Acts 20 (BOLCB)

1 Awo akasasamalo bwe kakkakkana, Pawulo n’atumya abayigirizwa, ne bakuŋŋaana, n’ababuulira ekigambo kya Katonda ng’abasiibula n’okubagumya, n’alyoka asitula n’alaga mu Makedoniya. 2 N’agenda ng’ayitaayita mu bitundu ebyo ng’ayogera n’abantu ebigambo bingi eby’okubagumya n’okubanyiikiza mu kukkiriza kwabwe. Oluvannyuma n’atuuka mu Buyonaani, 3 n’amalamu emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga mu Siriya, n’avumbula olukwe Abayudaaya lwe baali basaze okumutta, kyeyava asalawo okuddayo mu Makedoniya gy’aba ayita. 4 Abaamuwerekerako mu lugendo olwo okutuuka mu Asiya, be bano: Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo, ne Alisutaluuko ne Sekundo Abasessaloniika, ne Gaayo Omuderube, ne Timoseewo, n’Abasiya, Tukiko ne Tulofiimo. 5 Oluvannyuma bano bonna ne batukulembera ne batulinda e Tulowa. 6 Ne tusaabala ku nnyanja okuva e Firipi nga tumaze embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, bannaffe ne tubatuukako mu Tulowa ne tumalawo ennaku musanvu. 7 Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera! 8 Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka. 9 Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng’akyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu n’agwa ebweru n’afiirawo. 10 Pawulo n’akka wansi n’amusitula n’amuwambaatira mu mikono gye. N’agamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!” 11 Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, n’alyoka asitula n’agenda. 12 Ne baddamu amaanyi, n’omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu. 13 Awo Pawulo ne tumukulembera ne tusaabala ku nnyanja okulaga mu Aso, Pawulo nga bwe yali ateeseteese, kubanga ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu. 14 Bwe yatusisinkana mu Aso, ne tutuuka e Mituleene. 15 Bwe twava eyo ne tuwunguka olunaku olwaddirira ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo. Ne ku lunaku olwaddirira ne tusala ne tudda e Samo, ne ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Mireeto. 16 Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso nga yeewala okumala ekiseera ekinene mu Asiya, kubanga yali yeeyuna nti ssinga asobola, atuuke mu Yerusaalemi ng’olunaku lwa Pentekoote terunnatuuka. 17 Bwe yatuuka e Mireeto, n’atumira abakadde b’Ekkanisa ya Efeso bajje bamulabe. 18 Awo bwe baatuuka Pawulo n’agamba nti, “Mumanyi bulungi ng’okuva ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya n’okutuusa leero, 19 nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza n’obuwombeefu n’amaziga n’okugezesebwa ebyantukako olw’enkwe z’Abayudaaya. 20 Naye saalekayo kubabuulira bituufu eby’okubayamba, bwe twabanga tukuŋŋaanye oba bwe najjanga mu maka gammwe, 21 nga ntegeeza Abayudaaya n’Abayonaani okwenenya badde eri Katonda, n’okuba n’okukkiriza mu Mukama waffe Yesu. 22 “Ne kaakano laba nsibiddwa Mwoyo Mutukuvu, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi binaantukako nga ndi eyo. 23 Wabula Mwoyo Mutukuvu antegeeza nti okusibibwa n’okubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga. 24 Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey’ekisa kya Katonda. 25 “Ne kaakano mmanyi nga temukyaddayo kundaba nate, mwenna be natambulamu nga mbuulira obwakabaka. 26 Noolwekyo mbategeeza leero nti sirina kyenvunaanwa olw’omusaayi gwa bonna, 27 kubanga sirina na kimu kye nalekayo nga mbabuulira okwagala kwa Katonda. 28 Mwekumenga era mukuumenga n’ekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi gwe. 29 Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo. 30 Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga. 31 Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana n’ekiro, ne mundeeta n’amaziga. 32 “Kaakano mbasigira Katonda n’ekigambo eky’ekisa kye ebiyinza okubazimba n’okubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa. 33 Siyaayaaniranga ffeeza newaakubadde zaabu wadde engoye eby’omuntu n’omu. 34 Mmwe bennyini mumanyi nti neetuusizaako ebyetaago byange n’eby’abo bendi nabo. 35 Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ” 36 Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’afukamira n’asaba nabo bonna. 37 Buli omu n’akaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula, 38 nga banakuwavu, naye okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.

In Other Versions

Acts 20 in the ANGEFD

Acts 20 in the ANTPNG2D

Acts 20 in the AS21

Acts 20 in the BAGH

Acts 20 in the BBPNG

Acts 20 in the BBT1E

Acts 20 in the BDS

Acts 20 in the BEV

Acts 20 in the BHAD

Acts 20 in the BIB

Acts 20 in the BLPT

Acts 20 in the BNT

Acts 20 in the BNTABOOT

Acts 20 in the BNTLV

Acts 20 in the BOATCB

Acts 20 in the BOATCB2

Acts 20 in the BOBCV

Acts 20 in the BOCNT

Acts 20 in the BOECS

Acts 20 in the BOGWICC

Acts 20 in the BOHCB

Acts 20 in the BOHCV

Acts 20 in the BOHLNT

Acts 20 in the BOHNTLTAL

Acts 20 in the BOICB

Acts 20 in the BOILNTAP

Acts 20 in the BOITCV

Acts 20 in the BOKCV

Acts 20 in the BOKCV2

Acts 20 in the BOKHWOG

Acts 20 in the BOKSSV

Acts 20 in the BOLCB2

Acts 20 in the BOMCV

Acts 20 in the BONAV

Acts 20 in the BONCB

Acts 20 in the BONLT

Acts 20 in the BONUT2

Acts 20 in the BOPLNT

Acts 20 in the BOSCB

Acts 20 in the BOSNC

Acts 20 in the BOTLNT

Acts 20 in the BOVCB

Acts 20 in the BOYCB

Acts 20 in the BPBB

Acts 20 in the BPH

Acts 20 in the BSB

Acts 20 in the CCB

Acts 20 in the CUV

Acts 20 in the CUVS

Acts 20 in the DBT

Acts 20 in the DGDNT

Acts 20 in the DHNT

Acts 20 in the DNT

Acts 20 in the ELBE

Acts 20 in the EMTV

Acts 20 in the ESV

Acts 20 in the FBV

Acts 20 in the FEB

Acts 20 in the GGMNT

Acts 20 in the GNT

Acts 20 in the HARY

Acts 20 in the HNT

Acts 20 in the IRVA

Acts 20 in the IRVB

Acts 20 in the IRVG

Acts 20 in the IRVH

Acts 20 in the IRVK

Acts 20 in the IRVM

Acts 20 in the IRVM2

Acts 20 in the IRVO

Acts 20 in the IRVP

Acts 20 in the IRVT

Acts 20 in the IRVT2

Acts 20 in the IRVU

Acts 20 in the ISVN

Acts 20 in the JSNT

Acts 20 in the KAPI

Acts 20 in the KBT1ETNIK

Acts 20 in the KBV

Acts 20 in the KJV

Acts 20 in the KNFD

Acts 20 in the LBA

Acts 20 in the LBLA

Acts 20 in the LNT

Acts 20 in the LSV

Acts 20 in the MAAL

Acts 20 in the MBV

Acts 20 in the MBV2

Acts 20 in the MHNT

Acts 20 in the MKNFD

Acts 20 in the MNG

Acts 20 in the MNT

Acts 20 in the MNT2

Acts 20 in the MRS1T

Acts 20 in the NAA

Acts 20 in the NASB

Acts 20 in the NBLA

Acts 20 in the NBS

Acts 20 in the NBVTP

Acts 20 in the NET2

Acts 20 in the NIV11

Acts 20 in the NNT

Acts 20 in the NNT2

Acts 20 in the NNT3

Acts 20 in the PDDPT

Acts 20 in the PFNT

Acts 20 in the RMNT

Acts 20 in the SBIAS

Acts 20 in the SBIBS

Acts 20 in the SBIBS2

Acts 20 in the SBICS

Acts 20 in the SBIDS

Acts 20 in the SBIGS

Acts 20 in the SBIHS

Acts 20 in the SBIIS

Acts 20 in the SBIIS2

Acts 20 in the SBIIS3

Acts 20 in the SBIKS

Acts 20 in the SBIKS2

Acts 20 in the SBIMS

Acts 20 in the SBIOS

Acts 20 in the SBIPS

Acts 20 in the SBISS

Acts 20 in the SBITS

Acts 20 in the SBITS2

Acts 20 in the SBITS3

Acts 20 in the SBITS4

Acts 20 in the SBIUS

Acts 20 in the SBIVS

Acts 20 in the SBT

Acts 20 in the SBT1E

Acts 20 in the SCHL

Acts 20 in the SNT

Acts 20 in the SUSU

Acts 20 in the SUSU2

Acts 20 in the SYNO

Acts 20 in the TBIAOTANT

Acts 20 in the TBT1E

Acts 20 in the TBT1E2

Acts 20 in the TFTIP

Acts 20 in the TFTU

Acts 20 in the TGNTATF3T

Acts 20 in the THAI

Acts 20 in the TNFD

Acts 20 in the TNT

Acts 20 in the TNTIK

Acts 20 in the TNTIL

Acts 20 in the TNTIN

Acts 20 in the TNTIP

Acts 20 in the TNTIZ

Acts 20 in the TOMA

Acts 20 in the TTENT

Acts 20 in the UBG

Acts 20 in the UGV

Acts 20 in the UGV2

Acts 20 in the UGV3

Acts 20 in the VBL

Acts 20 in the VDCC

Acts 20 in the YALU

Acts 20 in the YAPE

Acts 20 in the YBVTP

Acts 20 in the ZBP