Proverbs 14 (BOLCB)
1 Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye,naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye. 2 Omuntu atambulira mu bugolokofu atya MUKAMA,naye ow’amakubo amakyamu anyooma MUKAMA. 3 Ebigambo by’omusirusiru bye bimuviirako okukubwa,naye eby’abatuukirivu binaabakuumanga. 4 Awataba nte nnume ezirima ebyagi biba bikalu,naye emmere ennyingi eva mu maanyi gaazo. 5 Omujulizi ow’amazima talimba,naye ow’obulimba ayogera bya bulimba. 6 Omukudaazi anoonya amagezi n’atagalaba,naye okumanya kwanguyira omuntu ategeera. 7 Teweeretereza muntu musirusiru,kubanga tewali by’amagezi biva mu kamwa ke. 8 Omutegeevu mugezi kubanga afaayo okutegeera by’akola,naye atalina magezi musirusiru kubanga yeerimba nti amanyi. 9 Abasirusiru banyooma okugololwa nga bakoze ensobi,naye abalongoofu baagala emirembe. 10 Buli mutima gumanya okulumwa kwagwo,tewali ayinza kugusanyukirako. 11 Ennyumba y’abakozi b’ebibi erizikirizibwa,naye eweema y’abatuukirivu erikulaakulana. 12 Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu,naye ng’enkomerero yaalyo kufa. 13 Enseko zandibaawo naye ng’omutima gujjudde ennaku,era n’enkomerero y’essanyu eyinza okufuuka obuyinike. 14 Omuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olw’ebikolwa bye,n’omuntu omulungi naye alisasulwa eyiye. 15 Ow’amagezi amatono amala gakkiriza buli kigambo ky’awulira,naye omuntu omutegeevu yeegendereza amakubo ge. 16 Omuntu ow’amagezi atya MUKAMA n’aleka okukola ebibi,naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza. 17 Omuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru,n’omukalabakalaba akyayibwa. 18 Abatalina magezi basikira butaliimu,naye abategeevu batikkirwa engule ey’okumanya. 19 Abakozi b’ebibi balivuunamira abatuukirivu,n’aboonoonyi ne bavuunama mu miryango gy’abatuukirivu. 20 Omwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu,naye abagagga baba n’emikwano mingi. 21 Anyooma muliraanwa we akola kibi,naye alina omukisa oyo asaasira abaavu. 22 Abateekateeka okukola ebibi, tebawaba?Naye okwagala n’amazima binaabeeranga n’abo abateesa okukola obulungi. 23 Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba,naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka. 24 Abagezi bafuna engule ey’obugagga,naye obusirusiru bw’abatalina magezi buzaala busirusiru. 25 Omujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu,naye omujulizi ow’obulimba aba mulimba. 26 Atya MUKAMA alina ekiddukiro eky’amaanyi,era n’abaana be balibeera n’obuddukiro. 27 Okutya MUKAMA ye nsulo y’obulamu,kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa. 28 Ekitiibwa kya kabaka kiri mu kuba n’abantu bangi,naye omukulembeze ataba n’abantu abeera mu kabi. 29 Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi,naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru. 30 Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu,naye obuggya buvunza amagumba ge. 31 Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda,naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda. 32 Akacwano bwe kajja, omukozi w’ebibi agwa,naye omutuukirivu ne mu kufa aba n’obuddukiro. 33 Amagezi gabeera mu mutima gw’omuntu alina okutegeera,era yeeyoleka ne mu basirusiru. 34 Obutuukirivu buzimba eggwanga,naye ekibi kiswaza abantu ab’engeri zonna. 35 Kabaka asanyukira omuddu akola eby’amagezi,naye obusungu bwa kabaka bunaabuubuukiranga ku oyo akola ebiswaza.
In Other Versions
Proverbs 14 in the ANGEFD
Proverbs 14 in the ANTPNG2D
Proverbs 14 in the AS21
Proverbs 14 in the BAGH
Proverbs 14 in the BBPNG
Proverbs 14 in the BBT1E
Proverbs 14 in the BDS
Proverbs 14 in the BEV
Proverbs 14 in the BHAD
Proverbs 14 in the BIB
Proverbs 14 in the BLPT
Proverbs 14 in the BNT
Proverbs 14 in the BNTABOOT
Proverbs 14 in the BNTLV
Proverbs 14 in the BOATCB
Proverbs 14 in the BOATCB2
Proverbs 14 in the BOBCV
Proverbs 14 in the BOCNT
Proverbs 14 in the BOECS
Proverbs 14 in the BOGWICC
Proverbs 14 in the BOHCB
Proverbs 14 in the BOHCV
Proverbs 14 in the BOHLNT
Proverbs 14 in the BOHNTLTAL
Proverbs 14 in the BOICB
Proverbs 14 in the BOILNTAP
Proverbs 14 in the BOITCV
Proverbs 14 in the BOKCV
Proverbs 14 in the BOKCV2
Proverbs 14 in the BOKHWOG
Proverbs 14 in the BOKSSV
Proverbs 14 in the BOLCB2
Proverbs 14 in the BOMCV
Proverbs 14 in the BONAV
Proverbs 14 in the BONCB
Proverbs 14 in the BONLT
Proverbs 14 in the BONUT2
Proverbs 14 in the BOPLNT
Proverbs 14 in the BOSCB
Proverbs 14 in the BOSNC
Proverbs 14 in the BOTLNT
Proverbs 14 in the BOVCB
Proverbs 14 in the BOYCB
Proverbs 14 in the BPBB
Proverbs 14 in the BPH
Proverbs 14 in the BSB
Proverbs 14 in the CCB
Proverbs 14 in the CUV
Proverbs 14 in the CUVS
Proverbs 14 in the DBT
Proverbs 14 in the DGDNT
Proverbs 14 in the DHNT
Proverbs 14 in the DNT
Proverbs 14 in the ELBE
Proverbs 14 in the EMTV
Proverbs 14 in the ESV
Proverbs 14 in the FBV
Proverbs 14 in the FEB
Proverbs 14 in the GGMNT
Proverbs 14 in the GNT
Proverbs 14 in the HARY
Proverbs 14 in the HNT
Proverbs 14 in the IRVA
Proverbs 14 in the IRVB
Proverbs 14 in the IRVG
Proverbs 14 in the IRVH
Proverbs 14 in the IRVK
Proverbs 14 in the IRVM
Proverbs 14 in the IRVM2
Proverbs 14 in the IRVO
Proverbs 14 in the IRVP
Proverbs 14 in the IRVT
Proverbs 14 in the IRVT2
Proverbs 14 in the IRVU
Proverbs 14 in the ISVN
Proverbs 14 in the JSNT
Proverbs 14 in the KAPI
Proverbs 14 in the KBT1ETNIK
Proverbs 14 in the KBV
Proverbs 14 in the KJV
Proverbs 14 in the KNFD
Proverbs 14 in the LBA
Proverbs 14 in the LBLA
Proverbs 14 in the LNT
Proverbs 14 in the LSV
Proverbs 14 in the MAAL
Proverbs 14 in the MBV
Proverbs 14 in the MBV2
Proverbs 14 in the MHNT
Proverbs 14 in the MKNFD
Proverbs 14 in the MNG
Proverbs 14 in the MNT
Proverbs 14 in the MNT2
Proverbs 14 in the MRS1T
Proverbs 14 in the NAA
Proverbs 14 in the NASB
Proverbs 14 in the NBLA
Proverbs 14 in the NBS
Proverbs 14 in the NBVTP
Proverbs 14 in the NET2
Proverbs 14 in the NIV11
Proverbs 14 in the NNT
Proverbs 14 in the NNT2
Proverbs 14 in the NNT3
Proverbs 14 in the PDDPT
Proverbs 14 in the PFNT
Proverbs 14 in the RMNT
Proverbs 14 in the SBIAS
Proverbs 14 in the SBIBS
Proverbs 14 in the SBIBS2
Proverbs 14 in the SBICS
Proverbs 14 in the SBIDS
Proverbs 14 in the SBIGS
Proverbs 14 in the SBIHS
Proverbs 14 in the SBIIS
Proverbs 14 in the SBIIS2
Proverbs 14 in the SBIIS3
Proverbs 14 in the SBIKS
Proverbs 14 in the SBIKS2
Proverbs 14 in the SBIMS
Proverbs 14 in the SBIOS
Proverbs 14 in the SBIPS
Proverbs 14 in the SBISS
Proverbs 14 in the SBITS
Proverbs 14 in the SBITS2
Proverbs 14 in the SBITS3
Proverbs 14 in the SBITS4
Proverbs 14 in the SBIUS
Proverbs 14 in the SBIVS
Proverbs 14 in the SBT
Proverbs 14 in the SBT1E
Proverbs 14 in the SCHL
Proverbs 14 in the SNT
Proverbs 14 in the SUSU
Proverbs 14 in the SUSU2
Proverbs 14 in the SYNO
Proverbs 14 in the TBIAOTANT
Proverbs 14 in the TBT1E
Proverbs 14 in the TBT1E2
Proverbs 14 in the TFTIP
Proverbs 14 in the TFTU
Proverbs 14 in the TGNTATF3T
Proverbs 14 in the THAI
Proverbs 14 in the TNFD
Proverbs 14 in the TNT
Proverbs 14 in the TNTIK
Proverbs 14 in the TNTIL
Proverbs 14 in the TNTIN
Proverbs 14 in the TNTIP
Proverbs 14 in the TNTIZ
Proverbs 14 in the TOMA
Proverbs 14 in the TTENT
Proverbs 14 in the UBG
Proverbs 14 in the UGV
Proverbs 14 in the UGV2
Proverbs 14 in the UGV3
Proverbs 14 in the VBL
Proverbs 14 in the VDCC
Proverbs 14 in the YALU
Proverbs 14 in the YAPE
Proverbs 14 in the YBVTP
Proverbs 14 in the ZBP