Isaiah 66 (BOLCB)

1 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda,“Eggulu y’entebe yange kwe nfugiran’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,nnyumba ki gye mulinzimbira?Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu? 2 Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,noolwekyo ebintu bino byonna byange?”bw’ayogera MUKAMA Katonda. “Ono ye muntu gwe ntunulako;oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo,oyo akankanira ekigambo kyange. 3 Naye asaddaaka ente aba ng’asse omuntu,oyo awaayo omwana gw’endiga n’aba ng’amenye ensingo y’embwa,n’oyo awaayo ekiweebwayo eky’empekeaba ng’awaddeyo omusaayi gw’embizzi,era oyo anyookeza obubaane bw’ekijjukizoaba ng’asinza ekifaananyi ekikole n’emikono.Abantu bakutte amakubo gaabwe,era emmeeme zaabwe zisanyukira eby’emizizo byabwe. 4 Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira,mbaleeteko kye batandyagadde kibatuukeko.Kubanga bwe nayita,teri n’omu yayanukula,bwe nnaayogeratebanfaako.Bakola ebibi mu maaso gangene bagoberera ebitansanyusa.” 5 Muwulirize ekigambo kya MUKAMA Katondammwe abakankanira ekigambo kye.“Baganda bammwe abatabaagalaera ababayigganya olw’erinnya lyange babasekerera nti,‘Leka MUKAMA alage obukulu bweabalokole tulabe bwe musanyuka!’Naye bo be banaakwasibwa ensonyi. 6 Muwulirize.Oluyoogaano oluva mu kibuga, muwulirize eddoboozi eriva mu yeekaalu.Eddoboozi eryo lya MUKAMA Katonda ng’asasula abalabe benga bwe kibagwanira. 7 “Ekibuga kyange ekitukuvukiri ng’omukazi azaalanga tannatuusa kulumwa,obulumi nga tebunatuuka n’akubawo eddenzi. 8 Ani eyali awulidde ekintu bwe kityo?Ani eyali alabye ekiri ng’ekyo?Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku lumuoba eggwanga okutondebwawo mu kaseera obuseera?Akaseera katono bwe kati,Sayuuni anaaba yakalumwa ng’eggwanga litondebwa. 9 Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwane batazaalibwa?” bw’ayogera MUKAMA Katonda.“Ate olubuto ndusiba ntyanga ndutuusizza ku kuzaala?” bw’ayogera MUKAMA Katonda wo. 10 “Mujagulize wamu ne Yerusaalemiera mumusanyukireko mwenna abamwagala,mujaganye nnyommwe mwenna abamukaabira. 11 Kubanga muliyonkamunywe n’essanyumukkutire ddalaku kitiibwa kye ekingi.” 12 Kubanga bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti,“Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo,obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala.Muliyonkako, musitulibwe mu mbiriiziera bababuusizebuusize ku mubiri gwe. 13 Ng’omwana bw’asanyusibwa nnyina,bwe ntyo bwe ndikuzzaamu amaanyimu Yerusaalemi.” 14 Kino bw’olikiraba omutima gwo gulisanyuka,era kirikufuula w’amaanyi omulamu obulungi ng’omuddo ogukuze.Olwo kiryoke kimanyibwe nti omukono gwa MUKAMA Katonda guyamba abaweereza be,ate obusungu bwe ne bulagibwa abalabe be. 15 “Kubanga laba MUKAMA Katonda alijjira mu muliro,era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyiera alibanenya n’ennimi ez’omuliro. 16 Omuliro n’ekitala MUKAMA Katonda by’alibonerezesa abantu bonna,n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi. 17 “Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera MUKAMA Katonda. 18 “Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange. 19 “Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli, n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani, mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange. 20 Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya MUKAMA Katonda. 21 Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera MUKAMA Katonda. 22 “Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera MUKAMA Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala. 23 Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera MUKAMA Katonda. 24 “Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”

In Other Versions

Isaiah 66 in the ANGEFD

Isaiah 66 in the ANTPNG2D

Isaiah 66 in the AS21

Isaiah 66 in the BAGH

Isaiah 66 in the BBPNG

Isaiah 66 in the BBT1E

Isaiah 66 in the BDS

Isaiah 66 in the BEV

Isaiah 66 in the BHAD

Isaiah 66 in the BIB

Isaiah 66 in the BLPT

Isaiah 66 in the BNT

Isaiah 66 in the BNTABOOT

Isaiah 66 in the BNTLV

Isaiah 66 in the BOATCB

Isaiah 66 in the BOATCB2

Isaiah 66 in the BOBCV

Isaiah 66 in the BOCNT

Isaiah 66 in the BOECS

Isaiah 66 in the BOGWICC

Isaiah 66 in the BOHCB

Isaiah 66 in the BOHCV

Isaiah 66 in the BOHLNT

Isaiah 66 in the BOHNTLTAL

Isaiah 66 in the BOICB

Isaiah 66 in the BOILNTAP

Isaiah 66 in the BOITCV

Isaiah 66 in the BOKCV

Isaiah 66 in the BOKCV2

Isaiah 66 in the BOKHWOG

Isaiah 66 in the BOKSSV

Isaiah 66 in the BOLCB2

Isaiah 66 in the BOMCV

Isaiah 66 in the BONAV

Isaiah 66 in the BONCB

Isaiah 66 in the BONLT

Isaiah 66 in the BONUT2

Isaiah 66 in the BOPLNT

Isaiah 66 in the BOSCB

Isaiah 66 in the BOSNC

Isaiah 66 in the BOTLNT

Isaiah 66 in the BOVCB

Isaiah 66 in the BOYCB

Isaiah 66 in the BPBB

Isaiah 66 in the BPH

Isaiah 66 in the BSB

Isaiah 66 in the CCB

Isaiah 66 in the CUV

Isaiah 66 in the CUVS

Isaiah 66 in the DBT

Isaiah 66 in the DGDNT

Isaiah 66 in the DHNT

Isaiah 66 in the DNT

Isaiah 66 in the ELBE

Isaiah 66 in the EMTV

Isaiah 66 in the ESV

Isaiah 66 in the FBV

Isaiah 66 in the FEB

Isaiah 66 in the GGMNT

Isaiah 66 in the GNT

Isaiah 66 in the HARY

Isaiah 66 in the HNT

Isaiah 66 in the IRVA

Isaiah 66 in the IRVB

Isaiah 66 in the IRVG

Isaiah 66 in the IRVH

Isaiah 66 in the IRVK

Isaiah 66 in the IRVM

Isaiah 66 in the IRVM2

Isaiah 66 in the IRVO

Isaiah 66 in the IRVP

Isaiah 66 in the IRVT

Isaiah 66 in the IRVT2

Isaiah 66 in the IRVU

Isaiah 66 in the ISVN

Isaiah 66 in the JSNT

Isaiah 66 in the KAPI

Isaiah 66 in the KBT1ETNIK

Isaiah 66 in the KBV

Isaiah 66 in the KJV

Isaiah 66 in the KNFD

Isaiah 66 in the LBA

Isaiah 66 in the LBLA

Isaiah 66 in the LNT

Isaiah 66 in the LSV

Isaiah 66 in the MAAL

Isaiah 66 in the MBV

Isaiah 66 in the MBV2

Isaiah 66 in the MHNT

Isaiah 66 in the MKNFD

Isaiah 66 in the MNG

Isaiah 66 in the MNT

Isaiah 66 in the MNT2

Isaiah 66 in the MRS1T

Isaiah 66 in the NAA

Isaiah 66 in the NASB

Isaiah 66 in the NBLA

Isaiah 66 in the NBS

Isaiah 66 in the NBVTP

Isaiah 66 in the NET2

Isaiah 66 in the NIV11

Isaiah 66 in the NNT

Isaiah 66 in the NNT2

Isaiah 66 in the NNT3

Isaiah 66 in the PDDPT

Isaiah 66 in the PFNT

Isaiah 66 in the RMNT

Isaiah 66 in the SBIAS

Isaiah 66 in the SBIBS

Isaiah 66 in the SBIBS2

Isaiah 66 in the SBICS

Isaiah 66 in the SBIDS

Isaiah 66 in the SBIGS

Isaiah 66 in the SBIHS

Isaiah 66 in the SBIIS

Isaiah 66 in the SBIIS2

Isaiah 66 in the SBIIS3

Isaiah 66 in the SBIKS

Isaiah 66 in the SBIKS2

Isaiah 66 in the SBIMS

Isaiah 66 in the SBIOS

Isaiah 66 in the SBIPS

Isaiah 66 in the SBISS

Isaiah 66 in the SBITS

Isaiah 66 in the SBITS2

Isaiah 66 in the SBITS3

Isaiah 66 in the SBITS4

Isaiah 66 in the SBIUS

Isaiah 66 in the SBIVS

Isaiah 66 in the SBT

Isaiah 66 in the SBT1E

Isaiah 66 in the SCHL

Isaiah 66 in the SNT

Isaiah 66 in the SUSU

Isaiah 66 in the SUSU2

Isaiah 66 in the SYNO

Isaiah 66 in the TBIAOTANT

Isaiah 66 in the TBT1E

Isaiah 66 in the TBT1E2

Isaiah 66 in the TFTIP

Isaiah 66 in the TFTU

Isaiah 66 in the TGNTATF3T

Isaiah 66 in the THAI

Isaiah 66 in the TNFD

Isaiah 66 in the TNT

Isaiah 66 in the TNTIK

Isaiah 66 in the TNTIL

Isaiah 66 in the TNTIN

Isaiah 66 in the TNTIP

Isaiah 66 in the TNTIZ

Isaiah 66 in the TOMA

Isaiah 66 in the TTENT

Isaiah 66 in the UBG

Isaiah 66 in the UGV

Isaiah 66 in the UGV2

Isaiah 66 in the UGV3

Isaiah 66 in the VBL

Isaiah 66 in the VDCC

Isaiah 66 in the YALU

Isaiah 66 in the YAPE

Isaiah 66 in the YBVTP

Isaiah 66 in the ZBP