Lamentations 1 (BOLCB)
1 Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa!Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga,nga kifuuse nga nnamwandu!Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza,afuuse omuddu omukazi. 2 Ekiro akaaba nnyo nnyini,n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge.Mu baganzi be bonna,talina n’omu amubeesabeesa.Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe,bafuuse balabe be. 3 Yuda agenze mu buwaŋŋanguseoluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu.Kati abeera mu bannamawanga,talaba kifo kya kuwummuliramu.Bonna abamunoonya bamusangamu nnaku ye. 4 Enguudo za Sayuuni zikungubaga,kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa.Emiryango gye gyonna girekeddwa awo,bakabona be, basinda;bawala be abaweereza bali mu buyinike,naye yennyini ali mu nnaku. 5 Abamuyigganya bafuuse bakama be;abalabe be beeyagala,kubanga MUKAMA amuleeseeko ennaku,olw’ebibi bye ebingi.Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse,bawambiddwa omulabe. 6 Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuunikimuweddeko,abalangira be bafuuse ng’ennangaaziezibuliddwa omuddo;mu bunafu,badduse ababagoba. 7 Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana,Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonnabye yalinanga mu nnaku ez’edda.Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe,tewaali n’omu amubeera;abalabe be ne bamutunuulirane bamusekerera olw’okugwa kwe. 8 Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini,bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu.Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma,kubanga balabye bw’asigalidde awo;ye yennyini asinda,era akwatibwa ensonyi. 9 Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye;teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja.Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo;tewaali n’omu amubeesabeesa.“Ayi MUKAMA, tunuulira okubonaabona kwange,kubanga omulabe awangudde.” 10 Omulabe yagololera omukonoku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo;yalaba amawanga amakaafiiringa gayingira awatukuvu we,beebo be wali ogaanyeokuyingira mu kuŋŋaaniro lyo. 11 Abantu be bonna basindanga bwe banoonya ekyokulya;eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere,okusobola okuba abalamu.“Laba, Ayi MUKAMA Katonda, onziseeko omwoyokubanga nnyoomebwa.” 12 “Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo?mwetegereze mulabeobanga waliwo obuyinike obwenkana,obwantukako, MUKAMA bwe yanteekakoku lunaku olw’obusungu bwe obungi. 13 “Yaweereza omuliro okuva waggulu,ne gukka mu magumba gange.Yatega ebigere byange akatimba,n’anzizaayo emabega.Yandeka mpuubadde,nga nzirise olunaku lwonna. 14 “Ebibi byange binfuukidde ekikoligo;bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe.Binzitoowerera mu bulago,era bimmazeemu amaanyi.Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abobe siyinza kugumiikiriza. 15 “Mukama anyoomyeabalwanyi abazira bonna abaali nange;akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa,okuzikiriza abavubuka bange.Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda,ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola. 16 “Kyenva nkaaba,amaaso gange ne gajjula amaziga,kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,ayinza okunzizaamu amaanyi.Abaana bange banakuwavukubanga omulabe awangudde.” 17 Sayuuni agolola emikono gye,naye tewali n’omu amudduukirira. MUKAMA awadde ekiragiro ku Yakobobaliraanwa be babeere balabe be;Yerusaalemi afuuseekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo. 18 “MUKAMA mutuukirivu,newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.Muwulirize mmwe amawanga gonna,mutunuulire okubonaabona kwange;Abavubuka bange ne bawala bangebatwalibbwa mu busibe. 19 “Nakoowoola bannange bannyambe,naye tebanfaako;bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyangebazikiririra mu kibuganga banoonya ekyokulyabaddemu amaanyi. 20 “Laba, Ayi MUKAMA Katonda bwe ndi omunakuwavu!Ndi mu kubonaabona,n’omutima gwange tegutereddekubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere. 21 “Abantu bawulidde okusinda kwange,naye tewali n’omu ananyamba.Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange;basanyukidde ekyo ky’okoze.Olunaku lwe walangirira,lubatuukeko, babeere nga nze. 22 “Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna,nga nze bwe wambonereza.Okusinda kwange kungin’omutima gwange guzirika.”
In Other Versions
Lamentations 1 in the ANGEFD
Lamentations 1 in the ANTPNG2D
Lamentations 1 in the AS21
Lamentations 1 in the BAGH
Lamentations 1 in the BBPNG
Lamentations 1 in the BBT1E
Lamentations 1 in the BDS
Lamentations 1 in the BEV
Lamentations 1 in the BHAD
Lamentations 1 in the BIB
Lamentations 1 in the BLPT
Lamentations 1 in the BNT
Lamentations 1 in the BNTABOOT
Lamentations 1 in the BNTLV
Lamentations 1 in the BOATCB
Lamentations 1 in the BOATCB2
Lamentations 1 in the BOBCV
Lamentations 1 in the BOCNT
Lamentations 1 in the BOECS
Lamentations 1 in the BOGWICC
Lamentations 1 in the BOHCB
Lamentations 1 in the BOHCV
Lamentations 1 in the BOHLNT
Lamentations 1 in the BOHNTLTAL
Lamentations 1 in the BOICB
Lamentations 1 in the BOILNTAP
Lamentations 1 in the BOITCV
Lamentations 1 in the BOKCV
Lamentations 1 in the BOKCV2
Lamentations 1 in the BOKHWOG
Lamentations 1 in the BOKSSV
Lamentations 1 in the BOLCB2
Lamentations 1 in the BOMCV
Lamentations 1 in the BONAV
Lamentations 1 in the BONCB
Lamentations 1 in the BONLT
Lamentations 1 in the BONUT2
Lamentations 1 in the BOPLNT
Lamentations 1 in the BOSCB
Lamentations 1 in the BOSNC
Lamentations 1 in the BOTLNT
Lamentations 1 in the BOVCB
Lamentations 1 in the BOYCB
Lamentations 1 in the BPBB
Lamentations 1 in the BPH
Lamentations 1 in the BSB
Lamentations 1 in the CCB
Lamentations 1 in the CUV
Lamentations 1 in the CUVS
Lamentations 1 in the DBT
Lamentations 1 in the DGDNT
Lamentations 1 in the DHNT
Lamentations 1 in the DNT
Lamentations 1 in the ELBE
Lamentations 1 in the EMTV
Lamentations 1 in the ESV
Lamentations 1 in the FBV
Lamentations 1 in the FEB
Lamentations 1 in the GGMNT
Lamentations 1 in the GNT
Lamentations 1 in the HARY
Lamentations 1 in the HNT
Lamentations 1 in the IRVA
Lamentations 1 in the IRVB
Lamentations 1 in the IRVG
Lamentations 1 in the IRVH
Lamentations 1 in the IRVK
Lamentations 1 in the IRVM
Lamentations 1 in the IRVM2
Lamentations 1 in the IRVO
Lamentations 1 in the IRVP
Lamentations 1 in the IRVT
Lamentations 1 in the IRVT2
Lamentations 1 in the IRVU
Lamentations 1 in the ISVN
Lamentations 1 in the JSNT
Lamentations 1 in the KAPI
Lamentations 1 in the KBT1ETNIK
Lamentations 1 in the KBV
Lamentations 1 in the KJV
Lamentations 1 in the KNFD
Lamentations 1 in the LBA
Lamentations 1 in the LBLA
Lamentations 1 in the LNT
Lamentations 1 in the LSV
Lamentations 1 in the MAAL
Lamentations 1 in the MBV
Lamentations 1 in the MBV2
Lamentations 1 in the MHNT
Lamentations 1 in the MKNFD
Lamentations 1 in the MNG
Lamentations 1 in the MNT
Lamentations 1 in the MNT2
Lamentations 1 in the MRS1T
Lamentations 1 in the NAA
Lamentations 1 in the NASB
Lamentations 1 in the NBLA
Lamentations 1 in the NBS
Lamentations 1 in the NBVTP
Lamentations 1 in the NET2
Lamentations 1 in the NIV11
Lamentations 1 in the NNT
Lamentations 1 in the NNT2
Lamentations 1 in the NNT3
Lamentations 1 in the PDDPT
Lamentations 1 in the PFNT
Lamentations 1 in the RMNT
Lamentations 1 in the SBIAS
Lamentations 1 in the SBIBS
Lamentations 1 in the SBIBS2
Lamentations 1 in the SBICS
Lamentations 1 in the SBIDS
Lamentations 1 in the SBIGS
Lamentations 1 in the SBIHS
Lamentations 1 in the SBIIS
Lamentations 1 in the SBIIS2
Lamentations 1 in the SBIIS3
Lamentations 1 in the SBIKS
Lamentations 1 in the SBIKS2
Lamentations 1 in the SBIMS
Lamentations 1 in the SBIOS
Lamentations 1 in the SBIPS
Lamentations 1 in the SBISS
Lamentations 1 in the SBITS
Lamentations 1 in the SBITS2
Lamentations 1 in the SBITS3
Lamentations 1 in the SBITS4
Lamentations 1 in the SBIUS
Lamentations 1 in the SBIVS
Lamentations 1 in the SBT
Lamentations 1 in the SBT1E
Lamentations 1 in the SCHL
Lamentations 1 in the SNT
Lamentations 1 in the SUSU
Lamentations 1 in the SUSU2
Lamentations 1 in the SYNO
Lamentations 1 in the TBIAOTANT
Lamentations 1 in the TBT1E
Lamentations 1 in the TBT1E2
Lamentations 1 in the TFTIP
Lamentations 1 in the TFTU
Lamentations 1 in the TGNTATF3T
Lamentations 1 in the THAI
Lamentations 1 in the TNFD
Lamentations 1 in the TNT
Lamentations 1 in the TNTIK
Lamentations 1 in the TNTIL
Lamentations 1 in the TNTIN
Lamentations 1 in the TNTIP
Lamentations 1 in the TNTIZ
Lamentations 1 in the TOMA
Lamentations 1 in the TTENT
Lamentations 1 in the UBG
Lamentations 1 in the UGV
Lamentations 1 in the UGV2
Lamentations 1 in the UGV3
Lamentations 1 in the VBL
Lamentations 1 in the VDCC
Lamentations 1 in the YALU
Lamentations 1 in the YAPE
Lamentations 1 in the YBVTP
Lamentations 1 in the ZBP