Ephesians 5 (BOLCB)

1 Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa. 2 Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi. 3 Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe. 4 Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda. 5 Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. 6 Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera. 7 Noolwekyo temwegattanga n’abafaanana ng’abo. 8 Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana, 9 ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala eby’omusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era ab’amazima, 10 nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe. 11 Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola. 12 Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama. 13 Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri. 14 Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti,“Zuukuka ggwe eyeebase,Ozuukire mu bafu,Kristo anaakwakira.” 15 Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, 16 nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi. 17 Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 18 Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 19 Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 20 Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo. 21 Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga. 22 Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. 23 Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. 24 Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna. 25 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. 26 Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, 27 alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. 28 N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. 29 Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, 30 kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 31 “Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” 32 Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye. 33 Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.

In Other Versions

Ephesians 5 in the ANGEFD

Ephesians 5 in the ANTPNG2D

Ephesians 5 in the AS21

Ephesians 5 in the BAGH

Ephesians 5 in the BBPNG

Ephesians 5 in the BBT1E

Ephesians 5 in the BDS

Ephesians 5 in the BEV

Ephesians 5 in the BHAD

Ephesians 5 in the BIB

Ephesians 5 in the BLPT

Ephesians 5 in the BNT

Ephesians 5 in the BNTABOOT

Ephesians 5 in the BNTLV

Ephesians 5 in the BOATCB

Ephesians 5 in the BOATCB2

Ephesians 5 in the BOBCV

Ephesians 5 in the BOCNT

Ephesians 5 in the BOECS

Ephesians 5 in the BOGWICC

Ephesians 5 in the BOHCB

Ephesians 5 in the BOHCV

Ephesians 5 in the BOHLNT

Ephesians 5 in the BOHNTLTAL

Ephesians 5 in the BOICB

Ephesians 5 in the BOILNTAP

Ephesians 5 in the BOITCV

Ephesians 5 in the BOKCV

Ephesians 5 in the BOKCV2

Ephesians 5 in the BOKHWOG

Ephesians 5 in the BOKSSV

Ephesians 5 in the BOLCB2

Ephesians 5 in the BOMCV

Ephesians 5 in the BONAV

Ephesians 5 in the BONCB

Ephesians 5 in the BONLT

Ephesians 5 in the BONUT2

Ephesians 5 in the BOPLNT

Ephesians 5 in the BOSCB

Ephesians 5 in the BOSNC

Ephesians 5 in the BOTLNT

Ephesians 5 in the BOVCB

Ephesians 5 in the BOYCB

Ephesians 5 in the BPBB

Ephesians 5 in the BPH

Ephesians 5 in the BSB

Ephesians 5 in the CCB

Ephesians 5 in the CUV

Ephesians 5 in the CUVS

Ephesians 5 in the DBT

Ephesians 5 in the DGDNT

Ephesians 5 in the DHNT

Ephesians 5 in the DNT

Ephesians 5 in the ELBE

Ephesians 5 in the EMTV

Ephesians 5 in the ESV

Ephesians 5 in the FBV

Ephesians 5 in the FEB

Ephesians 5 in the GGMNT

Ephesians 5 in the GNT

Ephesians 5 in the HARY

Ephesians 5 in the HNT

Ephesians 5 in the IRVA

Ephesians 5 in the IRVB

Ephesians 5 in the IRVG

Ephesians 5 in the IRVH

Ephesians 5 in the IRVK

Ephesians 5 in the IRVM

Ephesians 5 in the IRVM2

Ephesians 5 in the IRVO

Ephesians 5 in the IRVP

Ephesians 5 in the IRVT

Ephesians 5 in the IRVT2

Ephesians 5 in the IRVU

Ephesians 5 in the ISVN

Ephesians 5 in the JSNT

Ephesians 5 in the KAPI

Ephesians 5 in the KBT1ETNIK

Ephesians 5 in the KBV

Ephesians 5 in the KJV

Ephesians 5 in the KNFD

Ephesians 5 in the LBA

Ephesians 5 in the LBLA

Ephesians 5 in the LNT

Ephesians 5 in the LSV

Ephesians 5 in the MAAL

Ephesians 5 in the MBV

Ephesians 5 in the MBV2

Ephesians 5 in the MHNT

Ephesians 5 in the MKNFD

Ephesians 5 in the MNG

Ephesians 5 in the MNT

Ephesians 5 in the MNT2

Ephesians 5 in the MRS1T

Ephesians 5 in the NAA

Ephesians 5 in the NASB

Ephesians 5 in the NBLA

Ephesians 5 in the NBS

Ephesians 5 in the NBVTP

Ephesians 5 in the NET2

Ephesians 5 in the NIV11

Ephesians 5 in the NNT

Ephesians 5 in the NNT2

Ephesians 5 in the NNT3

Ephesians 5 in the PDDPT

Ephesians 5 in the PFNT

Ephesians 5 in the RMNT

Ephesians 5 in the SBIAS

Ephesians 5 in the SBIBS

Ephesians 5 in the SBIBS2

Ephesians 5 in the SBICS

Ephesians 5 in the SBIDS

Ephesians 5 in the SBIGS

Ephesians 5 in the SBIHS

Ephesians 5 in the SBIIS

Ephesians 5 in the SBIIS2

Ephesians 5 in the SBIIS3

Ephesians 5 in the SBIKS

Ephesians 5 in the SBIKS2

Ephesians 5 in the SBIMS

Ephesians 5 in the SBIOS

Ephesians 5 in the SBIPS

Ephesians 5 in the SBISS

Ephesians 5 in the SBITS

Ephesians 5 in the SBITS2

Ephesians 5 in the SBITS3

Ephesians 5 in the SBITS4

Ephesians 5 in the SBIUS

Ephesians 5 in the SBIVS

Ephesians 5 in the SBT

Ephesians 5 in the SBT1E

Ephesians 5 in the SCHL

Ephesians 5 in the SNT

Ephesians 5 in the SUSU

Ephesians 5 in the SUSU2

Ephesians 5 in the SYNO

Ephesians 5 in the TBIAOTANT

Ephesians 5 in the TBT1E

Ephesians 5 in the TBT1E2

Ephesians 5 in the TFTIP

Ephesians 5 in the TFTU

Ephesians 5 in the TGNTATF3T

Ephesians 5 in the THAI

Ephesians 5 in the TNFD

Ephesians 5 in the TNT

Ephesians 5 in the TNTIK

Ephesians 5 in the TNTIL

Ephesians 5 in the TNTIN

Ephesians 5 in the TNTIP

Ephesians 5 in the TNTIZ

Ephesians 5 in the TOMA

Ephesians 5 in the TTENT

Ephesians 5 in the UBG

Ephesians 5 in the UGV

Ephesians 5 in the UGV2

Ephesians 5 in the UGV3

Ephesians 5 in the VBL

Ephesians 5 in the VDCC

Ephesians 5 in the YALU

Ephesians 5 in the YAPE

Ephesians 5 in the YBVTP

Ephesians 5 in the ZBP