Job 31 (BOLCB)
1 “Nakola endagaano n’amaaso gange;obutatunuulira muwala n’amaaso ag’obukaba. 2 Kiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu,omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu? 3 Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu,n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu? 4 Amakubo gange gonna tagalaba,era tamanyi ntambula yange? 5 Obanga natambulira mu bulimbaera nga n’ekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa; 6 leka mpimibwe ku minzaani ya Katondaamanye obutuukirivu bwange. 7 Obanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo,n’omutima gwange ne gugoberera amaaso gange,engalo zange ne zibaako ebbala lyonna; 8 kale nsige, omulala abirye,weewaawo ebirime byange bikuulibwe. 9 Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi,oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa, 10 kale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala,n’abasajja abalala beebake naye. 11 Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve,ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa. 12 Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira,ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.” 13 “Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi,bwe banninaako ensonga, 14 kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu?Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki? 15 Eyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda?Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe? 16 “Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna,era obanga nakaabya nnamwandu; 17 obanga nnali ndidde akamere kange nzekkaatalina kitaawe n’atalyako, 18 kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe,era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu. 19 Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo,oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka; 20 mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima,olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange; 21 obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe,kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza, 22 kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange,leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira. 23 Olw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe,nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo. 24 “Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabuoba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’ 25 obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi,oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi; 26 obanga nnali ntunuulidde enjuba,oba omwezi nga byaka mu kitiibwa, 27 omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama,ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa, 28 era n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusangoolw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.” 29 “Obanga nasanyuka ng’omulabe wange afunye emitawaanaoba ne njaguza olw’ebizibu ebyamutuukako, 30 sakkiriza kamwa kange kwonoonanga nkolimira obulamu bwe. 31 Abantu b’omu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti,‘Ani atakkuse nnyama?’ 32 Tewali mutambuze yasula ku kkubo,kubanga oluggi lwange lwali luggule eri buli muyise. 33 Obanga nakweka ekibi kyange ng’abantu bwe bakola,nga nkweka obutali butuukirivu bwange mu mutima gwange, 34 olw’okutya ekibiina,nga ntya okuswala mu kika,ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru, 35 so nga waliwo ayinza okumpulira,leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu;n’oyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike. 36 “Ddala ddala nandibyambadde ku kibegabega kyange,nandibyambadde ku mutwe ng’engule. 37 Nandimunnyonnyodde buli kifo we nalinnya ekigere,nandimusemberedde ng’omulangira. 38 “Singa ettaka lyange linkaabirira,n’ebinnya byalyo bye nsimye ne bitotobala n’amaziga; 39 obanga ndiddemu ebibala awatali kusasula,era ne ndeetera bannannyini lyo okufa, 40 leka omwennyango gumere mu kifo ky’eŋŋaano,n’omuddo oguwunya gumere mu kifo kya sayiri.”Ebigambo bya Yobu byakoma wano.