Jeremiah 30 (BOLCB)
1 Kino kye kigambo kya MUKAMA ekyajjira Yeremiya nti, 2 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe. 3 Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera MUKAMA.” 4 Bino bye bigambo MUKAMA bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti, 5 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti,“ ‘Emiranga egy’okutya giwulirwa,bulabe teri mirembe. 6 Mubuuze mulabe.Omusajja alumwa okuzaala?Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanying’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala,buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa? 7 Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!Tewali lulirufaanana.Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,naye aliwona n’akiyitamu. 8 “ ‘Olulituuka ku lunaku olwo,ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabweera ne mbasaleko amasamba,ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 9 Wabula, bajja kuweerezanga MUKAMA Katonda waabwene Dawudi kabaka waabwegwe ndibayimusiza. 10 “ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange,toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’bw’ayogera MUKAMA.‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala,nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse.Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu,era tewali n’omu alimutiisatiisa. 11 Ndi wamu nammweera ndibalokola,wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde,siribazikiririza ddala mmwe,’bw’ayogera MUKAMA.Ndibakangavvula n’obwenkanya,siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono. 12 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti,“ ‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka,Ebisago byo si byakuwona. 13 Tewali n’omu wa kukuwolereza,tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe. 14 Abakuyamba bonna bakwerabiddetebakufaako.Nkukubye ng’omulabe bwe yandikozene nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze,kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyon’ebibi byo bingi ddala. 15 Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,obulumi bwo obutaliiko ddagala?Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyonkuleeseeko ebintu bino. 16 “ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse.Abo abaakunyaga balinyagibwa,abo abaakwelula balyelulwa. 17 Naye ndikuzzaawo owone,ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera MUKAMA,‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa,Sayuuni atalina n’omu amufaako.’ 18 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti,“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakoboera mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu. 19 Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebazaera n’eddoboozi ery’okujaguza,ndibaaza, era tebaliba batono,ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa. 20 Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda,era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba.Ndibonereza bonna ababanyigiriza. 21 Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo;omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo.Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange,kubanga ani oyo alyewaayookunyiikira okubeera okumpi nange?’bw’ayogera MUKAMA. 22 ‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ” 23 Laba, omuyaga gwa MUKAMAgulikuntira mu kiruyi,empewo ey’amaanyieyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi. 24 Obusungu bwa MUKAMA obubuubuukatebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizzaekigendererwa ky’omutima gwe.Mu nnaku ezirijja,kino mulikitegeera.
In Other Versions
Jeremiah 30 in the ANGEFD
Jeremiah 30 in the ANTPNG2D
Jeremiah 30 in the AS21
Jeremiah 30 in the BAGH
Jeremiah 30 in the BBPNG
Jeremiah 30 in the BBT1E
Jeremiah 30 in the BDS
Jeremiah 30 in the BEV
Jeremiah 30 in the BHAD
Jeremiah 30 in the BIB
Jeremiah 30 in the BLPT
Jeremiah 30 in the BNT
Jeremiah 30 in the BNTABOOT
Jeremiah 30 in the BNTLV
Jeremiah 30 in the BOATCB
Jeremiah 30 in the BOATCB2
Jeremiah 30 in the BOBCV
Jeremiah 30 in the BOCNT
Jeremiah 30 in the BOECS
Jeremiah 30 in the BOGWICC
Jeremiah 30 in the BOHCB
Jeremiah 30 in the BOHCV
Jeremiah 30 in the BOHLNT
Jeremiah 30 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 30 in the BOICB
Jeremiah 30 in the BOILNTAP
Jeremiah 30 in the BOITCV
Jeremiah 30 in the BOKCV
Jeremiah 30 in the BOKCV2
Jeremiah 30 in the BOKHWOG
Jeremiah 30 in the BOKSSV
Jeremiah 30 in the BOLCB2
Jeremiah 30 in the BOMCV
Jeremiah 30 in the BONAV
Jeremiah 30 in the BONCB
Jeremiah 30 in the BONLT
Jeremiah 30 in the BONUT2
Jeremiah 30 in the BOPLNT
Jeremiah 30 in the BOSCB
Jeremiah 30 in the BOSNC
Jeremiah 30 in the BOTLNT
Jeremiah 30 in the BOVCB
Jeremiah 30 in the BOYCB
Jeremiah 30 in the BPBB
Jeremiah 30 in the BPH
Jeremiah 30 in the BSB
Jeremiah 30 in the CCB
Jeremiah 30 in the CUV
Jeremiah 30 in the CUVS
Jeremiah 30 in the DBT
Jeremiah 30 in the DGDNT
Jeremiah 30 in the DHNT
Jeremiah 30 in the DNT
Jeremiah 30 in the ELBE
Jeremiah 30 in the EMTV
Jeremiah 30 in the ESV
Jeremiah 30 in the FBV
Jeremiah 30 in the FEB
Jeremiah 30 in the GGMNT
Jeremiah 30 in the GNT
Jeremiah 30 in the HARY
Jeremiah 30 in the HNT
Jeremiah 30 in the IRVA
Jeremiah 30 in the IRVB
Jeremiah 30 in the IRVG
Jeremiah 30 in the IRVH
Jeremiah 30 in the IRVK
Jeremiah 30 in the IRVM
Jeremiah 30 in the IRVM2
Jeremiah 30 in the IRVO
Jeremiah 30 in the IRVP
Jeremiah 30 in the IRVT
Jeremiah 30 in the IRVT2
Jeremiah 30 in the IRVU
Jeremiah 30 in the ISVN
Jeremiah 30 in the JSNT
Jeremiah 30 in the KAPI
Jeremiah 30 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 30 in the KBV
Jeremiah 30 in the KJV
Jeremiah 30 in the KNFD
Jeremiah 30 in the LBA
Jeremiah 30 in the LBLA
Jeremiah 30 in the LNT
Jeremiah 30 in the LSV
Jeremiah 30 in the MAAL
Jeremiah 30 in the MBV
Jeremiah 30 in the MBV2
Jeremiah 30 in the MHNT
Jeremiah 30 in the MKNFD
Jeremiah 30 in the MNG
Jeremiah 30 in the MNT
Jeremiah 30 in the MNT2
Jeremiah 30 in the MRS1T
Jeremiah 30 in the NAA
Jeremiah 30 in the NASB
Jeremiah 30 in the NBLA
Jeremiah 30 in the NBS
Jeremiah 30 in the NBVTP
Jeremiah 30 in the NET2
Jeremiah 30 in the NIV11
Jeremiah 30 in the NNT
Jeremiah 30 in the NNT2
Jeremiah 30 in the NNT3
Jeremiah 30 in the PDDPT
Jeremiah 30 in the PFNT
Jeremiah 30 in the RMNT
Jeremiah 30 in the SBIAS
Jeremiah 30 in the SBIBS
Jeremiah 30 in the SBIBS2
Jeremiah 30 in the SBICS
Jeremiah 30 in the SBIDS
Jeremiah 30 in the SBIGS
Jeremiah 30 in the SBIHS
Jeremiah 30 in the SBIIS
Jeremiah 30 in the SBIIS2
Jeremiah 30 in the SBIIS3
Jeremiah 30 in the SBIKS
Jeremiah 30 in the SBIKS2
Jeremiah 30 in the SBIMS
Jeremiah 30 in the SBIOS
Jeremiah 30 in the SBIPS
Jeremiah 30 in the SBISS
Jeremiah 30 in the SBITS
Jeremiah 30 in the SBITS2
Jeremiah 30 in the SBITS3
Jeremiah 30 in the SBITS4
Jeremiah 30 in the SBIUS
Jeremiah 30 in the SBIVS
Jeremiah 30 in the SBT
Jeremiah 30 in the SBT1E
Jeremiah 30 in the SCHL
Jeremiah 30 in the SNT
Jeremiah 30 in the SUSU
Jeremiah 30 in the SUSU2
Jeremiah 30 in the SYNO
Jeremiah 30 in the TBIAOTANT
Jeremiah 30 in the TBT1E
Jeremiah 30 in the TBT1E2
Jeremiah 30 in the TFTIP
Jeremiah 30 in the TFTU
Jeremiah 30 in the TGNTATF3T
Jeremiah 30 in the THAI
Jeremiah 30 in the TNFD
Jeremiah 30 in the TNT
Jeremiah 30 in the TNTIK
Jeremiah 30 in the TNTIL
Jeremiah 30 in the TNTIN
Jeremiah 30 in the TNTIP
Jeremiah 30 in the TNTIZ
Jeremiah 30 in the TOMA
Jeremiah 30 in the TTENT
Jeremiah 30 in the UBG
Jeremiah 30 in the UGV
Jeremiah 30 in the UGV2
Jeremiah 30 in the UGV3
Jeremiah 30 in the VBL
Jeremiah 30 in the VDCC
Jeremiah 30 in the YALU
Jeremiah 30 in the YAPE
Jeremiah 30 in the YBVTP
Jeremiah 30 in the ZBP