Deuteronomy 33 (BOLCB)
1 Guno gwe mukisa, Musa musajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isirayiri nga tannafa. 2 Yagamba nti,“MUKAMA Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayin’atutuukako ng’ava ku Seyiri;yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani.Yajja n’obufukunya bw’abatukuvuokuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze. 3 Mazima gw’oyagala abantu,abatukuvu bonna bali mu mikono gyo.Bavuunama wansi ku bigere byone bawulira ebiragiro by’obawa. 4 Ge mateeka Musa ge yatuwang’ekyokufuna eky’ekibiina kya Yakobo. 5 Waasitukawo kabaka mu Yesuluuniabakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaananga bye bika bya Isirayiri ebyegasse. 6 “Lewubeeni abenga mulamu; alemenga kuggwaawon’omuwendo gw’abasajja be gulemenga kukendeera.” 7 Kino kye yayogera ku Yuda:“Wulira, Ayi MUKAMA Katonda okukaaba kwa Yuda;omuleete eri abantu be.Yeerwaneko n’emikono gye.Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!” 8 Bino bye yayogera ku Leevi:“Sumimu wo ne Ulimu wobiwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo.Wamukebera e Masan’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba. 9 Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti,‘Abo sibafaako.’Baganda be teyabategeerangawadde okusembeza abaana be;baalabiriranga ekigambo kyone bakuumanga endagaano yo. 10 Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byone Isirayiri amateeka go.Banaanyookezanga obubaane mu maaso go,n’ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyo. 11 Ayi MUKAMA Katonda owe omukisa byonna by’akola,era okkirize emirimu gy’emikono gye.Okubirenga ddala abo abamugolokokerakookubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.” 12 Bye yayogera ku Benyamini:“Omwagalwa wa MUKAMA Katonda abeerenga wanywevu,Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo,omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.” 13 Yayogera bw’ati ku Yusufu:“Ettaka lye MUKAMA Katonda aliwe omukisa,n’omusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulun’amazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi, 14 n’ebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana,n’amakungula aganaasinganga mu myezi gyonna; 15 n’ebibala ebinaakiranga obulungi ku nsozi ez’edda,n’okwala kw’ebirime ku nsozi ez’emirembe gyonna; 16 n’ebirabo ebisinga byonna mu nsi n’okujjula kwayo,n’obuganzi obunaavanga eri oyo ow’omu kisaka ekyaka.Ebyo byonna ka bijjenga ku mutwe gwa Yusufu,mu kyenyi ky’omulangira mu baganda be. 17 Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberyeamayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu;anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza,n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi.Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimunga ze nkumi za Manase.” 18 Yayogera bw’ati ku Zebbulooni:“Jaguzanga, ggwe Zebbulooni, bw’onoofulumanga;ne Isakaali ng’ali mu weema zo. 19 Banaakoowoolanga amawanga okwambuka ku nsozine baweerangayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu,banaalyanga eby’obugagga ebya mayanja,nga beeyambisa n’ebyobugagga ebikweke mu musenyu.” 20 Yayogera bw’ati ku Gaadi:“Alina omukisa oyo agaziya ensalo z’omugabo gwa Gaadi,Gaadi omwo mw’abeera ng’empologomang’ayuza omukono n’omutwe. 21 Yeerondera omugabo gw’ettaka erisinga obulungi,omugabo gw’omukulembeze gwe gwamukuumirwa.Abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaanaye yabasalira emisango gya MUKAMA,n’okukwasa Isirayiri amateeka ga MUKAMA Katonda.” 22 Yayogera bw’ati ku Ddaani:“Ddaani mwana gwa mpologoma,ogubuuka nga guva mu Basani.” 23 Yayogera bw’ati ku Nafutaali:“Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa MUKAMA Katondaera ng’ojjudde emikisa gye,onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.” 24 Yayogera bw’ati ku Aseri:“Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri,ku baganda be gwe babanga basinga okwagalaera emizabbibu gigimuke nnyo mu ttaka lye. 25 Enzigi z’ebibuga byo zinaasibwanga n’eminyolo egy’ekyuma n’ekikomon’amaanyi go ganenkananga n’obuwangaazi bwo. 26 “Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluunieyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyambane ku bire mu kitiibwa kye. 27 Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo,era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna.Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba,n’agamba nti, ‘Bazikirize!’ 28 Bw’atyo Isirayiri anaabeeranga mu mirembe yekka,ezzadde lya Yakobo linaabeeranga wanywevu,mu nsi erimu emmere y’empeke ne wayini,eggulu mwe linaatonnyezanga omusulo. 29 Nga weesiimye, Ayi Isirayiri!Ani akufaanana,ggwe eggwanga MUKAMA Katonda lye yalokola?Ye ngabo yo era omubeezi wo,era kye kitala kyo ekisinga byonna.Abalabe bo banaakuvuunamiranga,era onoobalinnyiriranga.”
In Other Versions
Deuteronomy 33 in the ANTPNG2D
Deuteronomy 33 in the BNTABOOT
Deuteronomy 33 in the BOHNTLTAL
Deuteronomy 33 in the BOILNTAP
Deuteronomy 33 in the KBT1ETNIK
Deuteronomy 33 in the TBIAOTANT