Isaiah 65 (BOLCB)
1 MUKAMA n’alyoka agamba nti,“Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya.Neeraga abo abaali tebannoonya.Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’ 2 Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuzibaeri abantu abeewagguzze,abatambulira mu makubo amabiabagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe; 3 abantu bulijjoabansomooza mu maaso gange gennyininga bawaayo ebiweebwayo mu nnimirone bookera n’ebiweebwayo ku byoto eby’amatoffaali; 4 abatuula mu malaalone bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu,abalya ennyama y’embizzi,era n’amaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu. 5 Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange,kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange,omuliro ogwaka olunaku lwonna. 6 “Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange.Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu,nzija kubasasula bibatuukireko ddala; 7 olw’ebibi byammwe byonna era n’olw’ebibi bya bakitammwe,”bw’ayogera MUKAMA Katonda.“Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusoziera ne bannyoomera ku busozi,ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvuey’ebikolwa byabwe eby’edda.” 8 Bw’atyo bw’ayogera MUKAMA:“Ng’omubisi bwe gusangibwa mu kirimba ky’emizabbibuabantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona,gukyalimu akalungi,’bwe ntyo bwe ndikibakolera olw’obulungi bw’abaweereza bange.Sijja kubasaanyaawo bonna. 9 Ndiggya ezzadde okuva mu Yakoboera ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange;abantu bange abalonde balizigabana,era eyo abaweereza bange gye balibeera. 10 Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo,era n’ekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamiraolw’abantu bange abannoonya. 11 “Naye mmwe abava ku MUKAMAne mwerabira olusozi lwange olutukuvune muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa,ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo eby’envinnyo, 12 ndibawaayo eri ekitalaera mwenna mukutaamirire musalibwe,kubanga nabayita naye temwayitaba,nayogera naye temwampuliriza.Mwakola ebitasaanaera ne musalawo okukola ebitansanyusa.” 13 Noolwekyo kino MUKAMA Ayinzabyonna ky’agamba:“Abaweereza bange bajja kulya,naye mmwe mujja kulumwa enjala,abaweereza bange bajja kunywa,naye mmwe mulumwe ennyonta;abaweereza bange bajja kujaguza,naye mmwe mukwatibwe ensonyi. 14 Abaweereza bange bajja kuyimbaolw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe,naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammweera mukaabe olw’okulumwa emyoyo. 15 Ekikolimo kiryoke kibagwire,Nze MUKAMA Katonda ow’Eggye mbatteamannya gammwe geerabirwe,naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera. 16 Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisaanaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazimabuli anaalayiranga mu ggwangaanaalayiranga Katonda ow’amazima.Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwagikwekebwe okuva mu maaso gange. 17 “Laba nditonda eggulu eriggyan’ensi empya.Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwawadde okulowoozebwako mu mutima. 18 Naye musanyukire ekyo kye ntondamujaguze emirembe n’emirembe,kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyun’abantu baamu okuba okujaguza. 19 Ndijaguza olwa Yerusaalemiera nsanyukire abantu bange;amaloboozi ag’okukaabategaliddayo kuwulirwamu. 20 “Teriddayo kuba mu kyo mwana muwereanaaberawo ennaku obunaku,oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye;oyo alifiira ku myaka ekikumialitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka.Oyo atalituusa kikumiabalibwe ng’eyakolimirwa. 21 Balizimba ennyumba bazisulemu,balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo. 22 Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu,tebalisimba ate omulala abirye.Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe gibabwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange.Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwaemirimu gy’emikono gyabwe. 23 Tebalikolera bwereereoba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga,kubanga balibeera abantu abaweebwa MUKAMA Katonda omukisa,bo awamu n’ab’enda yaabwe. 24 Nga tebanakoowoola ndibaddamu,nga bakyayogera bati mbaddemu. 25 Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu,era empologoma erye omuddo ng’ennume,era ettaka libeere emmere y’omusota.Tewaliba kulumyawadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,”bw’ayogera MUKAMA Katonda.