Acts 1 (BOLCB)

1 Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, nakutegeeza ebintu byonna okuva Yesu lwe yatandika okukola emirimu gye n’okuyigiriza, 2 okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu ng’amaze okuwa abatume be, be yalonda, ebiragiro ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 3 Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda. 4 Awo bwe yali ng’alya nabo ekijjulo n’abalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti, “Ekyo kye mwawulira nga mbagamba nti, 5 ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa na Mwoyo Mutukuvu mu nnaku si nnyingi.’ ” 6 Awo bwe baali bakuŋŋaanye ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, mu kiseera kino mw’onooddizaawo obwakabaka bwa Isirayiri?” 7 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Okumanya entuuko oba ebiro si kyammwe, kitange kye yateekateeka mu buyinza bwe. 8 Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi.” 9 Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ekire ne kimutwala waggulu nga balaba. 10 Awo bwe baali nga batunula enkaliriza mu ggulu ng’agenda, amangwago abasajja babiri nga bambadde engoye enjeru ne balabika, 11 ne boogera nti, “Abasajja Abagaliraaya, lwaki muyimiridde wano nga mutunula waggulu mu ggulu? Yesu oyo abaggiddwako n’atwalibwa mu ggulu, agenda kukomawo mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.” 12 Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi, ng’olugendo olutambulwa ku Ssabbiiti. 13 Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano: Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya,ne Firipo ne Tomasi,ne Battolomaayo, ne Matayo,ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote”, ne Yuda, omwana wa Yakobo. 14 Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu. 15 Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti, 16 “Abasajja abooluganda, ebyawandiikibwa ku Yuda eyakulembera ekibiina ekyakwata Yesu byali biteekwa okutuukirira; kubanga ekyo Mwoyo Mutukuvu yali yakitegeeza dda bwe yayogerera mu Dawudi. 17 Yuda yali omu ku ffe, era n’aweebwa omugabo gw’obuweereza buno.” 18 Empeera gye yafuna mu butali butuukirivu bwe, yagigulamu ennimiro, era omwo mwe yagwa n’ayabika n’ebyenda bye ne biyiika. 19 Amawulire ago ne gatuuka ku bantu ab’omu Yerusaalemi, era ennimiro eyo ne bagituuma Akerudama mu lulimi lwabwe, amakulu nti, Ennimiro y’Omusaayi! 20 “Kubanga kyawandiikibwa mu Zabbuli nti,“ ‘Ekibanja kye kizike,so kireme okubeerangamu omuntu.’‘N’obuvunaanyizibwa bwe buweebwe omulala.’ 21 Noolwekyo kigwanye okulonda omuntu mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna, eyayingiranga n’afuluma wamu naffe nga tuli ne Mukama waffe Yesu, 22 okuviira ddala ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa lwe yatwalibwa mu ggulu, alyoke abeere omujulirwa ow’okuzuukira kwe awamu naffe.” 23 Awo ne balonda abasajja babiri, omu nga ye Yusufu (eyayitibwanga Balusaba ate era nga ye Yusito), n’owokubiri nga ye Matiya. 24 Ne balyoka basaba ne bagamba nti, “Ayi Mukama, gw’omanyi emitima gy’abantu bonna, tulage gw’olonze ku bantu bano ababiri, 25 okubeera mu baweereza buno n’okubeera omutume mu kifo kya Yuda eyatwawukanako n’alaga mu kifo kye ekimusaanira.” 26 Oluvannyuma ne bakuba akalulu, ne kagwa ku Matiya, n’agattibwa ku batume ekkumi n’omu.

In Other Versions

Acts 1 in the ANGEFD

Acts 1 in the ANTPNG2D

Acts 1 in the AS21

Acts 1 in the BAGH

Acts 1 in the BBPNG

Acts 1 in the BBT1E

Acts 1 in the BDS

Acts 1 in the BEV

Acts 1 in the BHAD

Acts 1 in the BIB

Acts 1 in the BLPT

Acts 1 in the BNT

Acts 1 in the BNTABOOT

Acts 1 in the BNTLV

Acts 1 in the BOATCB

Acts 1 in the BOATCB2

Acts 1 in the BOBCV

Acts 1 in the BOCNT

Acts 1 in the BOECS

Acts 1 in the BOGWICC

Acts 1 in the BOHCB

Acts 1 in the BOHCV

Acts 1 in the BOHLNT

Acts 1 in the BOHNTLTAL

Acts 1 in the BOICB

Acts 1 in the BOILNTAP

Acts 1 in the BOITCV

Acts 1 in the BOKCV

Acts 1 in the BOKCV2

Acts 1 in the BOKHWOG

Acts 1 in the BOKSSV

Acts 1 in the BOLCB2

Acts 1 in the BOMCV

Acts 1 in the BONAV

Acts 1 in the BONCB

Acts 1 in the BONLT

Acts 1 in the BONUT2

Acts 1 in the BOPLNT

Acts 1 in the BOSCB

Acts 1 in the BOSNC

Acts 1 in the BOTLNT

Acts 1 in the BOVCB

Acts 1 in the BOYCB

Acts 1 in the BPBB

Acts 1 in the BPH

Acts 1 in the BSB

Acts 1 in the CCB

Acts 1 in the CUV

Acts 1 in the CUVS

Acts 1 in the DBT

Acts 1 in the DGDNT

Acts 1 in the DHNT

Acts 1 in the DNT

Acts 1 in the ELBE

Acts 1 in the EMTV

Acts 1 in the ESV

Acts 1 in the FBV

Acts 1 in the FEB

Acts 1 in the GGMNT

Acts 1 in the GNT

Acts 1 in the HARY

Acts 1 in the HNT

Acts 1 in the IRVA

Acts 1 in the IRVB

Acts 1 in the IRVG

Acts 1 in the IRVH

Acts 1 in the IRVK

Acts 1 in the IRVM

Acts 1 in the IRVM2

Acts 1 in the IRVO

Acts 1 in the IRVP

Acts 1 in the IRVT

Acts 1 in the IRVT2

Acts 1 in the IRVU

Acts 1 in the ISVN

Acts 1 in the JSNT

Acts 1 in the KAPI

Acts 1 in the KBT1ETNIK

Acts 1 in the KBV

Acts 1 in the KJV

Acts 1 in the KNFD

Acts 1 in the LBA

Acts 1 in the LBLA

Acts 1 in the LNT

Acts 1 in the LSV

Acts 1 in the MAAL

Acts 1 in the MBV

Acts 1 in the MBV2

Acts 1 in the MHNT

Acts 1 in the MKNFD

Acts 1 in the MNG

Acts 1 in the MNT

Acts 1 in the MNT2

Acts 1 in the MRS1T

Acts 1 in the NAA

Acts 1 in the NASB

Acts 1 in the NBLA

Acts 1 in the NBS

Acts 1 in the NBVTP

Acts 1 in the NET2

Acts 1 in the NIV11

Acts 1 in the NNT

Acts 1 in the NNT2

Acts 1 in the NNT3

Acts 1 in the PDDPT

Acts 1 in the PFNT

Acts 1 in the RMNT

Acts 1 in the SBIAS

Acts 1 in the SBIBS

Acts 1 in the SBIBS2

Acts 1 in the SBICS

Acts 1 in the SBIDS

Acts 1 in the SBIGS

Acts 1 in the SBIHS

Acts 1 in the SBIIS

Acts 1 in the SBIIS2

Acts 1 in the SBIIS3

Acts 1 in the SBIKS

Acts 1 in the SBIKS2

Acts 1 in the SBIMS

Acts 1 in the SBIOS

Acts 1 in the SBIPS

Acts 1 in the SBISS

Acts 1 in the SBITS

Acts 1 in the SBITS2

Acts 1 in the SBITS3

Acts 1 in the SBITS4

Acts 1 in the SBIUS

Acts 1 in the SBIVS

Acts 1 in the SBT

Acts 1 in the SBT1E

Acts 1 in the SCHL

Acts 1 in the SNT

Acts 1 in the SUSU

Acts 1 in the SUSU2

Acts 1 in the SYNO

Acts 1 in the TBIAOTANT

Acts 1 in the TBT1E

Acts 1 in the TBT1E2

Acts 1 in the TFTIP

Acts 1 in the TFTU

Acts 1 in the TGNTATF3T

Acts 1 in the THAI

Acts 1 in the TNFD

Acts 1 in the TNT

Acts 1 in the TNTIK

Acts 1 in the TNTIL

Acts 1 in the TNTIN

Acts 1 in the TNTIP

Acts 1 in the TNTIZ

Acts 1 in the TOMA

Acts 1 in the TTENT

Acts 1 in the UBG

Acts 1 in the UGV

Acts 1 in the UGV2

Acts 1 in the UGV3

Acts 1 in the VBL

Acts 1 in the VDCC

Acts 1 in the YALU

Acts 1 in the YAPE

Acts 1 in the YBVTP

Acts 1 in the ZBP