Psalms 107 (BOLCB)

1 Mwebaze MUKAMA, kubanga mulungi;okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. 2 Kale abanunule ba MUKAMA boogere bwe batyo;abo be yanunula mu mikono gy’abalabe; 3 abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo. 4 Abamu baataataaganira mu malungunga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga. 5 Baalumwa ennyonta n’enjala,obulamu bwabwe ne butandika okusereba. 6 Bwe batyo ne bakaabira MUKAMA nga bali mu kabi;n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe. 7 Yabakulembera butereevun’abatuusa mu kibuga mwe baabeera. 8 Kale singa beebazanga MUKAMA olw’okwagala kwe okutaggwaawo,n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu! 9 Kubanga abalina ennyonta abanywesa,n’abayala abakkusa ebirungi. 10 Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi; 11 kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda,ne banyoomoola amagezi g’oyo Ali Waggulu Ennyo. 12 Baakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike;baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo. 13 Bwe batyo ne bakaabirira MUKAMA nga bali mu bizibu byabwe,era n’abawonya; 14 n’abaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;n’enjegere ezaali zibasibye n’azikutula. 15 Kale singa beebazanga MUKAMA olw’okwagala kwe okutaggwaawo,n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu! 16 Kubanga enzigi ez’ebikomo azaasaayasa,n’emitayimbwa egy’ekyuma agimenyamu. 17 Abamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe;ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi. 18 Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa. 19 Bwe batyo ne bakaabirira MUKAMA nga bali mu buzibu obwo,n’abawonya. 20 Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe;n’abalokola mu kuzikirira. 21 Kale singa beebazanga MUKAMA olw’okwagala kwe okutaggwaawo,n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu! 22 Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza,era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu. 23 Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja;baali basuubuzi b’oku gayanja aganene. 24 Baalaba MUKAMA bye yakola,ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja. 25 Kubanga yalagira omuyagane gusitula amayengo waggulu. 26 Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi;akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi. 27 Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala;n’amagezi ne gabaggwaako. 28 Bwe batyo ne bakaabira MUKAMA nga bali mu buzibu;n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe. 29 Omuyaga yagusirisa,ennyanja n’etteeka. 30 Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe. 31 Kale singa abantu beebazanga MUKAMA olw’okwagala kwe okutaggwaawo,n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu! 32 Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye,era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu. 33 Afuula emigga amalungu,n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu, 34 ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyoolw’obwonoonyi bw’abantu baamu. 35 Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi,n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi, 36 abalina enjala n’abateeka omwo,ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu, 37 ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu,ne bakungula ebibala bingi. 38 Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi;n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera. 39 Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwaolw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku; 40 oyo anyooma n’abakungu,n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu. 41 Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona,n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo. 42 Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka;naye abakola ebibi bo basirika busirisi. 43 Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo binoera bategeere okwagala kwa MUKAMA okutaggwaawo.

In Other Versions

Psalms 107 in the ANGEFD

Psalms 107 in the ANTPNG2D

Psalms 107 in the AS21

Psalms 107 in the BAGH

Psalms 107 in the BBPNG

Psalms 107 in the BBT1E

Psalms 107 in the BDS

Psalms 107 in the BEV

Psalms 107 in the BHAD

Psalms 107 in the BIB

Psalms 107 in the BLPT

Psalms 107 in the BNT

Psalms 107 in the BNTABOOT

Psalms 107 in the BNTLV

Psalms 107 in the BOATCB

Psalms 107 in the BOATCB2

Psalms 107 in the BOBCV

Psalms 107 in the BOCNT

Psalms 107 in the BOECS

Psalms 107 in the BOGWICC

Psalms 107 in the BOHCB

Psalms 107 in the BOHCV

Psalms 107 in the BOHLNT

Psalms 107 in the BOHNTLTAL

Psalms 107 in the BOICB

Psalms 107 in the BOILNTAP

Psalms 107 in the BOITCV

Psalms 107 in the BOKCV

Psalms 107 in the BOKCV2

Psalms 107 in the BOKHWOG

Psalms 107 in the BOKSSV

Psalms 107 in the BOLCB2

Psalms 107 in the BOMCV

Psalms 107 in the BONAV

Psalms 107 in the BONCB

Psalms 107 in the BONLT

Psalms 107 in the BONUT2

Psalms 107 in the BOPLNT

Psalms 107 in the BOSCB

Psalms 107 in the BOSNC

Psalms 107 in the BOTLNT

Psalms 107 in the BOVCB

Psalms 107 in the BOYCB

Psalms 107 in the BPBB

Psalms 107 in the BPH

Psalms 107 in the BSB

Psalms 107 in the CCB

Psalms 107 in the CUV

Psalms 107 in the CUVS

Psalms 107 in the DBT

Psalms 107 in the DGDNT

Psalms 107 in the DHNT

Psalms 107 in the DNT

Psalms 107 in the ELBE

Psalms 107 in the EMTV

Psalms 107 in the ESV

Psalms 107 in the FBV

Psalms 107 in the FEB

Psalms 107 in the GGMNT

Psalms 107 in the GNT

Psalms 107 in the HARY

Psalms 107 in the HNT

Psalms 107 in the IRVA

Psalms 107 in the IRVB

Psalms 107 in the IRVG

Psalms 107 in the IRVH

Psalms 107 in the IRVK

Psalms 107 in the IRVM

Psalms 107 in the IRVM2

Psalms 107 in the IRVO

Psalms 107 in the IRVP

Psalms 107 in the IRVT

Psalms 107 in the IRVT2

Psalms 107 in the IRVU

Psalms 107 in the ISVN

Psalms 107 in the JSNT

Psalms 107 in the KAPI

Psalms 107 in the KBT1ETNIK

Psalms 107 in the KBV

Psalms 107 in the KJV

Psalms 107 in the KNFD

Psalms 107 in the LBA

Psalms 107 in the LBLA

Psalms 107 in the LNT

Psalms 107 in the LSV

Psalms 107 in the MAAL

Psalms 107 in the MBV

Psalms 107 in the MBV2

Psalms 107 in the MHNT

Psalms 107 in the MKNFD

Psalms 107 in the MNG

Psalms 107 in the MNT

Psalms 107 in the MNT2

Psalms 107 in the MRS1T

Psalms 107 in the NAA

Psalms 107 in the NASB

Psalms 107 in the NBLA

Psalms 107 in the NBS

Psalms 107 in the NBVTP

Psalms 107 in the NET2

Psalms 107 in the NIV11

Psalms 107 in the NNT

Psalms 107 in the NNT2

Psalms 107 in the NNT3

Psalms 107 in the PDDPT

Psalms 107 in the PFNT

Psalms 107 in the RMNT

Psalms 107 in the SBIAS

Psalms 107 in the SBIBS

Psalms 107 in the SBIBS2

Psalms 107 in the SBICS

Psalms 107 in the SBIDS

Psalms 107 in the SBIGS

Psalms 107 in the SBIHS

Psalms 107 in the SBIIS

Psalms 107 in the SBIIS2

Psalms 107 in the SBIIS3

Psalms 107 in the SBIKS

Psalms 107 in the SBIKS2

Psalms 107 in the SBIMS

Psalms 107 in the SBIOS

Psalms 107 in the SBIPS

Psalms 107 in the SBISS

Psalms 107 in the SBITS

Psalms 107 in the SBITS2

Psalms 107 in the SBITS3

Psalms 107 in the SBITS4

Psalms 107 in the SBIUS

Psalms 107 in the SBIVS

Psalms 107 in the SBT

Psalms 107 in the SBT1E

Psalms 107 in the SCHL

Psalms 107 in the SNT

Psalms 107 in the SUSU

Psalms 107 in the SUSU2

Psalms 107 in the SYNO

Psalms 107 in the TBIAOTANT

Psalms 107 in the TBT1E

Psalms 107 in the TBT1E2

Psalms 107 in the TFTIP

Psalms 107 in the TFTU

Psalms 107 in the TGNTATF3T

Psalms 107 in the THAI

Psalms 107 in the TNFD

Psalms 107 in the TNT

Psalms 107 in the TNTIK

Psalms 107 in the TNTIL

Psalms 107 in the TNTIN

Psalms 107 in the TNTIP

Psalms 107 in the TNTIZ

Psalms 107 in the TOMA

Psalms 107 in the TTENT

Psalms 107 in the UBG

Psalms 107 in the UGV

Psalms 107 in the UGV2

Psalms 107 in the UGV3

Psalms 107 in the VBL

Psalms 107 in the VDCC

Psalms 107 in the YALU

Psalms 107 in the YAPE

Psalms 107 in the YBVTP

Psalms 107 in the ZBP