1 Peter 1 (BOLCB)
1 Nze Peetero omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira abalonde ba Katonda, abaasaasaanira mu Ponto, ne mu Ggalatiya ne mu Kapadokiya, ne mu Asiya ne mu Bisuniya, 2 Katonda Kitaffe be yasooka okumanya ne batukuzibwa Omwoyo olw’okugondere Yesu Kristo, era ne balongoosebwa n’omusaayi ggwe, ogwabamansirwako.Ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe. 3 Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo atenderezebwe. Olw’okusaasira kwe okungi twazaalibwa mu bulamu obulina essuubi omulundi ogwokubiri, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu. 4 Bw’atyo n’atusuubiza omugabo mu busika, ogw’olubeerera ogutakyusa langi era ogutafuma, gw’atuterekedde mu ggulu. 5 Era Katonda, mu buyinza bwe, alibakuuma olw’okukkiriza kwammwe, n’abatuusa mu bulokozi obwateekebwateekebwa okubikkulirwa mu biro eby’enkomerero. 6 Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera. 7 Kubanga okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro n’ekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lw’alirabikirako. 8 Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza, 9 era ekiva mu kukkiriza kwammwe kwe kulokolebwa kw’emyoyo gyammwe. 10 Bannabbi baafuba nga bwe baasobola okuvumbula era n’okutegeera okulokolebwa kuno, ne bategeeza eby’omu maaso ku kisa kya Katonda ky’agenda okubawa. 11 Omwoyo wa Kristo ng’ali mu bo, yategeeza eby’omu maaso ku kubonaabona kwa Kristo era n’ekitiibwa ekiriddirira, ne bafuba okuvumbula omuntu gwe kirituukako n’ekiseera we kirituukira. 12 Bannabbi bano Katonda yabalaga nti ebyo tebabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. Era kaakano Enjiri ebuuliddwa gye tuli ffenna. Yatubuulirwa mu maanyi ga Mwoyo Mutukuvu eyava mu ggulu. Bino by’ebintu ne bamalayika bye bayaayaanira okutegeera. 13 Noolwekyo mwetegeke nga muli bateefu, nga mutadde emitima gyammwe ku kisa kya Katonda ekiribaweebwa, Yesu Kristo bw’alirabika. 14 Mugonderenga Katonda, kubanga muli baana be, muleme kufugibwa okwegomba kwammwe okubi okw’edda, kwe mwatambulirangamu mu butamanya. 15 Kale, nga Katonda eyabayita bw’ali omutukuvu, nammwe mubeerenga batukuvu mu byonna bye mukola. 16 Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.” 17 Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno. 18 Kubanga mumanyi nti mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu. 19 Wabula mwanunulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo omungi ennyo, ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo oba ebbala. 20 Kristo yategekebwa dda nga n’ensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita n’alabisibwa ku lwammwe. 21 Mu ye, mwe mwayita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza mu bafu, n’amuwa ekitiibwa, era okukkiriza kwammwe n’okusuubira kwammwe kyebivudde binywerera ku Katonda. 22 Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olw’okukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana n’omutima ogutaliimu bukuusa. 23 Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era eky’olubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. 24 Kubanga,“Abantu bonna bali ng’omuddo,n’ekitiibwa kyabwe kiri ng’ekimuli ky’omuddo.Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa. 25 Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.”Era ekigambo ekyo y’Enjiri eyababuulirwa.
In Other Versions
1 Peter 1 in the ANGEFD
1 Peter 1 in the ANTPNG2D
1 Peter 1 in the AS21
1 Peter 1 in the BAGH
1 Peter 1 in the BBPNG
1 Peter 1 in the BBT1E
1 Peter 1 in the BDS
1 Peter 1 in the BEV
1 Peter 1 in the BHAD
1 Peter 1 in the BIB
1 Peter 1 in the BLPT
1 Peter 1 in the BNT
1 Peter 1 in the BNTABOOT
1 Peter 1 in the BNTLV
1 Peter 1 in the BOATCB
1 Peter 1 in the BOATCB2
1 Peter 1 in the BOBCV
1 Peter 1 in the BOCNT
1 Peter 1 in the BOECS
1 Peter 1 in the BOGWICC
1 Peter 1 in the BOHCB
1 Peter 1 in the BOHCV
1 Peter 1 in the BOHLNT
1 Peter 1 in the BOHNTLTAL
1 Peter 1 in the BOICB
1 Peter 1 in the BOILNTAP
1 Peter 1 in the BOITCV
1 Peter 1 in the BOKCV
1 Peter 1 in the BOKCV2
1 Peter 1 in the BOKHWOG
1 Peter 1 in the BOKSSV
1 Peter 1 in the BOLCB2
1 Peter 1 in the BOMCV
1 Peter 1 in the BONAV
1 Peter 1 in the BONCB
1 Peter 1 in the BONLT
1 Peter 1 in the BONUT2
1 Peter 1 in the BOPLNT
1 Peter 1 in the BOSCB
1 Peter 1 in the BOSNC
1 Peter 1 in the BOTLNT
1 Peter 1 in the BOVCB
1 Peter 1 in the BOYCB
1 Peter 1 in the BPBB
1 Peter 1 in the BPH
1 Peter 1 in the BSB
1 Peter 1 in the CCB
1 Peter 1 in the CUV
1 Peter 1 in the CUVS
1 Peter 1 in the DBT
1 Peter 1 in the DGDNT
1 Peter 1 in the DHNT
1 Peter 1 in the DNT
1 Peter 1 in the ELBE
1 Peter 1 in the EMTV
1 Peter 1 in the ESV
1 Peter 1 in the FBV
1 Peter 1 in the FEB
1 Peter 1 in the GGMNT
1 Peter 1 in the GNT
1 Peter 1 in the HARY
1 Peter 1 in the HNT
1 Peter 1 in the IRVA
1 Peter 1 in the IRVB
1 Peter 1 in the IRVG
1 Peter 1 in the IRVH
1 Peter 1 in the IRVK
1 Peter 1 in the IRVM
1 Peter 1 in the IRVM2
1 Peter 1 in the IRVO
1 Peter 1 in the IRVP
1 Peter 1 in the IRVT
1 Peter 1 in the IRVT2
1 Peter 1 in the IRVU
1 Peter 1 in the ISVN
1 Peter 1 in the JSNT
1 Peter 1 in the KAPI
1 Peter 1 in the KBT1ETNIK
1 Peter 1 in the KBV
1 Peter 1 in the KJV
1 Peter 1 in the KNFD
1 Peter 1 in the LBA
1 Peter 1 in the LBLA
1 Peter 1 in the LNT
1 Peter 1 in the LSV
1 Peter 1 in the MAAL
1 Peter 1 in the MBV
1 Peter 1 in the MBV2
1 Peter 1 in the MHNT
1 Peter 1 in the MKNFD
1 Peter 1 in the MNG
1 Peter 1 in the MNT
1 Peter 1 in the MNT2
1 Peter 1 in the MRS1T
1 Peter 1 in the NAA
1 Peter 1 in the NASB
1 Peter 1 in the NBLA
1 Peter 1 in the NBS
1 Peter 1 in the NBVTP
1 Peter 1 in the NET2
1 Peter 1 in the NIV11
1 Peter 1 in the NNT
1 Peter 1 in the NNT2
1 Peter 1 in the NNT3
1 Peter 1 in the PDDPT
1 Peter 1 in the PFNT
1 Peter 1 in the RMNT
1 Peter 1 in the SBIAS
1 Peter 1 in the SBIBS
1 Peter 1 in the SBIBS2
1 Peter 1 in the SBICS
1 Peter 1 in the SBIDS
1 Peter 1 in the SBIGS
1 Peter 1 in the SBIHS
1 Peter 1 in the SBIIS
1 Peter 1 in the SBIIS2
1 Peter 1 in the SBIIS3
1 Peter 1 in the SBIKS
1 Peter 1 in the SBIKS2
1 Peter 1 in the SBIMS
1 Peter 1 in the SBIOS
1 Peter 1 in the SBIPS
1 Peter 1 in the SBISS
1 Peter 1 in the SBITS
1 Peter 1 in the SBITS2
1 Peter 1 in the SBITS3
1 Peter 1 in the SBITS4
1 Peter 1 in the SBIUS
1 Peter 1 in the SBIVS
1 Peter 1 in the SBT
1 Peter 1 in the SBT1E
1 Peter 1 in the SCHL
1 Peter 1 in the SNT
1 Peter 1 in the SUSU
1 Peter 1 in the SUSU2
1 Peter 1 in the SYNO
1 Peter 1 in the TBIAOTANT
1 Peter 1 in the TBT1E
1 Peter 1 in the TBT1E2
1 Peter 1 in the TFTIP
1 Peter 1 in the TFTU
1 Peter 1 in the TGNTATF3T
1 Peter 1 in the THAI
1 Peter 1 in the TNFD
1 Peter 1 in the TNT
1 Peter 1 in the TNTIK
1 Peter 1 in the TNTIL
1 Peter 1 in the TNTIN
1 Peter 1 in the TNTIP
1 Peter 1 in the TNTIZ
1 Peter 1 in the TOMA
1 Peter 1 in the TTENT
1 Peter 1 in the UBG
1 Peter 1 in the UGV
1 Peter 1 in the UGV2
1 Peter 1 in the UGV3
1 Peter 1 in the VBL
1 Peter 1 in the VDCC
1 Peter 1 in the YALU
1 Peter 1 in the YAPE
1 Peter 1 in the YBVTP
1 Peter 1 in the ZBP