the IRVU

Luke 23 in the ISVN

Luke 23 in the JSNT

Luke 23 in the KAPI

Luke 23 in the KBT1ETNIK

Luke 23 in the KBV

Luke 23 in the KJV

Luke 23 in the KNFD

Luke 23 in the LBA

Luke 23 in the LBLA

Luke 23 in the LNT

Luke 23 in the LSV

Luke 23 in the MAAL

Luke 23 in the MBV

Luke 23 in the MBV2

Luke 23 in the MHNT

Luke 23 in the MKNFD

Luke 23 in the MNG

Luke 23 in the MNT

Luke 23 in the MNT2

Luke 23 in the MRS1T

Luke 23 in the NAA

Luke 23 in the NASB

Luke 23 in the NBLA

Luke 23 in the NBS

Luke 23 in the NBVTP

Luke 23 in the NET2

Luke 23 in the NIV11

Luke 23 in the NNT

Luke 23 in the NNT2

Luke 23 in the NNT3

Luke 23 in the PDDPT

Luke 23 in the PFNT

Luke 23 in the RMNT

Luke 23 in the SBIAS

Luke 23 in the SBIBS

Luke 23 in the SBIBS2

Luke 23 in the SBICS

Luke 23 in the SBIDS

Luke 23 in the SBIGS

Luke 23 in the SBIHS

Luke 23 in the SBIIS

Luke 23 in the SBIIS2

Luke 23 in the SBIIS3

Luke 23 in the SBIKS

Luke 23 in the SBIKS2

Luke 23 in the SBIMS

Luke 23 in the SBIOS

Luke 23 in the SBIPS

Luke 23 in the SBISS

Luke 23 in the SBITS

Luke 23 in the SBITS2

Luke 23 in the SBITS3

Luke 23 in the SBITS4

Luke 23 in the SBIUS

Luke 23 in the SBIVS

Luke 23 in the SBT

Luke 23 in the SBT1E

Luke 23 in the SCHL

Luke 23 in the SNT

Luke 23 in the SUSU

Luke 23 in the SUSU2

Luke 23 in the SYNO

Luke 23 in the TBIAOTANT

Luke 23 in the TBT1E

Luke 23 in the TBT1E2

Luke 23 in the TFTIP

Luke 23 in the TFTU

Luke 23 in the TGNTATF3T

Luke 23 in the THAI

Luke 23 in the TNFD

Luke 23 in the TNT

Luke 23 in the TNTIK

Luke 23 in the TNTIL

Luke 23 in the TNTIN

Luke 23 in the TNTIP

Luke 23 in the TNTIZ

Luke 23 in the TOMA

Luke 23 in the TTENT

Luke 23 in the UBG

Luke 23 in the UGV

Luke 23 in the UGV2

Luke 23 in the UGV3

Luke 23 in the VBL

Luke 23 in the VDCC

Luke 23 in the YALU

Luke 23 in the YAPE

Luke 23 in the YBVTP

Luke 23 in the ZBP