Romans 7 (BOLCB)
1 Temumanyi abooluganda, kubanga njogera eri abamanyi amateeka, ng’amateeka gafuga oyo yekka akyali omulamu? 2 Ka mbawe ekyokulabirako: mu mateeka omukazi omufumbo, asigala nga wa bba, bba bw’aba ng’akyali mulamu. Naye bba bw’afa, omukazi oyo ng’asumuluddwa mu tteeka eribagatta. 3 Noolwekyo omukazi oyo bwe yeegatta n’omusajja omulala, bba ng’akyali mulamu, omukazi oyo anaayitibwanga mwenzi. Naye bba bw’afanga, olwo omukazi omufumbo anaabanga asumuluddwa mu tteeka, era taabenga mwenzi bw’anaafumbirwanga omusajja omulala. 4 Nammwe baganda bange mwafa eri amateeka, muli ba mubiri gwa Kristo. Mwegatta ku Kristo eyazuukizibwa okuva mu bafu, tulyoke tubale ebibala ebisanyusa Katonda. 5 Kubanga bwe twali tukyafugibwa omubiri, okwegomba kw’ebibi kwakoleranga mu bitundu byaffe eby’omubiri olw’amateeka, era enkomerero kwali kufa. 6 Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde ey’amateeka. 7 Kale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. N’okwegomba kw’omubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.” 8 Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu. 9 Edda nali mulamu awatali mateeka, naye etteeka bwe lyajja, ekibi ne kiramuka, n’okufa ne nfa. 10 Era ne nkizuula ng’etteeka eryali liteekwa okumpa obulamu, lye lyandetera okufa. 11 Ekibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita. 12 Noolwekyo amateeka matukuvu, era n’ekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi. 13 Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala. 14 Tumanyi ng’amateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ng’omuddu nfugibwe ekibi. 15 Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. 16 Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi. 17 Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze. 18 Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola. 19 Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola. 20 Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze. 21 Noolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi. 22 Mu nze mu muntu ow’omunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda. 23 Naye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka ag’enjawulo nga gawakana n’etteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe w’amateeka ag’ekibi, ekikolera mu mubiri gwange. 24 Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa? 25 Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe.Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu w’amateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ng’okwegomba kwange okw’omubiri, mpeereza etteeka ly’ekibi.
In Other Versions
Romans 7 in the ANGEFD
Romans 7 in the ANTPNG2D
Romans 7 in the AS21
Romans 7 in the BAGH
Romans 7 in the BBPNG
Romans 7 in the BBT1E
Romans 7 in the BDS
Romans 7 in the BEV
Romans 7 in the BHAD
Romans 7 in the BIB
Romans 7 in the BLPT
Romans 7 in the BNT
Romans 7 in the BNTABOOT
Romans 7 in the BNTLV
Romans 7 in the BOATCB
Romans 7 in the BOATCB2
Romans 7 in the BOBCV
Romans 7 in the BOCNT
Romans 7 in the BOECS
Romans 7 in the BOGWICC
Romans 7 in the BOHCB
Romans 7 in the BOHCV
Romans 7 in the BOHLNT
Romans 7 in the BOHNTLTAL
Romans 7 in the BOICB
Romans 7 in the BOILNTAP
Romans 7 in the BOITCV
Romans 7 in the BOKCV
Romans 7 in the BOKCV2
Romans 7 in the BOKHWOG
Romans 7 in the BOKSSV
Romans 7 in the BOLCB2
Romans 7 in the BOMCV
Romans 7 in the BONAV
Romans 7 in the BONCB
Romans 7 in the BONLT
Romans 7 in the BONUT2
Romans 7 in the BOPLNT
Romans 7 in the BOSCB
Romans 7 in the BOSNC
Romans 7 in the BOTLNT
Romans 7 in the BOVCB
Romans 7 in the BOYCB
Romans 7 in the BPBB
Romans 7 in the BPH
Romans 7 in the BSB
Romans 7 in the CCB
Romans 7 in the CUV
Romans 7 in the CUVS
Romans 7 in the DBT
Romans 7 in the DGDNT
Romans 7 in the DHNT
Romans 7 in the DNT
Romans 7 in the ELBE
Romans 7 in the EMTV
Romans 7 in the ESV
Romans 7 in the FBV
Romans 7 in the FEB
Romans 7 in the GGMNT
Romans 7 in the GNT
Romans 7 in the HARY
Romans 7 in the HNT
Romans 7 in the IRVA
Romans 7 in the IRVB
Romans 7 in the IRVG
Romans 7 in the IRVH
Romans 7 in the IRVK
Romans 7 in the IRVM
Romans 7 in the IRVM2
Romans 7 in the IRVO
Romans 7 in the IRVP
Romans 7 in the IRVT
Romans 7 in the IRVT2
Romans 7 in the IRVU
Romans 7 in the ISVN
Romans 7 in the JSNT
Romans 7 in the KAPI
Romans 7 in the KBT1ETNIK
Romans 7 in the KBV
Romans 7 in the KJV
Romans 7 in the KNFD
Romans 7 in the LBA
Romans 7 in the LBLA
Romans 7 in the LNT
Romans 7 in the LSV
Romans 7 in the MAAL
Romans 7 in the MBV
Romans 7 in the MBV2
Romans 7 in the MHNT
Romans 7 in the MKNFD
Romans 7 in the MNG
Romans 7 in the MNT
Romans 7 in the MNT2
Romans 7 in the MRS1T
Romans 7 in the NAA
Romans 7 in the NASB
Romans 7 in the NBLA
Romans 7 in the NBS
Romans 7 in the NBVTP
Romans 7 in the NET2
Romans 7 in the NIV11
Romans 7 in the NNT
Romans 7 in the NNT2
Romans 7 in the NNT3
Romans 7 in the PDDPT
Romans 7 in the PFNT
Romans 7 in the RMNT
Romans 7 in the SBIAS
Romans 7 in the SBIBS
Romans 7 in the SBIBS2
Romans 7 in the SBICS
Romans 7 in the SBIDS
Romans 7 in the SBIGS
Romans 7 in the SBIHS
Romans 7 in the SBIIS
Romans 7 in the SBIIS2
Romans 7 in the SBIIS3
Romans 7 in the SBIKS
Romans 7 in the SBIKS2
Romans 7 in the SBIMS
Romans 7 in the SBIOS
Romans 7 in the SBIPS
Romans 7 in the SBISS
Romans 7 in the SBITS
Romans 7 in the SBITS2
Romans 7 in the SBITS3
Romans 7 in the SBITS4
Romans 7 in the SBIUS
Romans 7 in the SBIVS
Romans 7 in the SBT
Romans 7 in the SBT1E
Romans 7 in the SCHL
Romans 7 in the SNT
Romans 7 in the SUSU
Romans 7 in the SUSU2
Romans 7 in the SYNO
Romans 7 in the TBIAOTANT
Romans 7 in the TBT1E
Romans 7 in the TBT1E2
Romans 7 in the TFTIP
Romans 7 in the TFTU
Romans 7 in the TGNTATF3T
Romans 7 in the THAI
Romans 7 in the TNFD
Romans 7 in the TNT
Romans 7 in the TNTIK
Romans 7 in the TNTIL
Romans 7 in the TNTIN
Romans 7 in the TNTIP
Romans 7 in the TNTIZ
Romans 7 in the TOMA
Romans 7 in the TTENT
Romans 7 in the UBG
Romans 7 in the UGV
Romans 7 in the UGV2
Romans 7 in the UGV3
Romans 7 in the VBL
Romans 7 in the VDCC
Romans 7 in the YALU
Romans 7 in the YAPE
Romans 7 in the YBVTP
Romans 7 in the ZBP