Psalms 37 (BOLCB)

undefined Zabbuli ya Dawudi. 1 Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana. 2 Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,bafiire ddala ng’essubi ekkalu. 3 Weesigenga MUKAMA okolenga bulungi,onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi. 4 Sanyukiranga mu MUKAMA,anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga. 5 By’okola byonna byesigamyenga ku MUKAMA;mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala. 6 Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu. 7 Siriikirira awali MUKAMA,ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi. 8 Tonyiiganga era weewale ekiruyi;teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere. 9 Kubanga ababi balisalibwako,naye abeesiga MUKAMA baligabana ensi. 10 Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;wadde mulibanoonya temulibalabako. 11 Naye abateefu baligabana ensine beeyagalira mu ddembe eritatendeka. 12 Ababi basalira abatuukirivu enkwe,ne babalumira obujiji. 13 Naye Mukama asekerera ababi,kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi. 14 Ababi basowoddeyo ebitala byabwene baleega emitego gy’obusaale,batte abaavu n’abali mu kwetaagaera basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu. 15 Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa. 16 Ebitono omutuukirivu by’alinabisinga obugagga bw’ababi abangi; 17 kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,naye MUKAMA anaawaniriranga abatuukirivu. 18 Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa MUKAMA,era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera. 19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga. 20 Naye ababi balizikirira;abalabe ba MUKAMA balifaanana ng’obulungi bwe ttale,era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka. 21 Ababi beewola, ne batasasula;naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi. 22 Abo MUKAMA b’awa omukisa baligabana ensi,naye abo b’akolimira balizikirizibwa. 23 MUKAMA bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,aluŋŋamya entambula ye. 24 Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,kubanga omukono gwa MUKAMA gumuwanirira. 25 Nnali muto kati nkaddiye,naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya. 26 Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa. 27 Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,munaabanga balamu emirembe gyonna. 28 Kubanga MUKAMA ayagala ab’amazima,n’abeesigwa be taabaabulirenga.Banaalabirirwanga emirembe gyonna;naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa. 29 Abatuukirivu baligabana ensine babeeranga omwo emirembe gyonna. 30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,n’olulimi lwe lwogera bya mazima. 31 Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,era ebigere bye tebiseerera. 32 Omubi ateega omutuukirivung’anoonya okumutta, 33 naye MUKAMA taliganya babi kuwangula,wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango. 34 Lindirira MUKAMA n’okugumiikiriza,otambulirenga mu makubo ge;naye alikugulumiza n’akuwa ensi;ababi bwe balisalirwako olikitegeera. 35 Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu, 36 naye teyalwawo n’abula,ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako. 37 Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu;obulamu bwe bunajjulanga emirembe. 38 Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;ezzadde ly’ababi lirisaanyizibwawo. 39 Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri MUKAMA;ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana. 40 MUKAMA abayamba n’abalokola;abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,kubanga gy’ali gye baddukira.

In Other Versions

Psalms 37 in the ANGEFD

Psalms 37 in the ANTPNG2D

Psalms 37 in the AS21

Psalms 37 in the BAGH

Psalms 37 in the BBPNG

Psalms 37 in the BBT1E

Psalms 37 in the BDS

Psalms 37 in the BEV

Psalms 37 in the BHAD

Psalms 37 in the BIB

Psalms 37 in the BLPT

Psalms 37 in the BNT

Psalms 37 in the BNTABOOT

Psalms 37 in the BNTLV

Psalms 37 in the BOATCB

Psalms 37 in the BOATCB2

Psalms 37 in the BOBCV

Psalms 37 in the BOCNT

Psalms 37 in the BOECS

Psalms 37 in the BOGWICC

Psalms 37 in the BOHCB

Psalms 37 in the BOHCV

Psalms 37 in the BOHLNT

Psalms 37 in the BOHNTLTAL

Psalms 37 in the BOICB

Psalms 37 in the BOILNTAP

Psalms 37 in the BOITCV

Psalms 37 in the BOKCV

Psalms 37 in the BOKCV2

Psalms 37 in the BOKHWOG

Psalms 37 in the BOKSSV

Psalms 37 in the BOLCB2

Psalms 37 in the BOMCV

Psalms 37 in the BONAV

Psalms 37 in the BONCB

Psalms 37 in the BONLT

Psalms 37 in the BONUT2

Psalms 37 in the BOPLNT

Psalms 37 in the BOSCB

Psalms 37 in the BOSNC

Psalms 37 in the BOTLNT

Psalms 37 in the BOVCB

Psalms 37 in the BOYCB

Psalms 37 in the BPBB

Psalms 37 in the BPH

Psalms 37 in the BSB

Psalms 37 in the CCB

Psalms 37 in the CUV

Psalms 37 in the CUVS

Psalms 37 in the DBT

Psalms 37 in the DGDNT

Psalms 37 in the DHNT

Psalms 37 in the DNT

Psalms 37 in the ELBE

Psalms 37 in the EMTV

Psalms 37 in the ESV

Psalms 37 in the FBV

Psalms 37 in the FEB

Psalms 37 in the GGMNT

Psalms 37 in the GNT

Psalms 37 in the HARY

Psalms 37 in the HNT

Psalms 37 in the IRVA

Psalms 37 in the IRVB

Psalms 37 in the IRVG

Psalms 37 in the IRVH

Psalms 37 in the IRVK

Psalms 37 in the IRVM

Psalms 37 in the IRVM2

Psalms 37 in the IRVO

Psalms 37 in the IRVP

Psalms 37 in the IRVT

Psalms 37 in the IRVT2

Psalms 37 in the IRVU

Psalms 37 in the ISVN

Psalms 37 in the JSNT

Psalms 37 in the KAPI

Psalms 37 in the KBT1ETNIK

Psalms 37 in the KBV

Psalms 37 in the KJV

Psalms 37 in the KNFD

Psalms 37 in the LBA

Psalms 37 in the LBLA

Psalms 37 in the LNT

Psalms 37 in the LSV

Psalms 37 in the MAAL

Psalms 37 in the MBV

Psalms 37 in the MBV2

Psalms 37 in the MHNT

Psalms 37 in the MKNFD

Psalms 37 in the MNG

Psalms 37 in the MNT

Psalms 37 in the MNT2

Psalms 37 in the MRS1T

Psalms 37 in the NAA

Psalms 37 in the NASB

Psalms 37 in the NBLA

Psalms 37 in the NBS

Psalms 37 in the NBVTP

Psalms 37 in the NET2

Psalms 37 in the NIV11

Psalms 37 in the NNT

Psalms 37 in the NNT2

Psalms 37 in the NNT3

Psalms 37 in the PDDPT

Psalms 37 in the PFNT

Psalms 37 in the RMNT

Psalms 37 in the SBIAS

Psalms 37 in the SBIBS

Psalms 37 in the SBIBS2

Psalms 37 in the SBICS

Psalms 37 in the SBIDS

Psalms 37 in the SBIGS

Psalms 37 in the SBIHS

Psalms 37 in the SBIIS

Psalms 37 in the SBIIS2

Psalms 37 in the SBIIS3

Psalms 37 in the SBIKS

Psalms 37 in the SBIKS2

Psalms 37 in the SBIMS

Psalms 37 in the SBIOS

Psalms 37 in the SBIPS

Psalms 37 in the SBISS

Psalms 37 in the SBITS

Psalms 37 in the SBITS2

Psalms 37 in the SBITS3

Psalms 37 in the SBITS4

Psalms 37 in the SBIUS

Psalms 37 in the SBIVS

Psalms 37 in the SBT

Psalms 37 in the SBT1E

Psalms 37 in the SCHL

Psalms 37 in the SNT

Psalms 37 in the SUSU

Psalms 37 in the SUSU2

Psalms 37 in the SYNO

Psalms 37 in the TBIAOTANT

Psalms 37 in the TBT1E

Psalms 37 in the TBT1E2

Psalms 37 in the TFTIP

Psalms 37 in the TFTU

Psalms 37 in the TGNTATF3T

Psalms 37 in the THAI

Psalms 37 in the TNFD

Psalms 37 in the TNT

Psalms 37 in the TNTIK

Psalms 37 in the TNTIL

Psalms 37 in the TNTIN

Psalms 37 in the TNTIP

Psalms 37 in the TNTIZ

Psalms 37 in the TOMA

Psalms 37 in the TTENT

Psalms 37 in the UBG

Psalms 37 in the UGV

Psalms 37 in the UGV2

Psalms 37 in the UGV3

Psalms 37 in the VBL

Psalms 37 in the VDCC

Psalms 37 in the YALU

Psalms 37 in the YAPE

Psalms 37 in the YBVTP

Psalms 37 in the ZBP