Mark 3 (BOLCB)
1 Awo Yesu n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze. 2 Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire. 3 Yesu n’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.” 4 N’abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu. 5 Yesu n’abatunuulira ng’akambuwadde era nga munakuwavu nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agolola omukono gwe, ne guwona. 6 Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n’Abakerodiyaani nga bwe banaamuzikiriza. 7 Awo Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera. 8 N’abalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, n’abalala mu Idumaya, n’abalala ne bava emitala w’omugga Yoludaani n’okwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina ky’abantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gy’ali. 9 Yesu n’agamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olw’ekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza. 10 Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olw’endwadde zaabwe. 11 Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” 12 Naye n’agikomako gireme okumwatuukiriza. 13 Awo Yesu n’alinnya ku lusozi, n’ayita abo be yayagala, ne bajja gy’ali. 14 N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira. 15 N’abawa n’obuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi n’ababiri be yalonda be bano: 16 Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano: Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne 17 Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.” 18 Andereya,ne Firipo,ne Battolomaayo,ne Matayo,ne Tomasi,ne Yakobo, omwana wa Alufaayone Saddayo,ne Simooni, Omukananaayo, 19 ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe. 20 Awo Yesu n’ayingira mu nnyumba ekibiina kinene ne bakuŋŋaanira nate w’ali, ye ne be yali nabo ne batasobola kulya. 21 Awo baganda be bwe baakiwulira ne bagenda bamuggyeyo, kubanga baalowooza nti alaluse. 22 Naye abannyonnyozi b’amateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bw’akozesa okugoba baddayimooni.” 23 Awo Yesu n’abayita n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani? 24 Obwakabaka bwe bwawukana tebuyinza kubaawo. 25 N’ennyumba eyawukanye, teyinza kubeerawo. 26 Ne Setaani bw’atyo bw’alwanagana yekka na yekka tayinza kubaawo. Wabula yeezikiriza yekka. 27 Naye tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu w’amaanyi, okunyaga ebintu bye nga tasoose kumusiba n’alyoka anyaga ebintu bye. 28 Ddala ddala mbagamba nti buli kintu kyonna omuntu ky’akola kirisonyiyibwa abaana b’abantu, ebibi n’okuvvoola kwonna kwe bavvoola. 29 Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe n’emirembe naye alisingibwa omusango olw’ekibi eky’emirembe n’emirembe.” 30 Yayogera atyo gye bali kubanga baagamba nti, “Aliko omwoyo omubi.” 31 Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy’ali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo. 32 Ekibiina ky’abantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya.” 33 Naye n’abaddamu nti, “Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?” 34 Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, n’abagamba nti, “Bano be mulaba be bammange era be baganda bange! 35 Kubanga buli muntu akola Katonda by’asiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”